Mu butonde bwabwe, abantu bitonde ebiwangaalira awamu. Omuntu tayinza kuwangaala yekka. Bulijjo ali mu bwetaavu eri bantu banne abalala abo bajja okuteekawo enkolagana ey’okumpi nabo era b’anaanyweza nabo enkolagana. Kuno kw’ogatta omuntu okubeera nti yatondebwa nga munafu atasobola kwemalirira na kwetuusaako byetaago bye byonna. N’olw’ekyo, abantu balina okuwangaalira awamu ng’ekibiina ky’abantu, buli omu alina okuyamba munne, era obuvunaanyizibwa bwabwe bwe balina okutuukiriza obwabalagirwa Allah balina kubukolera wamu. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yalagira bw’atyi:
“Omukono (obuyambi) gwa Allah guli wamu na kibinja. Oyo yenna ayawukana ku mugendo amaliriza ali mu kkubo erimutuusa mu Muliro.” (Tirmidhi, Fitan [Ebikemo], 7 / 2167)
“Ekibinja kusaasira, okwawukana mu bubinjabinja kibonerezo.” (Ahmad Ibn Hanbal, IV, 278)
Ebikolwa byonna eby’okusinza okugeza okusaala mu jjama, Esswala ey’okulw’okutaano (Sswala ya Jjuma), Esswala za Idi, Okulamaga (Al Hajj oba Hijja), okuwaayo omutemwa ogwalaalikibwa (zaka), okuyamba abantu mu ngeri gye bawangaalamu (okunoonya riziki), okusaddaaka ebisolo, n’ebyo ebirimu enkolagana wakati w’abantu obutereevu okugeza emikolo gy’okuziika, emikolo gy’embaga, okulambula abalwadde, okukuuma enkolagana n’abooluganda nga ya maanyi, okulabirira abo abali mu bwetaavu, (ebyo byonna) bulijjo bikubiriza bantu kubeera bumu. Mu butuufu wayinza okubeerawo emitawaana egitali gimu egizuukawo nga giva mu nkolagana eno. Mu mbeera eno, obugumiikiriza n’okugumira ebizibu bye bisumuluzo. Obusiraamu bulagaanyisa Abasiraamu abo abawangaalira mu kibinja ne bagumira n’ebizibu by’abalala empeera ennyingi ze beeyoolera.
Mukama waffe Nnabbi (okusaasira n’emerembe bibeere ku ye) yawangaalanga n’abantu bonna ab’ebika eby’enjawulo naye ng’abalaga ekisa era nga tamenya mitima gyabwe wadde nga yateranga okusanga obuzibu mu bamu abaaberanga tebalina kisa yadde okusaasira mu mitima gyabwe era nga bamuyisa bubi. Taata we omuto Abbaasi (Allah amusiime) ekisa kyamukwata olw’embeera omwana wa muganda we gye yali awangaaliramu n’abantu ab’ekika kino n’amugamba nti:
“Mubaka wa Allah! Ndaba abantu bakukijjanya, bakutawaanya n’enfuufu gye basitula. Lwaki toteekawo weema ey’enjawulo mw’olabira abantu?” Mukama waffe (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), Allah gwe yatuma ng’ekyokusaasira eri ebitonde byonna, kwe kugamba nti:
“Nedda! (Nja kubeera bw’entyi) okutuusa Allah lw’alibanzigyamu n’antwala awali eddembe nja kusigala nga ndi nabo. Tekirina mutawaana, baleke banninnye ku bisinziiro, basike engoye zange, oba bantawaanye n’enfuufu gye basitula!” (Laba Daarimi, Muqaddimah [Ennyanjula], 14; Ibn Shaybah, Muswannafu, VII, 90; Ibn Sa’adi, 193)
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yakubiriza abantu be ekintu kye kimu nga bw’agamba nti:
“Omusiraamu awangaala n’abantu n’agumira ebinyiiza bye bamutuusaako mulungi okusinga Omusiraamu oyo atali nabo era agezaako okwewala abantu okumunyiiza.” (Tirmidhi, Qiyaama [Olunaku lw’okuyimirira mu Bbaliro], 55 / 2507).
Obusiraamu bulunngamya abantu eri obulamu obukyukakyuka n’ebintu ebikwata ku mpangaala y’abantu nga buyita mu kutulagira okukola tusobole okwebeezaawo, okubeera abafumbo, wamu n’okuzaala abaana, okuyamba mu mpangaala y’abantu, okubeera omukono oguwaayo (okugaba), okukozesa obulungi obudde, okukozesa ensi okutuuka ku ddaala erikomererayo ng’ekkubo eriyitibwamu okufuna Enkomerero ennungi, okulangirira amazima eri abantu bwonna n’okubakulembera okubaggya mu kukola ebibi, okukuuma ebintu, obulamu, ensa, n’obulamu (obutali bulwadde) mu mirembe egy’enjawulo, n’ensi… Obusiraamu buyamba okussaawo obulamu obuzimbiddwa ku bwegendereza, obulina kye bukola, era obuzuukufu, nga buyita mu “oyo akola ekirungi kyonna ajja kulaba empeera zaakyo n’oyo akola ekikolwa ekibi ajja kulaba empeera zaakyo ne bwe kiba kyenkana empeke y’akalo”.[1]
[1]. Az Zalzala (The Earthquake – Musisi oba okukankana kw’ensi), 99 : 7 – 8); Al An’aam (Livestock – Ebisolo Eby’owaka Ebirundwa), 6 : 104; Az Zumar (The Companies – Ebibinja), 39 : 41; Fusswilat (Made Plain – Binnyonnyoddwa), 41 : 46; Al Jaathiya (Kneeling – Okufukamira), 45 : 15.