Amazzi lye kkubo erisinga okubeera ekkulu mu kukuuma embeera y’obutonde nga nnyonjo wamu n’okugikulaakulanya. N’okusingira ddala, obulamu mu nsi buyimiridde ku mazzi. Amazzi bwe bulamu era gwe musingi ebintu byonna ebiramu kwe biyimiridde. Kulaane ey’ekitiibwa egamba nti:
“Twatonda okuva mu mazzi buli kintu ekiramu.” (Nuuru [Ekitangaala], 24: 45; Anibiyaa [Bannabbi], 21 : 30)
Katonda Owoobuyinza yawa amazzi ebitendo eby’enjawulo abaddu be basobole okugaganyulwamu. Mu bimu ku bitendo bino mwe muli:
1. Amazzi galina obusobozi okumulungula ebintu bingi nga mw’otwalidde ebirina obulamu n’ebitalina bulamu.
2. Obutafaanana na bintu birala, embeera y’amazzi mwe gasinga okubeerera amazito si y’eyo nga gali mu mbeera y’okwekwata (balaafu) – naye bwe gabeera mu mbeera ey’okusaabulukuka ku ddaala ery’ebbugumu eriweza +4 Centigrade Olw’ensonga eyo, amazzi mu gayanja aganene okukwata gatandikira waggulu olwo ne gagenda nga gakwata okukka wansi, ssi kuva wansi kudda waggulu. Kino kiyamba ebintu byonna ebirina obulamu okutakwata balaafu olwa balaafu ali ku ngulu.
3. Gaasi asemberedde amazzi bamuyita hydrogen Sulphide (H2S), naye wadde ng’azitowa emirundi ebiri okusinga amazzi, ye ali mu mbeera ya gaasi mu bbugumu erya bulijjo (ery’omu kisenge). Mu kiseera kye kimu awunya era nga wa butwa.[1]
Kulaane ey’ekitiibwa emirundi mingi gy’eyogera ku mazzi. Eyogera ku ngeri enkuba gy’etandikamu, emitendera ebire gye biyitamu ne gye bikyukamu ne bifuuka enkuba, butya enkuba bw’etonnyesebwa okukka wansi mu bigero byayo era butya ettaka ekkalu (effu) bwe liddamu obulamu (lizuukizibwa), amazzi aga wansi mu ttaka, embuga y’amazzi, n’engeri ey’okulongoosaamu amazzi amakyafu.[2] Kulaane era eyogera ku bukulu bw’emikisa egiri mu mazzi era enkuba n’egiwa erinnya erya “kusaasira”.[3]
Abasiraamu abamanyi obukulu bw’amazzi bassa essira ku bikwata ku mazzi ne basabira abo ababawa amazzi “okubeera abatukuvu ng’amazzi!” Naddala okuwa amazzi n’eby’okunywa abantu abali okumpi ne Ka’aba ababa bazze okukola Hijja kubalibwa nga kitiibwa kya waggulu nnyo era buvunaanyizibwa bunene.
Abbaasi (Allah amusiime), taata omuto owa Mukama waffe Nnabbi, yalina ennimiro y’enzabbibu e Twaifa. Nga Obusiraamu tebunnajja ne bwe bwali bumaze okujja, Abbaasi yaleetanga enzabbibu okuva mu nnimiro eyo n’aziwa abalamazi abaagendanga okukola Hijja ng’azitadde mu mazzi ga zamzamu. Bwe yafa, batabani be ne bazzukulu be baasigala bakola omulimo gwe gumu.[4]
Olunaku lumu, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagenda mu kifo ku Ka’aba ey’ekitiibwa we baagabiranga amazzi og’obwereere n’eby’okunywa n’asaba bamuwe anyweko. Abbaasi (Allah amusiime) kwe kugamba omu ku batabani be nti:
“Fadhwlu! Genda ewa maama wo oleetere Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) eky’okunywa (eky’enjawulo)!” Mukama waffe Omubaka wa Allah kwe kugamba nti:
“Nedda, mpa eky’okunywa kino buli muntu ky’anywako!” Ow’ekitiibwa Abbaasi kwe kumugamba nti:
“Omubaka wa Allah, ebiseera ebimu engalo z’abantu zikwatirira eky’okunywa ekyo.” Mukama waffe Nnabbi kwe kugamba nti:
“Ekyo kirungi, mpa eky’okunywa buli muntu yenna ky’anywa!” Olwo n’anywa eky’okunywa ekya bulijjo ow’ekitiibwa Abbaasi kye yamuwa. Oluvannyuma, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagenda ku Luzzi lwa Zamzam. Ab’enju y’ow’ekitiibwa Abbaasi baali basena amazzi okuva mu luzzi nga bagawa abalamazi. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yabatendereza nga bw’agamba nti:
“Batabani ba Abdul Muttwalib, musime amazzi! Omulimo gwe mukola gwa ttendo!” Oluvannyuma Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kugamba nti:
“Singa ssi kutya nti abantu bajja kukunngaana bagezeeko okukola ekintu kye kimu (olw’okuba nga nange nnakikola), nnandikutte omuguwa guno ogw’oluzzi bwe ntyi (nga bw’asonga ku kibegabega kye) ne nsima amazzi nga nammwe bwe mukola.” (Bukhari, Hajj, 75)
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yannyonnyola obulungi bw’okuwa abantu amazzi n’agamba bw’atyi:
“Ku Lunaku lw’enkomerero, omuntu aliba agenda okuyingira Omuliro (nga kiwedde okusalibwawo) alisisinkana omuntu aliba agenda mu Jjana n’amugamba nti:
‘Gundi! Ojjukira nti wansaba amazzi ne ngakuwa?’ ng’awo amusaba kumwegayiririrako (kumuwolereza). Omukkiriza agenda kuwolereza omuntu oyo. Omulala ajja kusisinkana omuntu aliba agenda okuyingira Ejjana agambe bw’atyi:
‘Ojjukira olunaku lwe nnakuwa amazzi ag’okufunyisa wuzu?’ era amusabe okumuwolereza era eky’okumuwolereza akifune. Ate era wabeewo omuntu omulala ajja okuba ng’agenda mu Muliro agambe omuntu oyo agenda mu Jjana nti:
‘Gundi! Ojjukira ng’ontuma okukukolera omulimo guno na guno, olunaku olwo ne nkugendera gye wali ontumye?’ Olwo omuntu aliba agenda mu Jjana n’amuwolereza.” (Ibn Maajah, Adab [Empisa], 8)
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yateeka omutima ku mazzi ge yanywanga okubeera amayonjo era agawooma. Yasinganga kwagala mazzi ga nzizi ezaabeerangamu amazzi agawooma,[5] era ng’agaana enzizi ezaabeeranga enkyafu.[6] Mu ngeri y’emu, Obusiraamu bwagala wuzu okugifunyisa amazzi amayonjo era ne bugaana okunywa amazzi oba okukozesa amazzi agakyusizza empooma (eddekende), langi, oba olusu. Okuva amazzi bwe gali amakulu ennyo, tulina okweyaza nga tugenda okugakozesa (ne tutagakozesa bubi).
Olw’ensonga eyo, kikulu nnyo okwagala abantu bonna, ebisolo, ebimera, n’embeera y’obutonde, mu bufunze ensi yonna, n’okuyisa obulungi buli kintu.
Ensonga endala eyeetaagisa okwogerako wano y’ey’obutayonoona butonde, embeera, n’amazzi (obutabiduubuuda oba okubikozesa obubi). Katonda Owoobuyinza agamba nti:
“Abange Abanaadaamu! Mwambale ebirungi buli kiseera na buli kifo we mugenda okusaalira: mulye era munywe naye temudiibuudanga, kubanga Allah tayagala badiibuuzi.” (A’araafu [Ebikomera], 7 : 31)
“Mazima ddala abaduubuuzi baganda ba Sitaane; ate nga Sitaane eri Katonda waayo mugyemu nnyo (nnantasiima).” (Israa [Olugendo lwe Kiro], 17 : 27)
“Naye y’Oyo eyatandikawo ennimiro omuli ebirime ebiwaniriddwa enkondo n’ebyo ebitawaniriddwa nkondo, n’entende, n’ebimera ebirina ebibala ebya langi ez’enjawulo era ebiwooma mu ngeri ez’enjawulo n’ebibala ebirala (olive ne pomegranate) ebifaanana n’ebyawukana. Mulye mu bibala byabyo bwe biba byengedde oba nga bituuse, naye muweeyo omutemwa gwabyo olunaku lw’okukungula. Era temuduubuuda kubanga Allah tayagala bantu baduubuuzi.” (An’aam [Ebisolo Ebirundibwa], 6 : 141)
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) naye yagamba nti:
“Mulye, munywe, mwambale era musaddaake naye temwennyika mu ttosi lya kwonoona oba okweraga.” (Bukhari, Libaasi [Ebyambalo], 1; Ibn Maajah, Libaasi [Ebyambalo], 23).
Tewayinza kubeerawo nsonga esonyiyisa muntu aduubuude amazzi. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yayimirirako ew’ow’ekitiibwa Sa’adi (omu ku basswahaba be). Sa’adi ono yali afuna wuzu ng’akozesa amazzi agayitiridde. Mukama waffe Nnabbi kwe kumugamba nti:
“Okwonoona kuno kwonna kwa ki?” Sa’adi (Allah amusiime) kwe kubuuza Omubaka nti: “Okwonoona amazzi mu kutawaaza nakyo kivunaanisa?” Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kumuddamu nti:
“Yee ne bw’oba ng’oyimiridde ku mugga gwa mazzi ogukulukuta!” (Ibn Maajah, Twhaara [Okwetukuza], 48).
Bwe tuba nga tulagirwa obutayonoona mazzi ne bwe tuba nga tufuna wuzu tusobole okusinza Allah, kiba kirabika bulabisi nti mu mbeera endala ezitali kusinza okwonoona amazzi tekuyinza kugumiikirizika.
[1]. Docent Dr. Şakir Kocabaş, Kur’ann’da (Creation in the Qur’an – Okutonda nga bwe kuli mu Kulaane), Istanbul 2004, olup. 157
[2]. An Nuur (Light – Ekitangaala), 24 : 4; Az Zukhruf (Ornaments of Gold – Eby’okwewunda ebya Zaabu), 43 : 11; Az Zumar (The Troops – Ebibinja), 39 : 21; Waaqi-a (Eky’okugwawo), 68 : 70’ An Naazi-aati (Those who Drag Forth – Abo Abasowolamu), 79 : 31; al Furqaan (Criterion – Eyawula wakati w’ekirungi n’ekibi), 25 : 48.
[3]. A’araaf (The Heights – Ebikomera), 7 : 57; Shu’rah (Counsel – Okwebuuza), 42 : 28.
[4]. Ibn Hishaam, IV, 32; Ibn Sa’ad, II, 137; Waaqidii, II, 838.
[5]. Ibn Hajar, Iswabah, III, 615.
[6]. Bukhari, Wuzu (Okutawaaza oba Okufuna Wuzu), 68.