Ebitamiiza bye by’okunywa eby’omutawaana ebitakkiriziganya na bubumbwa bwa muntu. Embeera entuufu eri abantu kwe kubeera nga bategeera era nga bamanyi bulungi ebigenda mu maaso. Tekikkirizibwa omuntu okuggweebwamu akeefuga era n’abeera omutamiivu era omugayaavu. Ekiva mu kuggwaamu akategeera kwe kukyama mu mpisa n’ebikolwa, ate ng’ekyo tekyewalika eri abo abalaba okunywa ebitamiiiza ng’eky’obutonde.
Okunywa ebitamiiza kkubo lya maanyi erivaamu ebintu ebikyamu ebingi eri omuntu ssekinnoomu n’eri abantu bonna mu kitundu okutwalira awamu. Okunywa ebitamiiza kukosa obusobozi bw’amagezi, so ng’ebintu byonna ebikwata ku nsi ne ku Lunaku lw’enkomerero bikolebwa na magezi. Amagezi bwe gaggwaamu, omuntu akola ensobi ezitakkirizika. Ng’ebyokunywa eby’omwoyo (ebitamiiza eby’amaanyi) bwe byakirawo nga waliwo akantu konna akabikoleezezza, bwe kityo kyangu okukoleeza endowooza embi mu bwongo n’omutima gw’oyo okwekatankira ebitamiiza gwe kuba kufuukidde omuze.
Sitaane ayingiza obukyayi n’obulabe mu bantu ng’ayita mu bitamiiza n’okuzannya zzaala, era buli omu n’amukozesa obulabe ku munne. Ebitamiiza bibafuula abanaku wano ku nsi ne ku Lunaku lw’enkomerero nga biyita mu kubaziyiza okwogera ku Allah n’okumujjukira, okusaala, n’okusinza okwengeri endala. Mu bimpimpi, Sitaane ayonoona ensi yaabwe n’Enkomerero yaabwe.[1]
Pulofeesa Omuruusiya (Omurussia) Rachinsky yayogera ebigambo bino eby’amagezi:
“Sitaane erindira mu ccupa n’etwala buli kantu abanywi ke balina. Enyakula ne ssaati esembayo gye balina mu bulamu n’ekitole ky’emmere ekisembayo omwana gwe basitudde ky’abadde agenda okulya. Okwongera kw’ebyo, Sitaane eggyako abantu abo b’eba efudde abaddu n’ab’omu maka gaabwe, obulamu bwabwe, ekitiibwa kyabwe (ensa), okutegeera kwabwe, amasanyu, obutebenkevu n’essanyu. Nga bw’emalawo obumalirivu n’okwagala okukola, bw’etyo era ebaggyako buli kasekeso konna ak’okufunamu ssente. Okusooka kwa byonna, lowooza n’ekisa ku maanyi gonna agafiira mu kukola mu mwenge n’ebitamiiza ebirala. Kubisaamu, n’ekisa, emmere, eby’okunywa, n’amaanyi ebyonoonebwa okuteekateeka eby’okunywa bino ebitamiiza eby’engeri ezitali zimu. Singa obuwumbi n’obuwumbi obw’emigaati, enzabbibu, n’ebibala ebirala abantu bye bamala goonoona ne bayiwa mu lutobazi lw’ebitamiiza nga byali bikozeseddwa bulungi, tewandibaddewo njala oba buseere bwa mmere mu nsi eno. Ng’otadde abantu ku bbali, naye emmere emala okuliisa buli kisolo nayo yandifunise!
“Embalirira ya Sitaane mu ccupa y’omwenge teyinza kumanyibwa yonna, olw’ensonga nti abo abagoberera Sitaane basasula mu bujjuvu omusolo gw’okukozesa ebitamiiza (byayo). Naye abantu be bamu bwe kituuka ku kusasula abababanja beetuulako. Bulijjo Sitaane by’ebanja eba eyagala kusasulwa mu bujjuvu ate buliwo. Abantu bano ne bwe babeera nga tebalina ssente zimala kusasula, waakiri babba oba ne batemula, oba ne batunda ensonyi n’ebitiibwa byabwe oba ensonyi n’ebitiibwa by’abantu b’omu maka gaabwe, naye balina okukakasa nti basasudde omusolo gwa Sitaane.
“Olw’ebitamiiza, obulamu bw’abantu bangi ab’omuwendo era ab’omugaso bwayonoonebwa. Abantu abo bafiirwa emigaso (omuwendo) gye balina. Ebitamiiza n’okunywa omwenge byonoonye obulamu bw’obukadde bw’abantu abaatiikirivu. Nga bwe kitasoboka okuzimba bwaguuga w’ebizimbe eby’amaanyi mu ntobazi, era tekisoboka okufuna obutebenkevu obugenderera n’emirembe mu ggwanga ery’abatamiivu n’abanywi. Olw’ensonga eyo, ebintu eby’okutereeza embeera birina okutandikirawo, nga bisookera ku kuzuukusa ggwanga lino live mu mbeera eno embi.”[2]
Okusinziira ku alipoota ekyasembyeyo ey’ekibiina ky’ensi yonna ekifuga eby’obulamu (World Health Organisation), eyakolebwa ku nsi amakumi asatu (30), ebitundu kinaana mu bitaano ku buli kikumi (85%) eby’emisango gy’obutemu (nga wakati we nkaaga ne nsanvu ku gino batemula bantu ba mu maka gaabwe), ebitundu amakumi ataano ku buli kikumi (50%) eby’ebikolwa eby’obukambwe mu maka, ebitundu nkaaga ku buli kikumi (60%) eby’okwebulankanya ku mirimo, n’ebitundu wakati wa ana n’ataano ku buli kikumi (40 – 50%) eby’obulwadde bw’omutwe (eddalu), biva ku kukozesa bubi bitamiiza. Abaana abawere abayinza okufuna ebizibu ku bwongo mu baana abazaalibwa abazadde abanywi b’ebitamiiza bali 90% waggulu. Ku mukyala omutamiivu, obuzibu bw’okuzaala omwana aliko obulemu biri ebitundu 35%. Kino kijja lwa kuba ng’ebitamiiza bigaana omwana ali mu nda mu lubuto okukula obulungi mu lubuto lwa maama we n’okukula oluvannyuma lw’okumuzaala, era kuleetera omwana okuzinngamya obwongo, okuyimpawala mu kigero, n’ebizibu mu nneeyisa y’omwana. Okuva abaana b’abatamiivu lwe bakulira mu mbeera omuli ennyombo ezitatadde n’ebikolwa eby’obukambwe, ekizibu ky’okukosebwa mu mpisa okweyongera n’ebizibu ebiyinza okuzuuka mu nneeyisa zaabwe kuli waggulu nnyo. Olw’ekyo abaana bwe batyo abasinga obungi tebatera kubeera balungi mu kusoma ne mu bulamu obwa bulijjo.[3]
Okusinziira ku alipoota entongole eya gavumenti ya Bungereza, omugugu ku byenfuna bya Bungereza, oguva mu kulwana, okufuna ebisago, ebikozesebwa mu kujjanjaba n’ebirala, nga bino biva ku ttamiiro, guweza obuwumbi amakumi abiri (20 billion sterling pounds) ze ddoola za Amerika ng’obuwumbi amakumi asatu malamba (30 billion dollars).[4]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yatulagira nti, “Tonywanga bitamiiza kubanga oyo ye maama w’ebibi byonna.” (Ibn Maajah, Ashriba [Eby’okunywa], 1). Era yagamba nti, “Singa obungi bw’ekintu buba busobola okutamiiza omuntu, na bwe kityo ekitono kya kyo kiba kyaziyizibwa.” (Abu Dawuda, Ashriba [Eby’okunywa], 5 / 3861; Tirmidhi, Ashriba [Eby’okunywa], 3 / 1865).
Eyo ye nsonga lwaki omuntu teyandibuzaabuziddwa n’abo abagamba nti, “Teri kizuuka ng’omuntu anyweddeko katono, ne yeewala okutamiira.” Ekipimo ekikozesebwa kyangu, ekintu ekingi bwe kibeera nga kiviirako omuntu okutamiira, ekitono kya kyo kiba tekikkirizibwa. Obusiraamu bwagala okuziyiza obukyamu mu ngeri esinga obulungi, nga buyita mu kuziba amakubo gonna agatuusa omuntu okukola ekyonoono. Bugaana eby’okukola ebiri mu bigambo nga tebikwatagana na biri mu nkola mu bulamu. Buteekawo okuziyiza ebintu n’amagezi mangi nnyo bisobole okutangirwa era ne buwa ebibonerezo ebisinga okusaanira eri abo abakola ebyo ebyaziyizibwa. Embeera eno eraga butya eddiini yaffe bw’eteeka ekitiibwa mu bantu n’ebakkiriza n’ekisa n’okusaasira (n’okulumirwa) ebitalinaako kkomo.
[1]. Al-Maida [Emmeeza], 5 : 90 – 91.
[2]. Grigory Petrov, Ideal Öğretmen (The Ideal Teacher – Omusomesa Atuukiridde), Istanbul 2005, olup. 48 – 52.
[3]. Musa Tosun, Article: “Içki” (Alcoholic Drinks – Eby’okunywa Ebitamiiza), Diyanet Islam Ansiklopedisi – Encyclopedia of Islam (Mukunngaanya w’Obusiraamu) (Republic of Turkey, Presidency of Religious Affairs), XXI, olup. 463.
[4]. The Guardian, Saturday March 27 2004, “Sobering thoughts about a claim”, Sean COUGHAN.