9. Obusiraamu Bufaayo Nnyo ku Ddembe ly’Okusalawo Eddiini Omuntu Gy’asoma n’Ery’okubeera n’Endowooza

Wadde nga Allah yatonda abantu n’abawa endowooza n’eddembe lyabwe ery’okusalawo, era n’abalaga ekituufu n’ekikyamu, naye tayingirira kusalawo kwabwe. Buli muntu yeesalirawo ng’ayita mu ddembe ly’okusalawo era ye kennyini ajja kwennganga ebiva mu kusalawo okwo. Aya entukuvu egamba nti:

“(Omubaka wange!) Singa kwe kwali okwagala kwa Katonda wo, abantu bonna (abali ku nsi) bandibadde bakkiriza! Oyinza okukaka abantu, nga tebayagala, okubeera abakkiriza? (Yunus [Yona], 10 : 99)

Oyo ayagala akkirize noyo ayagala agaane okukkiriza (Kahf [Empuku], 18 : 29)

Bwe mugaana (okukkiriza Allah), mazima Allah talina kyabeetaagako; naye obugyemu (obukaafiiri) tabwagaliza baddu be; bwe muneebaza, Allah ajja kubasiima ku lwekyo. (Zumar [Ebibinja], 39 : 7)

Mu biseera by’obutamanya, abakazi abazadde abaana baabwe bwe baafunanga obulwadde obw’amaanyi ennyo beeyamanga eri Katonda nti: “Omwana wange bw’anawangaala nja kumufuula Muyawudi.” Eyo ye nsonga lwaki ekika kya Bayawudi ba Banu Nadir bwe baali bawanngangusibwa okuva mu kibuga ky’e Madiina olw’okumenya endagaano gye baali bakoze ne Mukama waffe Nnabbi, mwalimu abaana aba Abasiraamu abapya abaali bafuuliddwa Abayawudi. Abasiraamu ab’oluganda lw’abaana bano kwe kugamba nti: “Tetujja kuleka baana baffe (Tujja kubakwata na maanyi tubakake okukyuka okudda mu Busiraamu).” Olw’ensonga eyo Katonda Owoobuyinza yassa aya eno egamba nti: “Tewali kukaka bantu kuyingira mu ddiini.”[1]

Obusiraamu tebwetaaga kwekakaatika ku bantu. Olw’ensonga eno, bwewala embeera yonna ey’okwekakaatika. Butuusa n’okwewala okukakaatika okunyigirza mu by’amagezi. Ebyamagero, okugeza, tebyali kimu ku makubo amakulu ag’okusaasaanya Obusiraamu. Okusaba eby’amagero nga bisinziira ku bintu ebyewuunyisa ebyazuuka ku w’ekitiibwa Nnabbi tekyayanirizibwa. Okuva Obusiraamu lwe bwaliwo ku mulembe obuntu we bwabeerera nga buli ku ddaala erya waggulu, bw’ayogera eri amagezi n’ebirowoozo n’eby’amagero eby’ebigambo ebya Kulaane. Bweyunga n’abantu nga buyita mu mateeka amasengeke n’obujulizi obumatiza. Olw’ensonga eyo tebwakozesaako maanyi ng’ekkubo ly’okuyingiza abantu.

Munnabyafaayo Omungereza omwatiikirivu Philip Marsall Brown yawandiika bw’atyi, “Wadde nga baafuna obuwanguzi obw’amaanyi, Abatuluuki baawa abantu ab’omu nsi ze baawangula eddembe ly’okwetambuliza ensonga zaabwe okusinziira ku buwangwa n’obulombolombo bwabwe.”

Napoleon Bonaparte bwe yalumba Obwakabaka bwa Ba-Ottoman wakati w’emyaka 1798 ne 1799, yayagala Ba-Armenia abaali bawangaalira mu Palastiina ne Syria bagyeme. Kyokka omubaka wa Bufaransa eyali mu Istanbul, Sebastiani, yamuwabula nti: “Ba Arminiya bamativu nnyo n’engeri gye bawangaalamu wano era nga tekijja kusoboka okubasikiriza okufuuka abayeekera.”[2]



[1].     Al Baqara (The Cow – Ente), 2 : 256. Abu Dawuda, Jihad (Okulwana mu kkubo lya Allah), 116 / 2682; Vâhidi (Waahidi), olup. 85 – 87.

 

[2].     Laba http://www.atmg.org/ArmenianProblem.html.