Buli Nnabbi yakola ebyamagero ebiwera okusinziira mu byetaago by’ekiseera kye. Mu biseera by’ow’ekitiibwa Yesu, Saayansi eyali asinga okukkirizibwa yali wa busawo era nga bwe bwali businga okucaaka mu kiseera ekyo – era ng’abantu abaali basinga ettutumu baali basawo. Olw’ensonga eyo, ebyamagero ebyaleka abasawo nga tebalina kya kwogera bye byaweebwa ow’ekitiibwa Yesu (emirembe gibeere ku ye), okugeza ng’okuddiza muzibe okulaba n’okuzuukiza omufu. Mu biseera by’ow’ekitiibwa Musa (emirembe gibeere ku ye) ebintu ebyewuunyisa byakolebwanga balogo, olwo ebyamagero ebyali eby’okusirisa abalogo ne biweebwa Nnabbi Musa. Mu biseera by’ow’ekitiibwa Muhammadi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) obukugu mu kwogera n’amagezi agakozesebwa mu kulambulula n’okusengeka ebigambo bye byali ku mulembe. Olw’ensonga eyo, ekyamagero ekya Kulaane ey’ekitiibwa, eyo eri ku ntikko y’obukugu mu Luwalabu n’obunnyonnyofu n’eweebwa Nnabbi Muhammadi.[1]
N’engeri zonna ez’obunnyonnyofu bw’olulimi, ensengeka yaalwo, embaga y’amateeka, obubaka obulimu, n’okwogera ku bintu ebitamanyiddwa, Kulaane kyamagero eky’amaanyi ennyo.[2] Bamusinzabibumbe bwe baagaana okukkiriza Kulaane, Allah Owoobuyinza yabasoomooza bagezeeko okuleeta ekyefaanaanyirizaako Kulaane oba waakiri ekitundu obutundu era beeyambise oyo yenna gwe baali baagala mu bitonde byonna abayambe mu kino.
“Bwe muba nga muli mu kubuusabuusa kw’ebyo bye twassa ku muddu waffe kale muleeteeyo essuula emu bw’etyi efaanana Kulaane eno, muyite abayambi bammwe (bwe wabaayo yenna ayinza okubayamba) atali Allah, bwe muba nga mwogera mazima (okubuusabuusa kwammwe nga kutuufu). Naye bwe muba nga temukikoze – ate nga ddala temujja kusobola kukikola – mutye Omuliro ogwo enku zaagwo bantu na mayinja, ogwategekerwa abo abagaana okukkiriza.” (Baqara [Ente], 2 : 23 – 24).
Okukkaatiriza n’okukakasa ebyeyolekera mu bigambo ebigamba nti “ate nga ddala temujja kusobola” biraga ng’ensibuko y’ebigambo ebyo erina kuba nga y’oyo alina okumanya n’amaanyi agatalinaako kkomo, era oyo ye Allah. Mu mazima, tewali yenna atali Allah ayinza kusalawo oba okukozesa ebigambo eby’amaanyi bwe bityo, ku kintu ekitamanyiddwa muntu yenna ekigenda okugwawo mu biseera eby’omu maaso.
Abatakkiriza baawulira ebigambo ebitukuvu ebyali bisoomooza era nga byogera ku butasobola bwabwe era ebigambo ebyo ne bisigala nga bibalumiriza, ne byongera okwegomba kwabwe ennyo okuddamu okwanukula okusoomooza okwo, naye tebalina kye baali basobola kukola. Aya eno yasaasaanya ekigambo eky’obunafu bwabwe okuva ku lulimi okudda ku lulala n’okuva e Bule n’e Bweya, era n’eraga obutasobola bwabwe n’ebatunga n’emimwa.[3]
Okuva lwe baali tebasobola kwanukula kusoomooza Kulaane kwe yakola, Bamusinzabibumbe mu kifo ky’okukola ekyali kibasabiddwa, baasalawo kukozesa makubo malala, okugeza okugaana, okutawaanya, okuvuma, n’okutemerera. Mu kugamba nti: “Temuwuliriza Kulaane eno mukole amaloboozi ng’esomembwa, ob’olyawo ne muwangula!” (Fusswilat [Byannyonnyolwa], 41 : 26), baalaga nti baali bawanguddwa ddala n’amaanyi amatukuvu.
Kulaane ey’ekitiibwa si bitontome wadde ebigambo ebya bulijjo. Wabula, erina ensengeka etenkanika egatta ebirungi ebiri mu bino byombi. Erina ebirungi ebitayinza kusangibwa mu bitontome oba ennyimba. Bw’esomebwa emirundi egiwera omuntu tayinza kuwulira kuddinngana, buli omu ku basoma n’abawuliriza afuna omugabo gwe gumu mu byengera okuva mu ddoboozi erikyuka buli kiseera era n’afuna okudda obuggya.[4]
Kulaane erina ky’ekola ku mitima gy’bantu. Kino kyazuuka ne ku basajja abaali basinga amaanyi mu Bamusinzabibumbe abaagaananga abantu okuwuliriza Kulaane, nga bano baali Abu Sufyaane, Abu Jahali, ne Akhnas bin Shariiq. Buli omu ku bano, nga tabuulidde ku banne, yeebbanga n’agenda awuliriza Omubaka wa Allah (okusaasira n’emirembe gibeere ku ye) ng’asoma Kulaane bwe yabanga asaala ekiro. Bwe beegwako buli omu yanenya munne. Naye ekintu kye kimu kyagwawo emirundi esatu. Oluvannyuma buli omu yagamba munne:
“Tetubuulirako muntu yenna. Abantu bwe banaategeera kye tukola, mbalayirira Allah, tujja kuswala ebitayogerekeka! Oluvannyuma lwa kino, tetujja kusobola kubaako na gwe tugambako ku nsonga eno…” Oluvannyuma lw’okuvumirira ekikolwa kye baali bakoze, bakkiriziganya nti eby’okwebba ne bawuliriza Kulaane ng’esomebwa baali tebakyabiddamu.[5]
Kulaane ey’ekitiibwa ebuulira abantu bangi abawangaalira mu biseera eby’enjawulo n’ebifo eby’enjawulo nga n’okumanya kwabwe kwawukana nnyo ng’esinziira ku madaala gaabwe. Aya erekawo ekifo ky’okutegeera okw’enjawulo yategeerwa abantu ab’omu mirembe egyasooka okusinziira ku mbeera gye baalimu n’abo ab’omu mirembe egyasembayo nabo okusinziira ku madaala gaabwe ag’okuvumbula kwa Saayansi ge baali batuuseeko. Ku nsonga eno omuwandiisi Omuwalabu Mustwafa Swadiq al-Raafi-i agamba ebigambo bino wammanga nti:
“Ekimu ku byamagero bya Kulaane ey’ekitiibwa kwe kuba ng’etereka, mu bigambo ebimanyiddwa ku buli mulembe gw’ebyafaayo, ebituufu ebitamanyiddwa mu buli mulembe, n’ebyo by’eggyayo mu lujjudde mu kiseera ekituufu.” (Wahy ul Kalaamu, Kuwait ts, II, 66)
[1]. Al-Ankabuut (The Spider – Nabbubi), 29 : 50 – 51; Bukhari, I’tiswam (Okwekuuma) , 1, Fadhwailul Kur’ân (Ebirungi bya Kulaane) 1; Muslim, Imaan (Obukkiriza), 279. Ng’oggyeeko ekyamagero kya Kulaane ekijja okugenderera okutuusa ku Lunaku lw’enkomerero, waliwo ebyamagero ebirala nkuyanja ebya mukama waffe Nnabbi, nga bannabbi abaamusooka bye baakola, ebyo bye baatutuusaako ebijjuza ebitabo ebingi. Okugeza laba Beyhakî (Bayihaqi), Delâilü’n-Nübüvve (Dalaailu Nnubuwwah – Obubonero bw’obwannabbi) (Ekiri mu bitabo omusanvu omulamba), Beirut 1985; Abu Nuaym al-Isfahaan, Dalaa-ilu Nnubuwwah Delâilü’n-Nübüvve (Dalaailu Nnubuwwah – Obubonero bw’obwannabbi) (mu bitabo bibiri), Halep 1970 – 1972; Suyûtwi, Olağanüstü Yönleriyle Peygamberimiz (al-Hasaisü’l Kübra) (mu bitabo bisatu), Istanbul 2003; ne mpapula olukumi 1,000-page tome ekya al-Nabhâni, Hujjatullah alâ ‘al-alâmin bi-mu’jizât Sayyid al-Mursalîn (Ensonga za Allah eri ebitonde ku byamagero bya Kabaka w’Ababaka).
[2]. Pulofeesa Dr. M. S. R. el-Bûti, Min Ravâi’il-Kurân (Min Rawaa-i’il Qur’an – Ebimu ku birungi ebiri mu Kulaane), olup. 125
[3]. M. S. Râfii, I’jâzu’l Kur’ân (I’jaazul Qur’an – Ebyamagero bya Kulaane), Beirut 2003, olup. 142
[4]. Pulofeesa Dr. M. A. Draz, en-Nebeü’l Azîm (An Naba’ul Adhwim – Ekigambo Ekinene), Dâru’l Kalem, ts.; olup. 102.
[5]. Ibn-i Hişâm (Ibn Hishaam), I, 337 – 338; Taberi (Twabari), Târîh (History – Ebyafaayo), ii, 218 – 219, Ibn-i Esîr (Ibn al Athiir), Kâmil, II, 63 – 64, Ibn-I Seyyid al-Nâs, Uyünu’l eser (Uyuunul Athar), I, 99; Zehebî (Dhahabii), Târîhu’l Islâm (Taarikhul Islaami – History of Islam – Ebyafaayo by’Obusiraamu), olup. 160 – 161; Ibn-i Kathir (Ibn Kathiiri), el-Bidaye (al-Bidaaya), III, 47; Halebî (Halabii), Insânu’l-uyûn, I, 462.