2. Obusiraamu ye Ddiini ey’Obubumbwa, Te-koonagana na Magezi

Obusiraamu bukwata ku bantu bonna. Amateeka gaabwo amakulu gaakolebwa ssi kusinziira ku bintu ebigwawo obugwi, eby’ekiseera, oba ebintu eby’enjawulo ebitajjudde (ebikendeevu), wabula gaateekebwawo okusinziira ku butonde obwanamaddala n’ebyetaago by’abantu ebituukagana n’engeri gye baatondebwamu. Olw’ensonga eno, Obusiraamu ddiini ya bubumbwa eteggwa ku mulembe. Emisingi gyayo egy’obukkiriza tegyesigamiziddwa ku bintu bya kuteebereza, wabula byesigamiziddwa ku magezi n’ebintu ebya ddala eby’eyolefu. Olw’ensonga eyo, Obusiraamu tebukoonagana na bintu ebituufu ebya saayansi. Bwe weetegereza ebiragiro ebikwata ku kusinza n’enkola, kyeyolekerawo engeri ennungi ebiragiro ebyo gye bigya mu butonde bw’omuntu.

Okuva amagezi bwe gali ekitendo ekisinga okubeera ekikulu mu muntu, Kulaane amaanyi egassa ku kukozesa amagezi n’okulowooza. Kulaane eyita abantu balowooze, bakole okunoonyereza, era bakozese amagezi mu ngeri yonna esoboka mu aya nga lusanvu mu ataano (750).

Abantu abatakkiriza Mubaka wa Allah bwe baagamba nti: “Tulage ku byamagero ebimu tusobole okukkiriza Allah era tukukkiririzeemu nga omubaka,” Allah ekirowoozo kyabwe teyakyagala. Yabakuutira bukuutizi okutunuulira ensi ne mu bbanga babirowoolerezeeko okusinga okwagala okulaba ebyamagero olwo basobole okukkiriza.

Okuva Obusiraamu lwe buteeka ennyo essira ku magezi, bugaana ekintu kyonna ekiyinza okubikka amagezi n’okutegeera okugeza ng’ebitamiiza n’ebiragalalagala (enjaga). Kitegeerekeka mu magezi aga bulijjo nti ekisingako obulungi eri abantu kwe kubeera abazuukufu okusinga okubeera abatategeera bulungi (abatamidde), era nti obugayaavu oba obutamiivu tebulina mugaso gwe bireeta eri omuntu.

Ekiva Busiraamu okubeera eddiini y’obubumbwa, kwe kuba nga bulijjo buteekawo amateeka agasoboka. Teri kiragiro mu Busiraamu kitasoboka kuteekebwa mu nkola – era teri kiragiro kizibu mu butonde bwa muntu. Ebimu ku by’okulabirako bye bino:

Bwe waba tewali mazzi gamala kutawaaza (okufuna wuzu) oba omuntu bw’aba nga tasobola kukozesa mazzi olw’ensonga ezeekuusa ku bulamu, omuntu oyo asobola okukozesa ettaka ettukuvu (kye bayita tayammum).

Singa omuntu tasobola kusaala ng’ayimiridde, esswala ye asobola okugisaala ng’agalamidde oba n’okulaza n’omutwe.

Okusiiba bwe kuba tekusoboka kukolebwa mu buliwo, kusobola okukolebwa mu biseera eby’omu maaso oba okuwa abaavu ssente (oba eby’okulya) mu kifo ky’okusiiba.

Okuwaayo omutemwa ogw’etteeka mu Busiraamu (zaka) oba okulamaga olw’e Makka (okukola hijja) bikakata (bifuuka faradhwa) ku bantu abo bokka abalina eby’obugagga ebimala.

Omuntu ayita abantu okuyingira Obusiraamu avunaanyizibwa ku kubannyonnyola bunnyonnyozi Obusiraamu mu ngeri esikiriza; talina kukola “kyonna ekyetaagisa okulaba ng’abantu abo bafuuka Basiraamu.”

%d bloggers like this: