2. Ekiseera ky’obwannabbi

Oluvannyuma ennyo, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) bwe yaweza emyaka amakumi ana (40), Allah Owoobuyinza yamuwa obwannabbi n’ekiragiro kye “Langirira oba soma! Mu linnya lya Katonda wo Oyo Owaawaggulu.” (Alaq [Ekitole Ky’omusaayi], 1-2).[1]

Mu nnaku ezaasooka oluvannyuma lw’okulangirira okuyitibwa kwe, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yayogera eri abantu ab’ekika kya Kulayishi ng’ayimiridde ku katunnumba ku lusozi Swafa n’ababuuza nti:

Abange Abakulayishi! Singa mba mbagambye nti emabega wolusozi olwo oba mu kiwonvu ekyo waliyo eggye lyomulabe ku mbalaasi abalindiridde okubazinda batwale ebyobugagga byammwe, mwandikkirizza bye mbagamba? Baddamu awatali kusiriikiriramu nti:

“Yee twandikkirizza ky’ogamba kubanga ne we twogerera tukutwala ng’oyogera mazima meereere! Tetukuwulirangako ng’olimba!” Olwo Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kulangirira nti yali Nnabbi eyali atumiddwa Allah ng’azze okulabula abantu. Yategeeza abantu nti oyo yenna eyali ow’okumukkiriza mu bigambo bye n’amala n’awangaala obulamu obulungi ng’agoberera ebiragiro bya Allah nti yali wa kusasulwa ebirabo ebisinga okubeera ebirungi ku Lunaku lw’enkomerero, era nti abatakkiriza baali baakusisinkana ebibonyoobonyo ebikakali. Yabawa obubaka nti kyali kyetaagisa okwetegekera obulamu obutaggwaawo nga bali mu nsi muno. Naye mu bwangu yakisanga nti kyali kizibu okuggya abantu ku nzikiriza yaabwe enkyamu.[2]

Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yakola kyonna ekyali kisoboka okusikiriza abantu be okudda eri amazima okuva ku lunaku olwo nga tafuddeeyo ku kubonyaabonya na kunyigiriza bye baamutuusaako. Yatuukiriranga abantu ng’ava nju ku nju, n’atuukirira ebibinja by’abalamazi n’agenda ne mu butale, era buli we yafuniranga akakisa ng’akakozesa okuyita abantu (badde eri okusinza okutuufu). Teyeekyawanga wadde okwetamwa abantu nga mw’otwalidde n’abo abaamulaganga obukambwe ne bamuyisa mu ngeri esinga obubi. Buli kaseera yababuuliranga ebintu bye bimu eby’amazima. Ng’ayita mu kugamba abantu nti “Sibasaba mpeera yonna olwa kino (Kulaane), wadde okubeera mu bantu abeeyita kye batali,”[3] yali abategeeza nti kye yaliko kwali kusaasaanya ddiini ku lwa Allah, era nga yali talina kirala kye yali anoonya.

Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) teyali muyigirize era ng’okufaanana n’abantu abangi ab’oku mulembe gwe yali tasobola kusoma wadde okuwandiika.[4] N’olw’ekyo kyali tekisoboka okuba nga bye yali ayogera yali abiyize kuva ku muntu omulala oba ng’alina ekitabo kye yasoma mwe yabijjanga oluvannyuma n’abibuulira abalala. Omuntu atamanyi kusoma na kuwandiika okutandika okwogera ebigambo eby’amaanyi, ebikulu ennyo, era ebisengeke obulungi, nga biri mu lulimi olusinga okubeera olulungi mu bunnyonnyofu ne mu kunyuma, kyali tekisoboka okuggyako nga yali afuna bubaka. N’abalabe be bokka kino baakimanya era ne bakikkiriza.

Bamusinzabibumbe baamatiranga empisa za mukama waffe Nnabbi era nga bakkiririza mu bwesimbu nti teyali mulimba. Naye baali tebaagala kuleka migaso gya ku nsi gye baali baafuna mu makubo amakyamu n’okwegomba okw’omwoyo. Olunaku lumu, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yayimirira awaali Abu Jahali ne mikwano gye abaali abalabe be ab’omutawaana ennyo. Bo kwe kumugamba nti:

“Muhammadi! Tukulayirira Allah tetukulimbisa, kubanga ggwe ku ffe oli muntu asinga okwogera ebituufu. Wabula ffe aya ze waleeta ze tugaana.”[5]

Bamusinzabibumbe baagezaako buli kintu ekisoboka okulaba ng’Ow’ekitiibwa Nnabbi alemererwa n’ava ku kye yaliko. Baasaba taata wa Nnabbi omuto omwagalwa ayingire mu nsonga. Baagenda ewa mukama waffe n’ebirowoozo ebisikiriza, okugeza okumutikkira engule ey’obwakabaka, okusolooza ssente bamuwe afuuke omugagga asinga mu kitundu, okumuwa abakazi abasinga obubalagavu abawase, nga bwe bamutegeeza nga bwe baali abeetegefu okumuwa kyonna kye yandisabye.

Naye Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yabaddamu mu ngeri eno eteriimu kwekookoota kwonna era nga nneeyolefu bulungi nti:

“Sirina kintu kyonna kye mbeetaagako. Ssi bintu bya kufuna, ssi bintu birala, ssi bwakabaka, ssi bwami! Ekintu kyokka kye njagala kye kino: Mulekere awo okusinza amasanamu (ebibumbe) musinze Allah ali Omu!” (Ibn Katiir, Al-Bidaaya, III, 99 – 100)

Bamusinzabibumbe bwe baamanya nti baali bakootakoota mu ga lumonde nga baali tebasobola kusikiriza Mubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) mu ngeri yonna, amaanyi kwe kugakyusa ne bagateeka ku kukozesa ebikolwa eby’obukambwe. Ennaku bwe zaagenda zigenderera beeyongera okukiggyanya n’okubonyaabonya Abasiraamu. Abasiraamu abamu baasenguka ne bagenda e Ethiopia ewaali obufuzi obwali obutambulira ku bwenkanya mu biseera ebyo.

Bamusinzabibumbe baakutulawo enkolagana yonna n’Abasiraamu ne batwaliramu ne Babanu Hashim (Bazzukulu ba Hashim, Ab’ekika kya Nnabbi) abaabawanga obukuumi. Mu nkolagana gye baakutulawo mwalimu n’okufumbiriganwa n’enkolagana yonna ey’obuntu. Ebikolwa byabwe baabissa mu buwandiike mu ndagaano gye baawanika ku kisenge kya Ka’aba. Boyikooti eno yagenderera okumalira ddala emyaka esatu era ng’obuzibu bw’Abasiraamu bweyongera buli lukedde. Abasiraamu baabonaabona nnyo olw’enjala n’emitawaana bye baasanga. Ng’okubasibira ekikookolo kuwedde, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ng’ali wamu ne Zayidi bin Haaritha, baagenda mu kibuga ky’e Twaifa, kilomita kikumi mu nkaaga (160) okuva e Makka (okunoonyaayo obukuumi n’obubudamu). Yabeerayo ennaku kkumi (10), ng’ayogera n’abakulu b’ekika kya Thaqiifu, abamu kw’abo abaalina oluganda ku maama we. Bano nabo baamujeeja ne bamufuula atategeera, oluvannyuma ne batandika okumuvuma n’okumwogerera amafuukuule. Bwe baamala ebyo kwe kusimbisa abaddu n’abaana abato ennyiriri ku mabbali g’amakubo Omubaka wa Allah ge yali ayitamu ne babalagira okumukuba amayinja n’okumuvuma n’okumuyeeya. Naye ne mu bikolwa eby’ekivve bwe bityo, Nnabbi w’okusaasira, wadde nga yali atonnya omusaayi ekyatuusa n’ebigere bye okulemera mu biraato bye yali ayambadde, yagaana okukolimira abantu bano wabula n’asabira basabire Katonda nti:

“Ayi Allah! Nkulojjera amaanyi gange agakeeye, nti sirina buyambi, nti abantu bampisizzaamu amaaso ne bantwala ng’ekyonziira. Ggwe Musaasizi! Bw’obanga tonnyiigidde sifaayo ku bizibu n’emitawaana bye ndimu! Katonda wange! Nkusaba oggule amaaso gaabwe eri amazima, kubanga tebamanyi. Ayi Katonda! Nkusaba okusonyiwa wano okutuusa lw’osiima.” (Ibn Hisaam, II, 29 – 30)

Omubaka wa Allah ayogera ku kudda kwe okuva e Twaifa n’agamba bw’atyi:

“Nnali nzira eka nga ndi mu nnaku etayogerekeka. Nnatuuka mu kifo ekiyitibwa Karnul Sealib nga mpeddemu amaanyi sikyasobola kweyongerayo. Bwe nnasitula omutwe nga ndi awo ne ndaba ekire nga kimpa ekisiikirize. Bwe nneetegereza obulungi ne ndaba Jibuliilu (emirembe gibeere ku ye), eyanngamba bw’atyi:

‘Katonda Owoobuyinza awulidde abantu bo bye bakwogereddeko n’engeri gye bagaanyeemu okukuwa obukuumi. Atumye Malayika w’ensozi abakole ekyo kyonna ky’oyagala.’ Oluvannyuma Malayika w’ensozi yannamusa n’agamba nti: ‘Muhammadi! Allah Owoobuyinza antumye gy’oli okukola kyonna ky’oyagala. Kiki ky’oyagala nkole? Bw’oba oyagala nnyinza okugatta ensozi zino ebbiri ne zibabuutikira ne zibanyiga emitwe.’ Oluvannyuma nnagamba bwe nti:

‘Nedda, nsaba Katonda Owoobuyinza ajje ku migongo gyabwe (mu musaayi gwabwe) abazzukulu abajja okumusinza nga tebamugattako kintu kirala!’” (Bukhari, Bad-ul Khalqi [Okutandika kw’okutonda], 7; Muslim, Jihaad [Okulwana mu lutalo lw’eddiini], 111).

Mu nnaku ezo, ekibinja ky’abantu bajja okuva e Madiina ne bayingira Obusiraamu. Nga bazzeeyo, baatandika okusomesa Obusiraamu mu Madiina. Baasaba mukama waffe Nnabbi abasindikire omuntu amanyi (eddiini). Mu kiseera kitono nnyo tewali nnyumba mu Madiina Obusiraamu mwe bwali butayingidde. Ku nkomerero, baayita Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) agende e Madiina ne bamulagaanyisa nti baali baakumukuuma.



[1].     Al-Alaq (The Blood Clot – Ekitole ky’Omusaayi), 96 : 1 -2.

 

[2].     Laba Bukhari, Tafsiir, 26 / 2; Ahmada bin Hanbal, I, 159, 111.

 

[3].     Swad, 38: 86.

 

[4].     Al-Ankabut (The Spider – Nabbubi), 29 : 48.

 

[5].     Vâkidî (Waaqidi), Asbaab Nuzuul (Ensonga ezaavangako okukka kw’obubaka obwakkanga), olup. 219; Tirmidhi, Tafsiir, 6 / 3064.

%d bloggers like this: