3. Teri munnaddiini akola nga kayungirizi wakati wa Katonda n’abaddu be / Teri Ki-binja (kyetongodde) ekya Bannaddiini mu Busiraamu

Omumanyi omu ow’Obusiraamu yagamba nti: “Amakubo agatuusa omuntu eri Allah mangi nnyo ng’omukka ebitonde gwe bissa.” Okukissa mu bigambo ebirala, buli muntu alina eddembe okutuusaako Katonda by’ayagala butereevu. Buli bantu basobola okulaajanira Allah nga bayita mu sswala zaabwe wamu n’okumusaba okusonyiyibwa. Omuntu bw’adda eri Allah mu bwesimbu, ajja kumusanga ng’ali naye.

Katonda bulijjo akuutira abantu okusaala n’okusaba okusonyiyibwa. Akyoleka bulungi nti ye Musaasizi ennyo, ajja okusonyiwa ebyonoono ng’ayita mu kwanukula edduwa zaabwe. Okwanukula edduwa n’okusonyiwa ebyonoono Allah Yekka y’akukola. Kino kiri kityo kubanga Ye wa maanyi. Teri kitonde kisobola kukozesa buyinza bwe. Okulabira obuyinza bwa Allah mu kitonde kyonna kubalibwa nga “kusinza bakatonda abangi.”

Mu Busiraamu bannaddiini tebeetaagisa mu bintu ng’okusinza, okusaba oba ebikwatagana n’okuwasa (oba okufumbirwa). Buli Musiraamu alina okuyiga ebikwata ku ddiini nga bwe yeetaaga. Abasiraamu bwe bakunngaana okusaala, beerondamu oyo abasinga okumanya n’okutya Katonda abakulembere (abeere Imaamu waabwe). Omulimo gw’abamanyi Abasiraamu gukoma ku kunnyonnyola n’okusomesa emisingi gy’eddiini, n’okutangaaza n’okulunngamya abalala eri ekkubo ettuufu nga bababuulirira n’okubawa amagezi. Tebalina maanyi kusonyiwa byonoono oba okwanukula edduwa nga bayita mu kwekiika wakati wa Katonda n’abaddu be.

Abantu bwe baatandika okuteekawo bakayunigirizi wakati wa Katonda n’abaddu be, ekyavaamu kwali kutandika kusinza masanamu. Bamusinzabibumbe b’e Makka beewozangako nti ensonga yokka eyabasinzisanga amasanamu (ebifaananyi oba ebibumbe) kubeeranga baali bageetaaga okubasembeza okumpi ne Katonda.[1] Ekiseera bwe kyayita baatandika okutuuma bakayungirizi abo ebitendo n’amaanyi eby’obwakatonda.



[1].     Az Zumar (The Companies – Ebibinja), 39 : 3.

%d bloggers like this: