Obusiraamu bwagala abantu okubeera abataggwaamu ssuubi. Katonda Owoobuyinza alagira nti “Okusaasira kwange kubuna ebintu byonna.”[1] Ate ye Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti:
“Katonda Owoobuyinza bwe yatonda ebitonde byonna, yawandiika mu Kitabo ekiri waggulu wa Namulondo Ye nti, ‘Okusaasira kwange kuggyawo obusungu bwange’.” (Bukhari, Tawhiid [Okwawula Katonda nti ali Omu], 15).
Okukkiriza kuno kumala Abasiraamu okubeera n’essuubi. Ebitendo ebirala ebigumya Abasiraamu mu bulamu mulimu okusonyiwa, okusaasira, obugumiikiriza, tawakkul (okwesiga n’okwesigamira ku Allah okutalinaamu nkenyera yonna), okwewaayo mu mikono gya Allah, okumatira mu buli mbeera, n’okulowoolereza abantu obulungi. Okumatira kw’Omusiraamu nti emitawaana n’obulwadde bw’aba alina bisazaamu amazambi era ne bisitula n’eddaala lye, nakwo kukola kinene okuwewula ku bizibu by’obulamu. Tekisoboka Omusiraamu okubeera omunakuwavu ng’akoze buli ky’asobola ekiri mu maanyi ge oluvannyuma n’akkiriza okusalawo kwa Katonda, nga mumativu n’ekyo kyonna ekinajja okuva ewa Allah. Omusiraamu ow’ekika ekyo awangaala mu nsi ey’obukkakkamu, obutebenkevu n’emirembe mu mbeera yonna gy’aba alimu.
Enzigi z’okwenenya nzigule eri abatakkiriza n’aboonoonyi okutuusa ku kaseera akakomererayo (mu bulamu bwe). Omuntu ayinza okuyingira mu bukkiriza oba ne yeenenya okutuusa lw’alaba obubonero bw’okufa oba obubonero bw’Olunaku lw’okulamula. Wabula, okuva okufa n’Olunaku lw’okulamula lwe bijja okutuuka ku muntu awatali kulaga, omuntu alina okudda eri Katonda awatali kumuvaako. Katonda Owoobuyinza agamba nti:
“Gamba nti: Abange abaddu bange ababuuka ensalo ne bagayaalirira emyoyo gyabwe! Temukutukawo na kusuubira ku kusaasira kwa Allah. Allah asonyiwa ebyonoono byonna, kuba Ye Musonyiyi nnyo, Omusaasizi ennyo. Mudde eri Katonda wammwe mumwenenyeze, mumugondere era mweweeyo gy’ali ng’ebibonerezo tebinnabatuukako oluvannyuma ne mutataasibwa.” (Zumar [Ebibinja], 39 : 53 – 54)
Ye Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagaana abantu okuteeka emikisa emibi ku bintu ebimu; yatulagira okutunuulira buli kintu n’endaba ennungi era tubivvuunule mu ngeri esingako obulungi.[2]
Obusiraamu bukubiriza abantu okwewala endowooza embi ku bantu. Mpozzi ate abantu tulina okubalowoozaako mu ngeri ennungi. Mu Kulaane entukuvu etteeka ligamba nti: “Abange mmwe abakkiriza! Mwewale okuteebereza ennyo mu bantu (nga bwe musobola) kubanga okuteebereza mu bintu ebimu liba zzambi. Temukettanga bannammwe era temugeyanga…” (Hujuraati [Ebisenge], 49 : 12)
Okwongereza kw’ebyo, mu bakkiriza endowooza eya “okugumiikiriza ebitonde byonna ku lwa Omutonzi eyabitonda” y’esinga okulabika. Kubanga olw’okwagala kwe bawulira muli eri Katonda Owoobuyinza, babeera n’ekisa mu mitima gyabwe eri ebitonde bye; buli kintu bakiraba ng’obwesigwa era ekitereso okuva ewa Omutonzi Oweekitiibwa. Bakkiriza n’okumatira buli kintu ekiva ewa Allah.