Obusiraamu bukubiriza obuyonjo bw’ebintu n’okulongoosa empisa era ne butuyigiriza engeri y’okutuukirizaamu ebintu bino. Kulaane ey’ekitiibwa egamba nti:
“… Allah ayagala abo abeekuuma nga batukuvu.” (Baqara [Ente], 2 : 222). Ne Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti:
“Allah Mutukuvu era ayagala okweyonja.” (Tirmidhi, Adab [Empisa], 41 / 2799).
Ow’ekitiibwa Nnabbi yassa omwoyo ku buyonjo obw’engeri zonna mu bulamu bwe bwonna. Okugeza, bwe yabanga agenda ku muzikiti, oba okufuluma ebweru mu bantu, oba okulambula mukwano gwe, yafangayo okwambala obulungi, ne yeefuuyira akawoowo akalungi, era nga yeewala okulya emmere ereeta okuwunya olusu olubi eyinza okukosa abalala okugeza obutungulu oba katunguluccumu. Abu Kursafa (Allah amusiime) kino eyeerabirako ku kino anyumya bw’atyi:
“Maama wange, maama wange omuto nange twagenda ewa Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) okuwera gy’ali. Bwe twavaayo ewuwe maama wange ne maama wange omuto kwe kunngamba nti:
“Mwana wange, tetulabanga muntu bw’atyi bukya tubeerawo! Tetumanyiiyo muntu alabika obulungi mu maaso ng’ono, era tetulabangayo muntu alina ngoye zitukula kumusinga wadde ayogera bigambo biwooma nga ye. (Bw’abadde ayogera) ng’olinga alaba ekitangaala nga kifubutuka mu kamwa ke.” (Haytham, VIII, 279 – 280)
Obusiraamu bwaleeta enkola eyeesigamiziddwa ku misingi gy’obuyonjo, okwetukuza, n’okwetoowaza. Mukama waffe Nnabbi yagamba nti: “Obuyonjo kimu kya kubiri eky’obukkiriza.”[1] Kumpi buli kitabo kya Hadiisi oba fiqhi (ekinnyonnyola amateeka g’Obusiraamu) ekiwandiikibwa kitandika na nnyingo ekwata ku buyonjo. Ng’omusingi omukulu mu ddiini yaffe, ebikolwa ebimu mu kusinza tebikkirizibwa ng’omuntu tamaze kuyonja mubiri n’ekifo w’agenda okubikolera. Ku nsonga eno, amateeka agagobererwa mu kugenda mu kinaabiro (oba akayu) gassibwako nnyo essira. Kiragirwa nti teri kintu kikyafu kirina kutonnya oba kusaaba ku ngoye za Musiraamu era ekikyafu ekiba kiguddeko kirina okuyonjebwa obulungi. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yayagala nnyo abagoberezi be ensonga eno okugitwala nga nkulu bwe yagamba nti: Okubonereza mu kabbuli (entaana) okusinga obungi kuva ku butafa ku kuyonja musulo.” (Ibn Maaja, Twahaara, 26).[2]
Obusiraamu bulagira okuyonja waakiri emirundi etaano olunaku ebitundu by’omubiri ebisinga okubeera ebyangu okufuna obuwuka nga mwe muli emikono, omumwa, mu maaso (ekyenyi), omutwe, amatu, ensingo n’ebigere, engeri gye bibeera ebibikkule. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) era yagamba nti: “Ekisumuluzo ky’oyinigra Ejjana ye sswala, ate ekisumuluzo kye sswala kwe kweyonja.”[3]
Bwe butyo Obusiraamu, ekikolwa kyonna eky’okweyonja bukitwala nga okusinza kasita abantu bakissa munda we beeyonjeza nti okweyonja kwabwe bakukola mu ngeri ya kusinza.
Ekintu ekirala Omubaka wa Allah kye yassaako ennyo essira bwe buyonjo bw’akamwa era eno y’ensonga lwaki yatukuutira nti omuntu akozese omuswaki (miswask) mu biseera ebitali bimu naddala bw’aba ng’afuna wuzu (atawaaza).[4] Era yawa Abasiraamu amagezi okwongera emikisa mu bye baba bagenda okulya nga bayita mu kunaaba mu ngalo nga tebannaba kulya ne bwe baba bamaze okulya.[5]
Ng’obutonde bwe bwetaaga, okukomolwa (okutayirirwa), okumwa enviiri ez’ebitundu eby’ekyama, okumwa eby’enkwawa, okuleka ekirevu ne kikula, n’okusalako amasuulubu, bimu ku mateeka ag’empisa ennungi n’obuyonjo Omubaka wa Allah ge yayingiza mu bantu.[6]
Era nga Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) bwe yafaayo ennyo ku kuyonja engoye, mu ngeri y’emu yassa essira lye limu ku kubeera nga zirabika bulungi era nga ziteredde bulungi. Olumu bwe yali mu kisenge awasaalirwa, ne zireeta omusajja eyalina enviiri n’ekirevu ebyali bisunsumadde. Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kulaza n’omukono omusajja agende asanirire enviiri n’ekirevu.[7]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) teyayagalanga ngoye ze kuwunya bubi. Lumu yaggyako ekyambalo kye yali ayambadde bwe yatuuyana ne kitandika okuwunya ng’ebyoya by’endiga (wuulu). Maama waffe Ayisa eyanyumya kino era yatugamba nti Mukama waffe Nnabbi era yayagalanga nnyo obuwoowo obulungi.[8]
Bassawahaba ba Nnabbi ab’ebitiibwa baali bantu abaayagalanga okuyimirira ku magulu gaabwe n’okweyimirizaawo bokka. Kino kyabawalirizanga okukola okutuusa ku kiseera kya sswala esaalibwa ku lw’okutaano (swalatul Jumuah), era awo we baafubutukanga ne bagenda mu muzikiti okusaala. Kirabika emibiri gyabwe gyavangamu olusu olutaabeeranga lulungi bw’atyo Mukama waffe Nnabbi kwe kubagamba nti: “Lwaki temunaaba ku nnaku ez’olwokutaano!?” (Bukhari, Jumuah 16, Buyuu [Okugula], 15; Muslim, Jumuah 6)
Abasiraamu bawandiika hadiisi ey’ekitiibwa egamba nti, “Obuyonjo kimu kya kubiri eky’obukkiriza”[9] mu ngeri ey’okuwunda eringa ebifaananyi bye bawandiise ne babiwanga mu fuleemu ne babiwanika ku bisenge by’ennyumba zaabwe ne mu mizikiti. Ekintu ekyo baakissaako nnyo amaanyi. Akitekiti (omuzimbi era omukubi wa pulaane) omu omwatiikirivu “Mimar” Sinan yazimba amafumbiro g’enva (ssupu), ebitanda ebiriko emifaliso egijjudde amazzi, ensulo ez’amazzi ag’okunywa, n’ebinaabiro ebya lukale mu buli kanyomero mu Bwakabaka bwa Ba-Ottoman olw’okuyamba abakkiriza, okufuna emirembe, obuyonjo n’okwanguyiza. Mu bitundu by’Abasiraamu, olw’okusobozesa okutuukiriza eky’obuyonjo, ebinaabiro ebya lukale byazimbibwanga buli wantu nga mw’otwalidde n’ebitundu eby’omu byalo.
Ennyumba z’Abasiraamu zibeera nnyonjo nnyo. Tebayingira mu nnyumba nga tebaggyeemu ngatto. Buli wantu wabeera wayonjo okusobola okusaaliramu. Tewali kintu nga “beera n’akabwa ka waka” mu maka gaabwe. Tebakkiriza na binyonyi kuyingira mu mayumba gaabwe. M. de Thevenot ayogera bino wammanga ku bitundu by’Abasiraamu:
“Abatuluuki bawangaala nga balamu mu mibiri era tebatera kukwatibwa bulwadde. Teri n’omu alina buzibu bwa nsigo era endwadde endala nnyingi ez’omutawaana ezisangibwa mu nsi zaffe wano teziriiwo, n’amannya gaazo gokka tebagamanyi. Nteebereza nti ensonga ebaviirako okubeera abalamu kwe kuba nga batera okunaaba era nga balyako kisaanidde era tebanywa nnyo. Balya katono nnyo. Mu bye balya temuli bintu ebingi eby’enjawulo ng’abagoberezi ba Kristo bye balya.”[10]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yaziyirizza ddala okusuula kasasiro mu nguudo abantu mwe bayita, ebifo abantu mwe bawummulira, wansi w’emiti, ku bisenge, na buli bantu we batuula okuwummulamu n’okufuna ku buweerero. Lumu yalaba ekikolondorwa mu kisenge omusaalirwa ku kisenge ekyolekedde Makka. Ye kennyini kwe kulongoosaawo nga n’obusungu bumulabikako mu kyenyi kye, olw’ekikolwa omuntu eyayonoona ekifo kye yali akoze.[11] Mukama waffe Nnabbi mu hadiisi endala ey’ekitiibwa yagamba nti:
“Ebikolwa ebirungi n’ebibi eby’abagoberezi bange byandagibwa. Mu bikolwa ebirungi nnalabamu okuggya ekintu ekinakuwaza mu kkubo. Mu bikolwa ebibi ebyandagibwa nnalabamu okuwanda amalusu mu kisenge omusaalirwa n’okugaleka ne batalongoosaawo.”[12]
Hadiisi yayogera ku kuwanda amalusu mu muzikiti. Wadde ng’ebifo omusaalirwa bifo bya kusinzizaamu Allah, naye era bifo omukunngaanira abantu. Abakkiriza abakitwala ng’ekikulu okulaba nga bakuuma ebifo ebitukuvu nga biyonjo era baba bajja kukitwala nga kikulu nnyo okukuuma omutindo gw’obuyonjo ogw’ebifo ebirala abantu bye batera okukozesa okugeza amakubo mwe batambulira n’enguudo mwe bayita. Okufuula ebifo bino nga tebiriimu bintu bikosa bantu n’okubikuuma nga biyonjo ebyo bye bimu ku bintu Obusiraamu bye bulagira. Omubaka wa Allah (okusaasira n;emirembe bibeere ku ye) yasimba amannyo ku nsonga eno. Ow’ekitiibwa Umaru (Allah amusiime) naye bwe yalonda Abu Muusa al-Ash’ari okubeera Gavana w’e Basra, yanokolayo okukuuma enguudo nga nnyonjo mu bintu bye yalina okukola mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obwamukwasibwa.[13]
Waliwo abanyumya nti waliwo Omuzoroasti (Ddiini yasinga kusaasaanira mu Iran naddala ng’Obusiraamu tebunnasimba makanda) eyali alina ebbanja ly’Ow’ekitiibwa Imaamu A’zam Abu Haniifa. Abu Haniifa yagenda okubanja naye bwe yatuuka ku mulyango kwe kulaba ng’engatto ze bwe zaali enkyafu. Obukyafu bwali bugenze ne ku kisenge ky’Omuzoroasti. Abu Hannifa yasoberwa eky’okukola nga bwe yeewuunaganya nga tamanyi kya kukola era muli n’agamba nti:
“Bwe ndeka ekisenge nga kiri bwe kiti, ekisenge ky’omusajja nja kuba nkyonoonye era ekisenge kijja kulabika bubi, naye ate bwe ngezaako okukiyonja ate langi eriko ejja kuvaako!”
Yakonkona ku luggi era n’agamba omukozi bw’atyi:
“Bambi gamba mukama wo nti Abu Haniifa akulindidde ku mulyango.” Gwe babanja olwawulira kino kwe kujja ku mulyango era olw’okuba nga yali alowooza nti Abu Haniifa yali ali ku bya bbanja, yatandika okwetonda. Wabula Abu Haniifa yamugamba nti:
“Eky’ebbanja ssi kye kikulu kati” era kwe kubuuza omusajja engeri (ye Abu Haniifa) gye yali ayinza okulongoosaamu ekisenge oluvannyuma lw’okumunnyonnyola ekyali kituuseewo. Omusajja Omuzoroasti ekikolwa kino ekirungi era ekyali kiraga empisa eza waggulu kyamuyitirirako era kwe kugamba bw’atyi:
“Okusooka, ka ntandike na kulongoosa mwoyo gwange!” era n’asiramukirawo.[14]
[1]. Muslim, Twahaarah (Okwetukuza), 26.
[2]. Ibn Maajah, Twahaarah (Okwetukuza), 26.
[3]. Ahmada, III, 340
[4]. Bukhari, Jumuah (Esswala ya Juma), 8; Tamanni (Okwegomba), 9; Swawmu, 27; Muslim, Twahaarah (Okwetukuza), 42.
[5]. Laba Tirmidhi, Atw’imah (Ebiriibwa), 39 / 1846
[6]. Bukhari, Libaas (Ebyambalo), 63 – 64.
[7]. Muvatta’ (Muwattwa-a), Shaar (Enviiri), 7; Beyhaki (Bayhaqi), Shu-ab (Ebiti), V, 225
[8]. Abu Dawuda, Libaasi (Ebyambalo), 19 / 4074
[9]. Muslim, Twahaarah (Okwetukuza) 1.
[10]. M. De Thevenot, Relation dun voyage Falt au Levant, Paris, 1665, olup. 58
[11]. Muslim, Masaajid (Emizikiti), 52; Beyhakî (Bayhaqi), as-Sunanul Kubraa, I, 255
[12]. Muslim, Masaajid (Emizikiti). Mu kiseera ekyo tewaali biwempe, mikeeka n’ebyefaanaanyirizaako ebyo mu mizikiti era nga wansi gwabeeranga musenyu. Olw’ensonga eyo waabeerangawo abawanda ku ttaka (mu mizikiti)
[13]. Daarimi, Muqaddima (Ebisooka), 46
[14]. Fakhruddiini ar-Raazi, Mafaatiihul Ghaybi (Ebisumuluzo by’ebikusike) (at-Tafsiiru’l Kabiiru), Beirut, 1990, I, 192