8. Obusiraamu Abantu Bonna Bubatwala Okubeera nga Benkanankana

Mu Busiraamu, enkizo mu bantu epimibwa, ssi na bintu ebiteewalika oba ebyaggwa edda okugera okugeza: omuntu gy’asibuka, langi ye, oba eggwanga ly’avaamu, wabula enkizo ebeerawo na kubeera kumpi ne Allah na kutya Allah, omuntu ky’asobola okufuna ng’ayita mu kwefuga n’okulafuubana. Mu ngeri y’emu, ebintu nga eby’obugagga, okunyirira, amaanyi, oba okukuzibwa n’otuuka ku ddaala erya waggulu mu buyinza, ssi bintu bya kulaga busukkulumu ku balala. Ebyo byengera bya Allah by’awa omuntu era omuntu by’ateekeddwa okwebaliza mu ngeri esinga obulungi, nga buli kyengera kisaanira okwebazibwa okusinziira nga bwe kiri.

Ebyengera ebiweebwa abantu mu nsi eno biringa ebibuuzo abayizi bye babuuzibwa mu bigezo. Omuyizi talowooza ku kubeera eyeeyagalira mu bibuuzo ebimubuuzibwa, wabula abeera musanyufu n’amadaala g’afuna olw’okwanukula ebibuuzo ebyo obulungi. Okuva empeera abakkiriza ze bafuna nga bakozesezza emikisa n’ebyengera ebibaweebwa olw’ekigendererwa eky’okubagezesa lwe zitegeerekeka obulungi ku lunaku lw’enkomerero (sso ssikati), tewali nsonga yonna yandyewanisizza muntu mu nsi eno. Okwekwenyakwenya okw’ekika ekyo nsobi ya maanyi. Bw’atyo, omu ku Basiraamu abagezi abamanyi, Abu Hazim, yagamba nti: “Ekyengera kyonna ekitaviirako muntu kusembera kumpi ne Allah gubeera mutawaana.”

Wadde nga Mukama waffe (okusasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yatumibwa ng’eky’okusaasira eri ensi zonna, olw’olumu bwe yabeeranga alina okwogera ku nkizo gye yalina, yagambanga nti «لاَ فَخْرَ»  (si kyewuliza) emirundi mingi.”[1]

Mu maaso ga Allah, omukkiriza afaayo ku buvunaanyizibwa bwe, wa waggulu okusinga abo abatafaayo.[2] Mukama waffe (okusasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yalangirira mu Kubuulirira Kwe Okwasiibula nti:

“Abange abantu! Mubeere beegendereza; Katonda wammwe ali Omu; kitammwe (Adamu) naye ali omu. Mubeere beegendereza! Omuwalabu talina nkizo ku atali Muwalabu, wadde atali muwalabu ku Muwalabu; wadde omweru ku muddugavu, wadde omuddugavu okubeera n’enkizo ku mweru. Bano bayinza kusinngana lwa kutya Allah teri kirala.” (Ahmada bin Hanbal, V, 411)



[1].     Tirmidhi, Menâkib (Mannaqibu), 1 / 3616; Darimi, Mukaddime (Muqaddima – Ebyanjula), 8.

 

[2].     Al Hujuraat (The Private Quarters – Ebisenge Ebisulwamu), 49 : 13.