Ebyamagero ebitamanyiddwa muwendo byazuuka ku mukama waffe Nnabbi. Ebimu ku byo bye bino: Ow’ekitiibwa Jabbeeri (emirembe gibeere ku ye) anyumya nti:
“Ku lunaku lw’e Hudaybiya abantu baalumwa ennyonta ne bagenda ewa Mukama waffe. Waaliwo akalobo akaali kaakolebwa mu ddiba nga kalimu amazzi nga kali mu maaso ga Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye). Mukama waffe kwe kufuna wuzu. Abantu baamusemberera n’ababuuza nti:
‘Ki ki ekibadde?’ Baamuddamu nti: ‘Tewali mazzi gasigaddewo ge tusobola okufunyisa wuzu oba okunywa okuggyako ago agali mu kalobo ako akali mu maaso go. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yateeka ekibatu kye mu kalobo, amazzi ne gatandika okufukumuka wakati w’engalo ze nga galinga amazzi agafukumuka mu nsulo. Ffenna twanywa ku mazzi ago ne tufuna ne wuzu.’ Bwe baamubuuza nti:
“Mwalinga bameka kw’olwo?” Jabbeeri yaddamu nti:
“Ne bwe wandibaddewo abantu abawera emitwalo ekkumi amazzi gandibamaze, naye twali lukumi mu bitaano.”[1]
Abakulayishi bwe baamusaba okubakolera ekyamagero, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yasaba Katonda we omwezi ne gubejjukamu bibiri. Ekyamagero ekyo kyasoboka okulabibwa okuva buli wamu. Omwezi bwe gwabejjukamu ebitundu bibiri, ekibajjo ekimu kyalabikiranga ku lusozi olwa Abu Kubayisi ate ekibajjo ekirala ne kirabikira waggulu ku lusozi lwe Kuwaykiyaani. Bamusinzabibumbe baabuuza abasuubuzi abaali bava ebunaayira ebweru wa Makka oba nabo omwezi baagulaba nga gubejjuseemu. Abasuubuzi be baabuuza kwe kubategeeza nga nabo bwe baali baalaba omwezi ogubejjuseemu.[2]
Waaliwo enduli y’omuti Omubaka wa Allah kwe yeesigamanga n’abuulirira abantu (ng’ali mu khutuba). Oluvannyuma min’bari (ekituuti) yazimbibwa okudda mu kifo ky’enduli y’omuti, buli muntu n’awulira enduli y’omuti ng’esinda kubanga yali erina okuwaanyisibwa esuulibwe ewala ne Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye).[3]
Abu Hurayira (Allah amusiime) yanyumya bw’atyi:
“Twali mu lutabaalo ne Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye). Waliwo emmere y’abalwanyi lwe yakendeera, mu kiseera ekyo ne baagala okusala ku nngamiya ze beebagalanga, ow’ekitiibwa Umaru (Allah amusiime) n’agamba nti: “Omubaka wa Allah! Tekyandibadde kirungi singa nkunngaanyizza emmere yonna gye tulina n’ogisabira yeeyongere obungi?” Mukama waffe ekirowoozo ekyo yakyagala. Abo abaalina enngano baagireeta, abaalina entende nabo baazireeta, n’abo abaalina ensigo z’entende nabo ne bazireeta.”
Abaali bawuliriza Abu Hurayira kwe kumubuuza mu kwewuunya nti:
‘Ate ensigo z’entende baali bazikozesa ki?’ Sswahaba ow’ekitiibwa kwe kubaddamu bw’atyi: ‘Abantu bwe baabulwa kye balya, baanuunanga ensigo z’entende oluvannyuma ne banywerako amazzi.’
Oluvannyuma yeeyongera mu maaso ne bye yali anyumya nti:
“Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yasaba. Emmere yeeyongera obungi okutuusa buli muntu lwe yajjuza ekikopo kye. Olw’ekirabo kya Katonda kino kye yali amuwadde, Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kugamba nti:
‘Njulira nti teri katonda okuggyako Allah era nti ndi Mubaka we. Abo abasisinka Allah nga tebabuusabuusizza mu bintu ebyo ebibiri bajja kuyingira Ejjana’.”[4]
[1]. Bukhari, Menâkib, 25. Mu kitabo kino, mulimu ebyamagero ebirala ebyogerwako Omubaka wa Allah (okusaasira n’emirembe bibeere ku ye) bye yakola.
[2]. Al-Qamar (The Moon – Omwezi), 54 : 1 – 3; Bukhari, Menâkib (Manaaqibu) 27, Menâkibu’l-Ensar (Manaaqibul Answaar) 38; Tefsir (Tafsiir (Ebinnyonnyola) 54 / 1; Muslim, Munâfikin (Munaafiquuna – Abannanfuusi), 43 , 47, 48; Tirmidhi, Tefsir (Tafsiir – Ebinnyonnyola), 54 / 3286; Ahmada bin Hanbal, I, 377, 413.
[3]. Bukhari, Menâkib (Manaaqibu), 25; Tirmidhi, Jum’a (Esswala ya juma) 10, Menakib (Manaaqibu) 6; Nasaa-i, Jum’a (Esswala ya juma), 17; Ibn Maajah, Ikame (Iqaamah – Okukima sswala), 199; Darimi, Muqaddima (Ebisooka) 6, Swalat 202; Ahmada bin Hanbal, I, 249, 267, 315, 363.
[4]. Muslim, Iman (Obukkiriza), 44. Ku nsonga ezikwata ku bulamu, empisa, n’ebyamagero bya mukama waffe Nnabbi, laba:
http://www.islamiyayinlar/content/view/36/8/
http://wwwislamicpublishings.net/images/book/ingilizce/Rahmetesintileri_ing.pdf
http://hazretimuhammedmedinedevri.darulerkam.altinoluk.com/
Ibn Ishaq (150 / 767), The life of Muhammed, Karaçi : Oxford University, 1967; Mevlana Şibli en-Numani, Siretü’n-Nebi (Siiratu Nnabiyy -The life of the Prophet – Obulamu bwa Nnabbi), Lahor : Kazi Publications, 1979; Afzalurrahman, Encyclopedia of seerah: Muhammed, (Mukunngaanya w’ebyafaayo bya Muhammadi), London : The Muslim Schools Trust, 1982; Abdulahad Dawuda, Mohammad in the Bible (Muhammadi mu Bayibuli), Devha [Doha]; A Publication of Presidency, 1980; Martin Lings, Muhammad: his life based on the earliest sources (Muhammadi: Obulamu bwe nga byesigamiziddwa ku bitabo ebyasookera ddala), London: The Islmaic Texts Society, 1983; A. H. Vidyarthi, Mohammad in world scriptures (Muhammadi mu byawandiikibwaeby’ensi yonna), New Delhi: Deep-Deep Publications, 1988.