10. Obwangu (mu mirimo gy’eddiini) Gwe Gu-mu ku Misingi gy’Obusiraamu

Katonda waffe Owookusaasira okutakoma bulijjo abaddu be abaagaliza bwangu era nga yafuula buli kintu mu Busiraamu ekyangu. Aya entukuvu mu Kulaane egamba nti:

Tawaliriza mwoyo okuggyako ekyo kye gusobola. (Baqara [Ente], 2 : 285)

Allah abaagaliza bwangu; tabaagaliza buzibu. (Baqara [Ente], 2 : 185)

Ye abalonze, era natabateera buzibu mu ddiini. (Hajj [Okulamaga olw’e Makka], 22 : 78)

Allah ayagala kubawewulako (ku buzibu): kubanga omuntu yatondebwa nga munafu. (Nisaa-i [Abakyala], 4 : 28)

Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yannyonnyola egimu ku misingi gy’okwanguyiza mu Busiraamu n’agamba bw’atyi:

“Katonda Owoobuyinza alagira bamalayika be bw’atyi: ‘Omuddu wange bw’aba ayagadde okukola ekikolwa ekibi temukiwandiikanga okutuusa lw’akikolera ddala. Bw’akikola mukiwandiike ng’ekyonoono ekimu. Bw’akireka n’atakikola ku lwange, olwo mukiwandiike ng’empeera okuva ewa Katonda emuweereddwa. Omuddu bw’ayagala ennyo okukola ekikolwa ekirungi, ekyo mumuwandiikeko empeera ne bw’aba nga takikoze. Bw’agenda mu maaso n’akola ekikolwa ekirungi, mumuwandiikire empeera nga muzikubisizzaamu waakiri emirundi kkumi okutuuka ku mirundi lusanvu lulamba (700). (Bukhari, Tawhiidi [Okwawula Allah nti ali Omu], 35; Muslim, Imaani [Obukkiriza], 203, 205)

Basswahaba ba Nnabbi ab’ebitiibwa boogera nti Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yali musajja wa kisa eyali omwangu abeereka naye era nga bulijjo abantu abalala yabanguyizanga ebintu.”[1]

Ka tuleete ebifaananyi ebiraga ng’Obusiraamu bw’eri eddiini eyanguyiza:

Omuntu y’avunaanyizibwa ku bintu ebiri mu maanyi ge n’obusobozi. Teri kintu ky’atasobola kukola kye bamukakaatikako kukola, era nga tajja kuvunaanibwa ku bintu ebyali biteewalika oba ebyo by’atalinaako busobozi.

Mu Busiraamu, ekkubo ery’okugendera mu mitendera (okubebbereza) kkulu nnyo. Amazambi okugeza nga okunywa omwenge, okulya riba (okutwala ennyongeza mu kuwola), n’okwenda, byonna baabigaana mpola mu mitendera gya mirundi esatu oba ena.

Tteeka okufuna wuzu (okwetukuza) ng’okozesa amazzi nga tonnaba kusaala esswala yonna ey’emikolo. Wabula okwetukuza ng’okozesa ettaka ettukuvu (tayammum) kukkirizibwa singa omuntu tasobola kufuna mazzi oba amazzi bwe gabeera nga gannyogoga nnyo nga kisoboka okuggyamu obulwadde (singa ogakozesezza).

Abatambuze bakkirizibwa okukendeeza ku sswala ezirina laaka ennya mu sswala ezaalaalikibwa ne bazisaalira mu laaka bbiri olw’ensonga nti waliwo okubeera nga bakoowu bw’okukoowa oba obutaba na biseera.

Tteeka omuntu okusaala ng’ayimiridde (qiyaamu). Naye abo abatasobola kuyimirira bayinza okusaala, mu kifo ky’okuyimirira, okusinziira ku mbeera yaabwe nga bw’efaanana, nga batudde, oba nga bagalamidde, oba nga balaza bulaza na maaso.

Tewali bwetaavu bwa kifo kya njawulo okusinzizaamu. Omuntu ayinza okusinziza wonna kasita ekifo kiba nga kitukuvu. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti:

     “Ettaka (wansi) lyonna lyampeebwa nga ttukuvu erisobolwa okusaalirako. N’olw’ekyo omukkiriza mu kibiina kyange asaale ekiseera kye sswala bwe kituuka awo wonna w’aba ali.” (Bukhari, Tayammum [Okusiiga enfuufu], 1)

Okusiiba kuyinza okufuuka okuzibu eri abo abalina obulwadde n’abatambuze abayinza okukosebwa n’okusiiba. Olw’ensonga eyo, abantu ab’ebiti bino byombiriri balekerwa eddembe ku bikwata ku kusiiba mu mwezi gwa Lamanzaane. Bwe baba tebasiibye balina okuliwa ennaku ze baba balidde bwe baba bawonye oba nga bakomyewo ku butaka.

Bwe waba nga waliwo obuzibu mu by’okwerinda mu kkubo lya Hijja (Okulamaga) okugeza nga waliwo endwadde ey’omutawaana esiigibwa oba olutalo, n’ebirala, Abasiraamu abakakatibwako okukola hijja bayinza okulindiriza hijja okutuusa ng’obuzibu buweddewo.

Nga Mukama waffe Nnabbi bwe yagamba, “Allah atenderezebwe Oyo eyatuteera obwangu mu Ddiini!” (Ahmada Ibn Hanbal, VI, 167).



[1].     Muslim, Hajj (Okulamaga olugendo lw’e Makka oba Hijja], 137.

%d bloggers like this: