Ka tusiriikiriremu katono tulowoze nga bwe tufumiitiriza wwa gye tuva era wwa gye tulaga. Obulamu bwaffe ka tubutambuze okusinziira ku gye tuva ne gye tugenda. Nga tetunnabaako na kye tukola, tuteekeddwa okulowooza n’okuvumbula byonna ebikwata ku kutondebwa kwaffe, embeera ey’omubiri n’enkula y’emyoyo gyaffe, ebitendo eby’enkizo bye tulina, n’ensi yonna okutwalira awamu. Olwo mu ngeri eyo obulamu bwaffe lwe bufuuka obulina amakulu.
Ng’eky’okulabirako, ka tulowooze ku nsi eno kwe tuwangaalira. Wadde ng’ebirime byonna bifukirirwa n’amazzi ge gamu, naye enkumi n’enkumi z’ebirime eby’enjawulo bimera ku nsi ne bivaamu ebibala n’emmmere eby’amabala ag’enjawulo ne mu nkula ez’enjawulo. Kino bikikola mu ngeri ennungi era etuukiridde. Tekyewuunyisa emmere emerera ku ttaka lye limu era n’efuna amazzi ge gamu n’ebeera ng’eyinza okusingagana era ng’emu eyawuka nnyo ku ginne waayo?[1]
Amaaso gaffe ka tugoolekeze eggulu tulowooze ku nkola eno ey’ebyewuunyo era ensuffu. Twala enjuba ng’eky’okulabirako. Ebbanga eriri wakati w’enjuba n’ensi liwera kilomita obukadde kikumi mu ataano (150). Enjuba nga y’emu ku mmunyeenye eziri awo mu makkati (ssi nnene nnyo ate ssi ntono nnyo), nnene ekimala okusobola okugyamu ensi zi ssejjango ezenkana ensi eno kwe tuli akakadde kamu mu emitwalo asatu (1,300,000). Ebbugumu ly’enjuba erigivaako lyenkanankana celsius kakaaga (6,000) kalamba, ebbugumu eriri mu nda waayo lyenkanankana obukadde amakumi abiri aga celcius. Supiidi ebintu kwe byetooloolera enjuba ewera kilomita emitwalo nsanvu mu ebiri (720,000) buli ssaawa. Kino kiraga nti enjuba etambula kilomita nga obukadde kkumi na musanvu mu bibiri mu kinaana (17,000,280) olunaku.[2]
Mu njuba, obukadde ebikumi bitaano mu nkaaga mu bina (564 milions) ebya hydrogen bikyusibwa ne bifuuka obukadde bikumi bitaano mu nkaaga (560 millions) ebya omukka gwa helium buli katikitiki. Enjawulo ey’obukadde obuna obwa tani ez’omukka ogwa gaasi gufuuka amaanyi (g’enjuba). Kino okukissa mu bigambo ebirala, enjuba efiirwa obukadde buna (4,000,000) obwa tani buli katikitiki, oba tani obukadde ebikumi bibiri mu ana (240 million tons) buli dakiika. Singa enjuba ebadde ekola amaanyi gano okumala emyaka egisukka mu buwumbi obusatu obuzito bw’eba yaakafiirwa buwera obukadde emitwalo amakumi ana kubisaamu akakadde kamu obwa tani, naye ng’omuwendo ogwo gwenkana kimu kya nkumi ttaano (1/5000) eky’enjuba we twogerera bino.
Ensi yaffe yateekebwa mu bbanga eppime obulungi bwe lityo okuva ku kitonde kino ekinene (enjuba) ekikola amaanyi ag’ensusso, kino ne kitusobozesa obutakosebwa na kwokya kwayo oba ebigivaamu eby’obulabe wadde okubeera nga tuggyiddwaako amaanyi enjuba g’ekola ag’omugaso. Enjuba, n’amaanyi gaayo wamu n’amaanyi g’ekola (agagivaamu), yatondebwa n’eweebwa amaanyi ne bwaguuga w’omubiri ng’esobola okugasa buli bulamu obuli ku nsi, naddala omuntu, era ng’eweereza amagulu gaayo ku nsi mu ngeri ey’obwegendereza n’amagezi; ate nga kino ekikoledde emyaka bukadde na bukadde.[3]
Naye ono bwaguuga w’enjuba ey’ebyewuunyo gye twogeddeko bino, y’emu ku munyeenye (ne zi ssengendo) ezisukka mu buwumbi ebikumi ebibiri (200 billion) eziri mu bwengula buno obuyitbwa Milky Way (Emmunyeenye zonna ne ssengendo ze tulaba ku ggulu n’ensi kwe tuli nga mw’ogitwalidde). So ng’ate ne Milky Way (eno eyaffe) nayo emu ku ndala eziri eyo mu buwumbi n’obuwumbi ezisobola okulabibwa n’ebyuma ebitangaaza ebiriwo kati. Kitwala emyaka gy’ekitangaala emitwalo kkumi okutambula okuva ku ludda lwa Milky Way olumu okudda ku lulala (ekitangaala kitambula kilomita emitwalo amakumi asatu buli katikitiki). Omuntu aba alina kutambula kilomita trillion (obutabalika) emitwalo amakumi asatu okuva ku nsi okutuuka wakati wa galaxy eya Milky Way.[4]
Omuntu atwala ekiseera kiwanvu okulowooza mu ngeri efaanana bw’etyo ku bintu ebimwetoolodde alaba nti eriyo omutonzi alina abumanyi obw’enjawulo n’amaanyi ag’enjawulo era nti (oyo alowooza) teyatonderwa bwereere, wabula waliwo ensonga eyamutondesa. Okunoonyereza kulaga nti eddiini zonna, okuviira ddala kw’ezo eziri mu bantu abatali balabufu okutuukira ddala ku bantu abasinga okukulaakulana, balina enzikiriza mu kubeerayo kw’Oyo Owaamaanyi.[5]
Waliwo obubonero bungi obulaga okubeerayo kwa Allah era n’okukakas nti ali Omu bwannamunigina. Eby’okulabirako ebingi ku bubonero bwa Allah obweyoleka eri buli muntu mulimu bino wammanga:
Omwana okwetondeka, okuzaalibwa n’okukula, okubeera n’amagezi, okutegeera n’okumanya, n’ekisinga obukulu ekintu omuntu kye yatondebwamu na kiki kye yafuuka oluvannyuma.
Okubwatuka kw’eggulu eririmu n’ebimyaso okutiisa ate ne kuwa essuubi, enkuba egoberera okubwatuka ng’eva mu bire n’ensi enkalu okuddamu obulamu.
Embuyaga ezikunngunta eziranga enkuba ne zitambuza ebire nga zibitwala mu bifo eby’enjawulo, engeri obuyanja, ennyanja ne semayanja gye ziggyamu, okuseeyeeya kw’emmeeri ezenkana ensozi nga zizitowa enkumi ne nkumi za tani (ne zitabbira), engeri emmeeri zi lugogoma ezifaanana ebibuga bwe ziseeyeeya ku ga ssemayanja nga ku zi lugogoma zino kugwako ennyonyi ate ne zibuukirako.[6]
Okuwa ebintu ebiyimirizaawo obulamu eri ebintu byonna ebiwangaalira mu ggulu ne ku nsi.[7]
Ow’ekitiibwa Mawlaana Ruumi yagamba nti: “Mutabani, ekisinga okutegeerekeka kwe kulowooza nti wayinza okubeerayo omuwandiisi awandiise ekiwandiike oba nti ekiwandiike kyewandiise kyokka?” (Mathnawi, elitabo 6, olunyiriri: 368)
“Owange ggwe omusajja atali mutendeke, kikola amakulu okulowooza nti waliwo omuzimbi – eyakola pulaane n’azimba ennyumba – oba nti ennyumba yeereetawo yokka awatali muzimbi? Ekisiige ekirungi kiyinza okubeera nga kyasigiibwa omuntu muzibe ng’alina omukono gumu oba omuntu alina obumanyirivu asobola okulaba oba okuwulira munda? (Mathnawi, ekitabo 6, ennyiriri: 369 – 371)
“Emidalizo, ebisiige, kye kimu bakimanyi oba tebakimanyi, bintu ebikolebwa abantu! Omukozi w’ensuwa yeetawaanya mu kukola ensuwa, agiwumba, n’agiwa ekifaananyi bw’eneebeera, n’agifuula ensuwa! Ensuwa bw’eba terina mubumbi esobola okufuna ekifaananyi nga ky’ebeeramu? Olubaawo luyimiridde ku mubazzi era y’aluwoola! Singa tekyali bwe kityo, lwandibadde lusobola okwekomola ne lweyuzaamu ne lwegatta n’olubaawo olulala? Awatali mutunzi olugoye lusobola lutya okwesala ne lwetunga lwokka? Owange ggwe omuntu ategeera, awatali kintu kitwala mazzi, ekkyupa y’amazzi eggyibwamu etya amazzi ate ne yejjuza yokka? Naawe wennyini, oggyamu n’ojjuza buli mukka gw’otwala munda ne gw’ossa! N’olw’ekyo, muntu ggwe ow’amagezi, oli mu mikono emikugu egy’Omutonzi Omu era Omunene! Singa ekibikka ekiri ku maaso go kiggyibwako olunaku lumu n’ekifundikwa eky’okulaba okw’ekyama nga kisumuluddwa, ojja kulaba butya obukugu bwe bukyuka okuva mu mbeera okudda mu ndala mu mikono gy’omukozi!” (Mathnawi, ekitabo 6, Ennyiriri 3332-3341)
Tekisoboka kunnyonnyola okubeerawo kw’ebintu n’entambula yaabyo n’enkola nga “ebiggyawo obuzzi”.
N’ekisinga obukulu, Munnasaayansi ow’abantu n’ebisolo ow’e Princeton Edwin Conklin (1863 – 1952) yagamba nti: “Okusuubira nti obulamu busobola okubeerawo nga tebulina abussaawo, osobola kukigeraageranya na kuba nti kisoboka enkuluze y’olulimi etefunziddwa okuva mu kubwatuka kw’ekkubiro mwe bakubira ebyapa.”[8]
[1]. Kulaane Eyeekitiibwa, Ar-Ra’du [Laddu], 13 : 4. Omuvvuunuzi w’Oluzungu: Mu kitabo kino aya za Kulaane tuzivvuunudde tukozesa kitabo kya Abdullah Yusuf Ali, omuntu ky’ayinza okufuna ng’akozesa http://www.islam101.com/quran/yusufAli.
[2]. Pulofeesa Dr. Osman Çakmak, Bir Çekirdekti Kâinat (The Universe was a Seed oba Ensi yali Mpeke), olup. 21, 66
[3]. Pulofeesa Dr. Osman Çakmak, Kâinat Kitap Atomlar Harf (The Universe is a Book, Atoms are Letters oba Ensi kitabo, Obunyikuuli ze Nnukuta), olup. 50.
[4]. Pulofeesa Dr. Osman Çakmak, Bir Çekirdekti Kâinat (The Universe was a Seed oba Ensi yali Mpeke), olup. 10 – 12.
[5]. Pulofeesa Dr. Gunay Tumer, Article: Din (Religion oba Eddiini), Diyanet Islam Ansiklopedisi – Encyclopedia of Islam (Republic of Turkey, Presidency of Religious Affairs). Istanbul 1994, IX, olup. 315 – 317
[6]. Ruum (Abalooma), 30 : 20 – 46; Shuura (Okwebuuza), 42 : 29, 32; Yaasiin, 36 : 33 – 41; Baqara (Ente), 2 : 22. Bwe kityo laba Ibraahiim, 14 : 32 – 33; Ruum (Abalooma), 30 : 40, 48, 54; Faatwir (Omutonzi), 35 : 9; Mu’min (Omukkiriza), 40 : 61, 64, 79; Jaathiya (Okufukamira), 45 : 12; Twalaq (Talaka), 65 :12.
[7]. Faatwir (Omutonzi), 35 : 3.
[8]. The Evidence of God, olup. 174; Pulofeesa Dr. Vahidüddin Han, Islâm Meydan Okuyor (Islam is Challenging – Obusiraamu Busoomooza), olup. 129.