1. Ekigendererwa ky’Obusiraamu Kwe Kwa-wula Allah Nti Ali Omu (Tawhiid)

Eddiini zonna entukuvu zisomesa okwawula Katonda nti ali Omu. Tewali kyonna kimufaanana. Okwawula Allah Oweekitiibwa kuno Bulayimu yakunnyonnyola taata we Azar.[1] Omusingi omukulu eddiini y’Obuyawudi (Obuyudaaya) gw’essaako essira kwe kwawula Katonda. Okusinziira ku Tawuraati, Adamu, omuntu eyasooka, abaana be, Nuuhu,[2] Bulayimu, Is’haaqa, Yakobo, ne Yusuf (Yezefu oba Joseph) bonna bakoowoola abantu okusinza Katonda Omu. Mu Mateeka Ekkumi agaaweebwa ow’ekitiibwa Musa ne mu bitundu ebirala mu Tawuraati (Torah), ekintu ekisinga okuteekebwako essira kwe kwawula Katonda nti ali Omu.[3] Zabbuli (Psalms) eyakkira ku w’ekitiibwa Daudi mulimu okusaba okwolekezebwa Katonda Omu. Ow’ekitiibwa Yesu naye yakikkaatiriza nti etteeka erisooka mu ddiini kwe kwawula Allah.[4]

Okugeraageranya ennyo mu ddiini y’Ekiyudaaya kwaleetera abantu bano Katonda okumunnyonnyola ng’omuntu, era n’okwagala okungi okwabuuka ensalo abantu kwe baalina, kwafuula omuntu Yesu Katonda, ekintu ekyaleeta okutabulatabula okwawula Allah nti ali Omu ne kufuuka obusatu. Obusiraamu n’era bw’atangaaza eky’okwawula Katonda, nga mu ngeri eyo bwagoba ebirowoozo ebikyamu ebyali bibubisse okumala ekiseera ekiwanvu, ne buyita Obuyudaaya n’Obugoberezi bwa Kriso okubwegattako bukakase nti Katonda ali Omu (tawuhiidi).[5]

Obujulizi obwenkukunala obumanyiddwa obukwata ku Mutonzi nti ali Omu bwannamunigina. Kulaane egamba nti:

Teyazaala mwana yenna, era teri katonda yenna awamu naye: (singa waaliwo bakatonda abangi), buli katonda yanditutte bye yatonda, era abamu bandyefudde kitalo eri bannaabwe! Allah atenderezebwe (Ali wala nnyo nebyo bye bamugattako! (Mu’minuuna [Abakkiriza], 23 : 91)

Singa, mu ggulu ne ku nsi, waaliyo bakatonda abalala awamu naye, wandibaddewo obutali butebenkevu mu byombi (eggulu nensi)! Naye okutenderezebwa kwa Allah, Katonda wa Namulondo (ali waggulu nnyo nebyo bye bamugattako!” (Anbiyaa [Bannabbi], 21 : 22)

Okuva okubeerawo kwa bakatonda abasukka ku bwe kiraga ebitendo eby’obutali butuukirivu okugeza obutabeera na maanyi gamala, okubaako ky’abulako, n’okubeera nga yatondebwa butondebwa, kiba kikakata okukkiririza mu bw’omu bw’Omutonzi.

Okwawula Allah era kusobola okutegeerwa nga tuyita mu kifaananyi kino: enkuba etonnya okuva mu bire, ennyaanya oba kaamulali ebimera okuva mu ttaka, apo (apple) ne pear ebimera ku muti, byonna birina enfaanana y’emu ne langi ze zimu mu nsi. Nga tofuddeeyo ku bbanga eribyawula, byonna biringa buli kimu ekimanyi kinnaakyo. Kino nno kiraga abantu nti ebintu byonna ebiriwo byatondebwa Omutonzi omu.

Okusinziira ku Busiraamu, amazambi agasinga obunene mulimu okugaana okukkiriza Katonda (nti gy’ali), okumugattako ekintu oba omuntu mu bwennyini bwe, ebitendo bye, ebikolwa bye, n’okwetantala okubembeka obwakatonda ku kintu oba omuntu yenna atali Ye (Katonda). Ezzambi lino liyitibwa “shirk okugatta ku Katonda) era nga lye lisinga amazambi gonna amanene obubi. Katonda Owoobuyinza okumugattako ebintu ebirala yakwogerako nga “okukola obubi okusembayo” era nga “okuyiiya ezzambi erisingirayo ddala obubi.”[6]

Allah yagamba nti wadde ng’ayinza okusonyiwa ezzambi eddala lyonna nga bw’aba ayagadde, naye tajja kusonyiwa bantu abo abaamugattako ekintu ekirala singa bafa nga tebeenenyezza.[7] Engeri yokka ey’okuva mu mbeera ey’okugatta ebintu ebirala ku Katonda kwe kuyingira mu tawuhiid.



[1].     Kulaane Ey’ekitiibwa, Mariyamu (Mary), 19 : 42 – 47.

 

[2].     Genesis (Lubereberye), 1 : 26 – 28; 4 : 26; 6 : 9.

 

[3].     Exodus (Okuva), 20 : 2 – 3; Deuteronomy (Eky’amateeka lw’okubiri), 6 : 4 – 5.

 

[4].     Mark (Mariko), 12 : 28 – 29.

 

[5].     Aali Imraan (The Family of Imraan – Ab’enju ya Mulaane), 3 : 64. Pulofeesa Dr. Ö. F. Harman, Article : “Islâm”, Diyanet Islam Ansiklopedesi – Encyclopedia of Islam (Republic of Turkey, Presidency of Religious Affairs), Istanbul 2001, XXIII, 4.

 

[6].     Luqmaan, 31 : 13; An Nisaa (Women – Abakazi), 4 : 48

 

[7].     An Nisaa (Women – Abakazi), 4 : 48, 116.