Obusiraamu buyita abantu bonna n’amajinni.[1] Buli muntu, awatali kusosola mu kitundu ky’avaamu, langi y’eddiba ly’omubiri gwe, k’abe musajja oba mukazi, oba eggwanga ly’avaamu, wa ddembe okuyingira Obusiraamu. Obusiraamu abantu bubateekululamu okusinziira ku buvunaanyizibwa bwabwe n’eddembe lyabwe, era bubala nti waliyo amawanga g’abantu abiri: abakkiriza n’abatali bakkiriza.[2]
Tekikkirizika mu magezi nti enkola Allah gye yaweereza eri abantu nga kyengera era eky’okwesiima – ate ng’okusaasira kwe kubuna ebitonde byonna – nti enkola eyo eyinza okubeera ey’abantu ab’olubatu ng’abalala bonna baggyiddwaako ekyengera kino. Ekyo bwe kiba bwe kityo, embeera eno eba ekontana n’ebitendo bya Allah ekya Rahmaani ne Rahiim (Omusaasizi alina okusaasira okubuna era omusaasizi alina okusasira okw’enjawulo).[3] Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti:
“Allah Owoobuyinza alaga okusaasira kwe eri abo abalaga okusaasira. Musaasire abo abali ku nsi olwo (Allah) ali mu ggulu naye abasaasire.” (Abu Dawuda, Adab [Empisa], 58 / 4941; Tirmidhi, Birr [Okuyisa Obulungi], 16 / 1924; Ahmada bin Hanbal, II, 160)
Hadiisi eno terina kika ky’abantu kya njawulo ky’eyogerako kyokka, wadde okuba ng’ekwata ku “Basiraamu bokka.” Etulagira ffenna okubeera abasaasizi eri abantu bonna, ebisolo, awamu n’ebimera.
Kulaane entukuvu eyogera ku ky’okutuma Nnabbi waffe eri abantu bonna n’egamba bw’etyi:
“(Omubaka wange!) Gamba nti: ‘Abange mmwe abantu! Nze ndi Mubaka wa Katonda eyatumibwa gye muli, (Katonda) Oyo afuga eggulu (zonna) n’ensi…” (A’araaf, 7 : 158)
“(Owange ggwe Muhammadi!) Tetwakutuma lwa nsonga ndala wabula okubeera eky’okusaasira eri ebitonde.” (An’biyaa [Bannabbi], 21 : 107)
Olw’ensonga eyo, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) mu kiseera kye yayita abantu bonna okuyingira Obusiraamu, ssi Bawalabu bokka, naye yayita Babyzantine (Abalooma ab’ebuvanjuba), Aba-Ethiopia, Abamisiri, n’abalala ng’atumira Bakabaka baabwe ababaka wamu n’okubaweereza amabaluwa.[4]
Okwo oyongerako nti nti Obusiraamu bubuna ebiseera n’ebifo byonna. Tebukoma ku biseera oba bifo bya njawulo. Olwaleero, kisoboka okulaba Abasiraamu nga bava mu buli kanyomero ka nsi na buli ggwanga, naddala mu biseera bya hijja, bonna nga bali wamu nga basinza Allah, Katonda Omu, nga beetooloola Ka’aba nga Allah bw’alagira – kino kiwa ekifaananyi ekyegombesa eky’ekibiina ky’Obusiraamu n’obwa sseruganda bwe bwolesa.
Obusiraamu bulina omuzimbo ogusobola okumatiza ebyetaago by’abantu bonna. Obusiraamu bulamu era nkola ya nzikiriza eraba eddembe ery’omwoyo, ery’omubiri n’ey’empangaala ya bantu; butangaaza ku makulu g’obulamu n’okufa, Katonda, bannabbi, bamalayika, Sitaane, ensi, enkomerero, empeera, ebibonerezo, ejjana, n’omuliro nga tewali ddiini ndala eyinza okubinnyonnyola mu ngeri esikiriza era ematiza ng’Obusiraamu.
Okutegeera embeera eno obulungi, kimala okujjukira bino: Kulaane ematiza ebyetaago by’Abasiraamu byonna ng’ensibuko ey’amateeka n’okusalawo, okuva mu biseera ebyasookera ddala ng’ekibiina ky’Abasiraamu ekitono kizimbibwa okuva mu bantu abanyigirizibwa, okutuusa ku mulembe eggwanga ly’Obusiraamu eddene lwe lyateekebwawo okuva eriyanja lya Atlantic gye liva okutuusa ku liyanja lya Pacific, eggwanga eryo ne lifuuka eggwanga eddene mu biseera byalyo. Mu ngeri eyo, ekibiina kino kyasanga buli kintu ekikwata ku nzikiriza, engeri z’okusinza, empangaala y’abantu, amateeka agafuga abantu abali awamu, n’ebyetaago ebirala byonna nga biri mu kitabo ekyo ekitukuvu, Kulaane.[5]
[1]. Bigambo bya muvvuunuzi w’Oluzungu: Obusiraamu bukkiririza mu kubeerayo kw’ebitonde bino era nti birina eddembe ly’okusalawo.
[2]. Buli muntu abeera wa kibiina kya Nnabbi w’omulembe gwe. Abantu abaaliwo n’abajja oluvannyuma lw’ow’ekitiibwa Muhammadi ng’amaze okutumibwa nga Nnabbi abo bonna babalibwa nga ba kibiina kye. Wabula, wadde ng’abamu bakkiriza obwannabbi bwe, naye waliwo abaagaana okubukkiriza.
[3]. Bino bya muvvuunuzi wa Luzungu: Rahmaani kivvuunulwa nga Omusaasizi alina okusaasira okubuna olw’okuba ng’okusaasira kwe kubuna era ne kuzingiramu ebitonde byonna ebiri mu nsi, so nga Raheem kivvuunulwa ng’okusaasira kwa Allah kw’alisaasira abakkiriza bokka ku Lunaku lw’enkomerero.
[4]. Wadde ng’ebigambo ebyawandiikibwa mu bbaluwa ezo weebiri, ebbaluwa zennyini ezimu omuntu asobola okuziraba mu Istanbul Topkapi Museum. Laba http://commons. Wikimedia.org/wiki/File:Muhammad_letter_muqawqis.jpg.
[5]. M. Hamidullah, Kurân-i Kerîm Tarîhi (The History of the Noble Quran – Ebyafaayo bya Kulaane Ey’ekitiibwa) (Ekitundu ekyanjula ekitabo Le Saint Coran), olup. 23.