Kulaane ey’ekitiibwa etuwa amawulire okuva mu bintu ebitamanyiddwa, ng’amawulire gano kyamagero ekyenkukunala. Wadde nga gakwata ku bintu eby’ekikugu era eby’amagezi ga saayansi, okuva ku bintu ebyagwawo mu byafaayo okudda ku bintu ebigenda okugwawo mu biseera eby’omu maaso, tewali kyali kivumbuddwa emyaka olukumi mw’ebina (1,400) ekyali kisobodde okumenyawo ebya Kulaane. So nga ne encyclopedia (ebitabo bimukunngaanya) ez’ensi yonna zimaliriza nga zirina bye zeetaaga okulongoosaamu era ne zezza obuggya buli lukedde nga ziyita mu kufunayo ebitabo ebipya ebirongoosa mu bikadde.
Mu biseera Kulaane we yassibwa, waaliwo amawulire matono nnyo wano na wali agaali gakwata ku kusaanawo kw’abantu ba Aad, Thamuudu, n’amataba g’oku mulembe gwa Nuuhu ng’ate ebyo byabeeranga mu ngeri za nfumo. Wabula Kulaane ey’ekitiibwa yawa obuntu ebintu ebikwata ku bantu bano mu ngeri ekkiriziganya n’okumanya kw’ebyafaayo.
Kulaane era erina amawulire g’ereeta agakwata ku biseera eby’omu maaso. Ka tuleeteko agamu ku go:
Waaliwo olutalo wakati w’Abalooma n’abagoberezi ba Zoroaster (Abaperuusi). Olutalo luno lwawangulwa Bazoroasta. Bamusinzabibumbe abaayagala okukozesa akakisa kano beewaanira ku Basiraamu bwe batyi:
“Mwerowooza nti mujja kuba ba kitalo kubanga mulina Ekitabo ekitukuvu. Kati laba Abazoroasta bawangudde (bannammwe) Abalooma nabo ‘Abantu abalina Ekitabo,’ era nga baagezaako okumenya enzikiriza yaabwe n’obumalirivu bwe baalina”. Olw’ebyo bye baayogera Allah yassa aya zino, ezaagenderera okuzzaamu abakkiriza amaanyi era ne zikola bubi Bamusinzabibumbe:
“Alif Laamu Miimu. Abalooma bawanguddwa mu nsi ez’okumpi naye nabo, oluvannyuma lw’okuwangulwa, bajja kuwangula. Mu myaka mitono nnyo (wakati w’esatu n’omwenda). Okusalawo kwa Allah ku biyise n’ebigenda okugwawo mu biseera eby’omu maaso. Ku lunaku olwo abakkiriza bajja kusanyuka olw’okutaasa kwa Allah (kwe balifuna). Allah ataasa oyo gw’aba ayagadde era Ye ye Waamaanyi Omusaasizi.” (Ruumu [Abalooma], 30 : 1-5)
Mu kiseera ekyo Byzantium yali efootoose nnyo ng’efuuse nnafu nga tewali yali ayinza kulowooza nti oluvannyuma lw’okuwangulwa okwo okwabayisa obubi ennyo nti baali bayinza okudda engulu. Naye Kulaane ey’ekitiibwa yakkaatiriza nti:
“(Ekyo) ndagaano ya Allah era Allah tayawukana na ndagaano gy’aba akoze, wabula abantu abasinga obungi tebamanyi.” (Ruum [Abalooma], 30 : 6)
Ku nkomerero, Allah yatuukiriza ekisuubizo kye. Abawandiisi b’ebyafaayo bonna bakkiriziganya nti Abalooma baawangula Abaperuusi mu kiseera ekitaaweza myaka mwenda. Era ku lunaku lwe lumu, Abasiraamu baawangula Bamusinzabibumbe mu lutalo lw’e Badiri.[1]
Allah Oweekitiibwa yagamba ku by’okuzikiriza Falaawo (Pharaoh) mu nnyanja, Falaawo bwe yasemberera okukkiriza ng’era bwe kyali kisuubirwa we yabeerera mu kaseera ng’Ennyanja Emmyufu egenda kumumira:
“(Yagambibwa nti:) Kati (lw’ojjukira)! Nga wagyema dda era n’obeera mu bantu aboonoonyi! Olwaleero tugenda kusigazaawo omubiri gwo, obeere akabonero kw’abo abalijja oluvannyuma lwo. Era mazima ddala abantu abasinga obungi tebeefirayo eri obubonero bwaffe!” (Yunus [Yona], 10 : 91 – 92)
Omubiri gwa Falaawo gwasangibwa mu kuvumbula okwakolebwa mu bissera bino. Kati omulambo gwe nga guli mu mbeera ey’okuvunnama nga n’enviiri zaagwo n’olususu tebikwatiddwaako, gusobola okulambulwa mu kisenge eky’ekyenda mw’ebina (94th hall) mu kkuumiro ly’eby’obuwangwa erya Bungereza (British Museum) mu London.