1. Okukkiriza Katonda (Allah)

Katonda Owoobuyinza gy’ali, ali Omu, tewali ntandikwa wadde enkomerero ku kubeerayo kwe. Talina kyonna mu bitonde bye ky’afaanana era ne mu bitonde bye teri kimufaanana. Okubeerayo kwe tekuyimiridde ku kitonde kyonna; Ye w’ali ku lulwe. Okubeerayo kwe kwetaagisa.

W’ali naye okubeerawo kwe tekulina kakwate konna na kubeera nga yazaalibwa, azaala, alina kitaawe oba omwana, oba okubeerawo mu biseera ebigere oba ebifo ebimu. Awatali kubeera ng’alina kye yeetaaga ye Amanyi byonna, Awulira byonna era Alaba byonna.

Amanyi byonna ebiyingira mu ttaka, na byonna ebifuluma mu ttaka; amanyi byonna ebikka wansi okuva mu bire n’ebyo byonna ebirinnya mu bbanga era Ye Musaasizi ennyo, Omugabi ennyo. Abatakkiriza bagamba nti: “Essaawa tejja kututuukako.” Gamba nti: ‘Nedda! Mazima ddala ndayira Katonda wange nti ejja kubatuukako; mazima ndayira Oyo amanyi ebikusike, awatali kintu kyonna kimwekwese ne bwe kabeera kaweke akasembayo obutono mu ggulu oba mu nsi: era tewali kantu katono (kusinga akaweke akasembayo obutono) oba akakasinga obunene, okuggyako nga biri mu Kitabo. Olwo alyoke asasule empeera abo abakkiriza ne bakola emirimo emirungi: okwo kwe kusonyiwa era n’okugabirira okw’ekika ekya waggulu.” (Saba, 34 : 2 – 4)

Allah amanyi ekiri mu buli nda ya mukyala, kiseera ki olubuto bwe lutazaalibwa mu biseera bya lwo oba ne lusussa mu nnaku z’okuluzaala. Buli kintu kyonna kiri mu maaso ge, kiri mu kigero ekituufu. Gy’ali kye kimu oba omu mummwe abeera asirikidde ekyama oba ng’ayogedde lwatu; oba asigala yeekwese ekiro oba atambula kyere emisana. Bw’oyatula ekigambo tewali nsonga; kubanga ddala Ye amanyi ebyama n’ebyo ebikukuliddwa. (Ra’adu [Laddu], 13 : 8 – 10; Twaha, 20 : 7; Qaswasa [Emboozi], 28 : 69); Sajda [Okuvunnama],    32 : 6; Huudu, 11 : 5)

Okwongereza ku kubeera n’okumanya kwe okutaliiko kkomo, Katonda Owoobuyinza era alina amaanyi ag’enkomeredde era agataliiko kkomo. Ekitali ekyo, teyandisobodde kutonda bitonde bye tulaba ebitwetoolodde era teyandisobodde kubiyimirizaawo. Katonda Owoobuyinza atutegeeza Ekitiibwa Kye bw’atyi:

Omutandisi eyatandika eggulu (zonna) n’ensi. Bw’aba asazeewo ekintu agamba bugambi nti “Beera” ne kibeera. (Baqara [Ente],      2 : 117)

Okutondebwa kwammwe n’okuzuukira kwammwe tekuli okuggyako ng’omuntu omu. Mazima ddala Allah awulira byonna era alaba byonna. (Luqmaani, 31 : 28)

Ekintu ky’Essaawa (ey’okuzuukira) tekiri okuggyako ng’olutemya lw’eriiso, oba (n’obwangu) okusingawo. Mazima ddala Allah ku buli kintu kyonna Muyinza. (Nahl [Enjuki], 16 : 77)

Allah Owoobuyinza alina obulamu obutalinaako kkomo oba akakwakkulizo era n’okusalawo okutaliiko kkomo, ayagala era n’akola ekyo ky’aba ayagadde. Era alina ekitendo ky’okwogera (kalaam), ayogera naye nga teyeetaaga ddoboozi oba ennukuta, era yasindikira abantu Ebitabo ng’ayita mu Babaka be.

Katonda Owoobuyinza ye Mutonzi w’ensi eno atalina amwenkana oba amusemberera wadde amwegattako, Y’omu atonda, akuuma ebitonde bye nga biwangaala, abikkiriza okufa, alibikkiriza okudda mu bulamu omulundi omulala, ategekedde abaddu be abalongoofu ebyengera era ategekera aboonoonyi ebibonyoobonyo. Allah alina ebitendo byonna ebiraga okutuukirira era talina kitendo kyonna ekiraga obukendeevu.[1]



[1].     Pulofeesa Dr. Bekir Topaloğlu, Article : Allah, Diyanet Islam Ansiklopedesi – Encyclopedia of Islam (Mukunngaanya w’Obusiraamu) (Republic of Turkey, Presidency of Religious Affairs), II, olup. 488 – 489; Nesef, Akaid, olup. 31 – 36.