Allah Oweekitiibwa yassa Kulaane ey’ekitiibwa mu bitundutundu, sso ssi mulundi gumu, olw’ensonga nnyingi. Embeera eno yawa omuntu emigaso mingi era n’agiganyulwamu nnyo era n’emuyamba n’emuwonya ebintu bingi. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yalina abawandiisi bangi abaali bawandiika obubaka. Omuwendo gwabwe gwatuuka mu nkaaga mu abataano (65) okusinziira ku njogera ezimu. Ekitundu mu Kulaane ey’ekitiibwa bwe kyakkanga Nnabbi yayitanga abaali basobola mu bawandiisi abo ekitundu kya Kulaane ekisse ne bakissa mu buwandiike.[1] Aya baaziwandiikanga nga bakozesa ebintu ebyaliwo mu biseera ebyo ebyali bisoboka okuwandiikibwako era nga bye baabanga bawandiise nga babisomera mu Mubaka wa Allah n’abyetegereza.[2]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) aya ezaabanga zissiddwa yaziyitiranga mu Basswahaba ng’asooka basajja oluvannyuma n’ayitira ne mu bakazi.[3] Abasiraamu nabo baateranga okukwata bukusu obubaka obwabanga busse, n’abalala baayinzanga okukuuma obubaka nga bayita mu kubuwandiika awantu. Aya za Kulaane ezakkanga zaasomebwanga mu sswala ezaasaalibwanga emirundi etaano olunaku. Mu mwezi gwa Lamanzaane Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ne Jibuliilu (emirembe gibeere ku ye) baasomanga Kulaane nga buli omu asomeramu munne. Mu mwaka ogwasembayo mu bulamu bwa Nnabbi ekyo baakikola emirundi ebiri.[4] Mu kuwaanyisa kuno (buli omu ng’asomera mu munne) Basswahaba abamu baabeerangawo era nga bagoberera bulungi ebisomebwa mu Kulaane. Oluvannyuma lw’okusoma kwa ab’ebitiibwa Nnabbi ne Jibuliilu okwakomererayo, Mukama waffe Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), Zayidi bin Thabit ne Ubayy (bombi Allah abasiime) buli omu yasomeramu mu munne. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yasomera mu Ubayy bin Ka’ab Kulaane emirundi ebiri miramba.[5]
Ate ekiri waggulu wa byonna, Mukama waffe Nnabbi ne Basswahaba be baafuba nnyo okusomesa Kulaane. Bwe zityo entegeka zonna zaali zimaze okuggwa Kulaane okufuuka ekitabo ng’era buli kintu ekiri mu Kulaane kyetegerezebwa bulungi.[6]
[1]. Pulofeesa Dr. M. M. el-A’zam Kur’ân Tarihi (History of Quran – Ebyafaayo bya Kulaane), olup. 106 – 107.
[2]. Bukhari, Fadhwailul Qur’an (Ebirungi bya Kulaane), 4; Tirmidhi, Manaaqib, 74 / 3954; Ahmada bin Hanbal, V, 184.
[3]. Ibn-i Ishâk (Ibn Ishaaq), Sîret (Siirat), olup. 128.
[4]. Bukhari, Bad-ul Khalq (Entandikwa y’okutonda), 6; Fadhwailul Qur’an (Ebirungi bya Kulaane), 7.
[5]. Mukaddimetân (Muqaddimataan), Kyafulumizibwa A. Jeffery, olup. 74, 227; Tâhir el-Cezâiri, et-Tibyân, olup. 26.
[6]. Ku nsonga eno, oyinza okukebera mu bitabo bino: Pulofeesa Dr. M. M. el-A’zami, The History of the Qur’anic Text from Revelation to Compilation: A Comparative Study with the Old and New Testaments (Ebyafaayo bya Kulaane okuva lwe yakka okutuuka lwe yakunngaanyizibwa: Essomo ly’okugeraageranya ne Ndagaano Enkadde ne Ndagaano Emppya), Leicester: UK Islamic Academy, 2003; M. Hamidullah, Kur’ân-i Kerîm Tarîhi (The History of the Noble Quran – Ebyafaayo bya Kulaane ey’eekitiibwa) (Introduction Section of Le Saint Coran).