2. Omuntu n’eddiini

Eddiini ezingiramu ebintu Omutonzi by’asomesa omuntu okuyamba obulamu bwe nga tannaba kufa era n’oluvannyuma lw’okufa kwe. Eddiini ewa omuntu agamu ku mateeka asobole okuwangaalira mu nsi nga talina muntu yenna gw’alumizza. Emulaga mu bulambukufu eddembe lye n’amateeka asobole okuwangaala ekiseera kye ekimpi ky’alina eky’obulamu mu mirembe nga tawaddeeyo bulamu bwe na Nkomerero.

Katonda Owoobuyinza yakola ebitonde bingi mu nsi eno. Wabula abantu yabawa ekifo kya njawulo mu bitonde byonna. Abantu baaweebwa ekirabo ky’obusobozi obusukkiridde, ebitonde ebirala bwe bitalina okugeza amagezi, okusalawo, okumanya ensonga, okutegeera, okufuna, n’okufuga. Wabula obusobozi buno bulinga ekitala ekirina obwogi ku njuyi zombi. Singa enjuyi ennungi ez’obusobozi zibeera zikozeseddwa bulungi, ziteekawo enteekateeka ennungi, emikisa n’okufuna ennyo mu bantu. So ng’ate enjuyi embi singa ze ziba zikozeseddwa, zireeta obubi obutasuubirwa era ne zireetawo emivuyo egitiisa. Zireeta obukambwe obubi ennyo n’entalo ez’amaanyi. Okusobola okutereeza embeera eno n’obusobozi bw’omuntu okuba mu kkubo eggolokofu, tuba twetaaga amaanyi amalala. Amaanyi gano ye ddiini entuufu. Naye omuntu tateekeddwa kwerabira nti Allah ssi mwetaavu gye tuli okubeera abantu abamutya (bannaddini), era okussa kwaffe ebiragiro eby’eddiini mu nkola talina ky’akuganyulwamu. Wabula ffe abantu tuteekeddwa okugondera ebiragiro byeddiini ssi lwa kufunamu kwesiima kwokka ku Lunaku lwenkomerero, naye era nokubeera abasanyufu mu nsi eno mwe tuwangaalira.[1]

Ekituufu kiri nti, amadiini gonna agaava mu ggulu googera kaati nti omuntu yatondebwa amanye Omutonzi we era amusinze.[2]

Abantu abalanga eddiini eri abantu be bayitibwa bannabbi. Obusiraamu bukkiririza mu bannabbi bonna (abatali ba bulimba) era ne bufuula okukkiriza bannabbi akakwakkulizo ak’okubeera Omusiraamu. Okusinziira ku nzikiriza y’Obusiraamu, bannabbi bajja bajjuuliriza wamu n’okwongerayo omulimo gwa bannaabwe. Bannabbi bakkiriza bannabbi abaabasookanga era ne balanga nga bawa amawulire amalungi ag’okujja kwa bannabbi abalala eri abagoberezi baabwe.[3] N’olw’ekyo, omuntu akkiriza obwannabbi bwa Nnabbi Muhammadi mu ngeri y’emu aba akkiriza bannabbi bonna abaamusooka. Haatib bin Abii Baltaa (Allah amusiime), bwe yatwalira Gavana we Misiri (Muqawqis) ebbaluwa eyali eva ewa Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), yamugamba bw’atyi:

“Tukukoowoola oyingire Obusiraamu, eddiini Allah gye yalondera omuntu. Muhammadi Omulondemu (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ssi ggwe wekka gw’akoowoola naye akoowoola abantu bonna. Abagoberezi ba Kristo be bantu abaasinga okulaga omukwano. Nga Owekitiibwa Musa (Moses) bwe yayasanguza amawulire amalungi agokujja kwOwekitiibwa Yesu, ne Yesu olulwe bwe lwatuuka naye yalanga okujja kwowekitiibwa Muhammadi. Okukoowoola kwaffe kwe tukoze okujja eri Kulaane kufaanana nokukoowoola abantu abagoberera Tawuraati okudda eri Bayibuli (Enjiri). Buli muntu ateekeddwa okubeera omugoberezi wa Nnabbi owomulembe gwe. Oli omu kwabo abatuuse ku mulembe gwa Muhammadi, nolwekyo nkuyita eri Obusiraamu. Tetukujja ku ddiini ya Yesu, wabula ate tukukoowoola okole nga obubaka bwe bwe bugamba.[4]

Pulofeesa Timothy Gianotti omusomesa mu Settendekero lye Toronto mu Canada, era eyayingira Obusiraamu, oluvannyuma lw’okukkaatiriza ensonga y’okubeera nti bwe yakyuka okudda mu Busiraamu eddiini gye yalimu enkadde ey’obugoberezi bwa Kristo yali tagibuusa maaso, era engeri ki eddiini ye enkadde bwe yali ng’eddaala eririnnyisa omuntu okumufuula Omusiraamu, annyonnyola engeri Obusiraamu bwe buli eddiiini etwaliramu byonna era ng’ezingiramu ebigendererwa by’Obukrisitaayo: Omulimu gwObusiraamu kwe kukyusa ssi bantu ba ngeri emu yokka ne bubafuula abantu abalina omugaso mu maaso ga Allah, wabula abantu bonna.[5]

Hadiisi (ebigambo oba enkola ya Nnabbi Muhammadi)[6] emu egamba nti ababaka bonna ba luganda. Olulyo luno olumu lutegeeza nti eddiini zonna entuufu zirina emisingi gye gimu. Okukiteeka mu bigambo ebirala, eddiini entuufu yasigala nga y’emu okuva ku nnabbi eyasooka okutuusa ku nnabbi eyasembayo bw’oba otunuulidde emisingi gy’obukkiriza n’empisa ezisinga obukulu, naye engeri z’okusinza ezimu n’engeri y’okussa mu nkola amateeka ebyo byo byagenda bikyusibwamu.[7]

Okuva lwe waliwo eddiini entuufu emu yokka, kibeera kya bulijjo okusanga nga waliwo okufaanana okw’engeri emu oba endala mu ddiini zonna ezaava ewa Allah. Okugeza, Obusiraamu bulagira okuyimirizaawo esswala. Mu Bayibuli ennyiriri zino wammanga zoogera ku gamu ku mateeka g’okusaala:

Mujje, tusinze era tukutame; Tufukamire mu maaso ga Yahweh, Omutonzi waffe, (Zabbuli, 95 : 6)

Moses ne Aaron ne bagwa ne bavunnamira ku byenyi byabwe. (Okubala, 16 : 20 – 22)

Moses navunnamirawo ku ttaka ngali mu kusinza. (Okuva, 34 : 8)

Yesu navunnamira ku kyenyi kye . nasaba. (Matayo, 26 : 39)

Abayigirizwa olwawulira kino, baagwa ku ttaka ne bavunnama…” (Matayo, 17 : 6)



[1].     Pulofeesa Dr. M. S. R. al-Bûti, Islamic Creed (Islâm Akâid – Obusiraamu Nzikiriza), olup. 71 – 76.

 

[2].     Exodus (Okuva), 20 / 2 – 3; Deuteronomy (Eky’amateeka olw’okubiri), 6 / 4 – 5; Matthew (Matayo), 4 / 10; Acts (Ebikolwa by’Abatume), 17 / 26 – 28; The Noble Quran (Kulaane Ey’ekitiibwa): Adh-Dhariyaat (The Scatterers – Empewo Ezisaasaanya), 51 : 56.

 

[3].     Pulofeesa Dr. Ö. F. Harman, Article : “Islam”, Diyanet Islâm AnsiklopedesiEncyclopedia of Islam Mukunngaanya w’Obusiraamu (Republic of Turkey, Presidency of Religious Affairs), Istanbul 2001, XXIII, 4.

 

[4].     Okulaba emboozi yonna empanvu wakati wa Haatibu (Allah Amusiime) ne Muqawuqisi genda mu Ibn Kathiir, al-Bidaaya, IV, 266 – 267; Ibn Sa’ad, I, 260 – 261; Ibn al-Hajar al Iswabi, III, 530 – 531.

 

[5].     Ahmet Böken – Ayhan Eryiğit, Yeni Hayatlar (New Lives – Obulamu obupya), I, olup. 15.

 

[6].     Mukama waffe Omubaka wa Allah (okusaasira n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti: “Nze ku mutabani wa Mariyamu, nze nsinga abantu bonna okumubeera okumpi. Bannabbi baalugada abagatta kitaabwe naye ne baawula bannyabwe. Tewali Nnabbi mulala wakati wange naye.” (Bukhari, Anbiyaa – Bannabbi), 48; Muslim, Fadhwail (Emirimu Emirungi), 145.

 

[7].     Pulofeesa Dr. Ö. F. Harman, Article : “Islâm”, Diyanet Islam Ansiklopedesi – Encyclopedia of Islam (Republic of Turkey, Presidency of Religious Affairs), Istanbul 2001, XXIII, 3.

%d bloggers like this: