Ekitabo kino kiwa Obusiraamu mu bufunze obwenkana ettondo mu nnyanja. Obusiraamu bwe bwanjuluzibwa mu bujjuvu, kiba kijja kweyoleka bweyolesi nti bulina ebirungi nfaafa. Ebyembi, olwaleero, mu bugenderevu oba mu butali bugenderevu, Obusiraamu busomesebwa mu ngeri enkyamu era obulungi bwabwo ne bubikkibwa. Wabula buli muntu omugezi, asobola okufuna mu bwongo ekifaananyi ekikye ku Busiraamu oluvannyuma lw’okufuna ekifaananyi ekijjuvu okuva mu nsibuko ezitalina kyekubiira era nga teziriimu bukyayi.