6. Okukkiriza Okugera

Katonda Owoobuyinza amanyi ebyo byonna abaddu be bye bakola n’ebyo byonna ebikwata ku bitonde bye ebirala byonna ka bibe nga byakolebwa dda oba nga bijja kuzuuka mu biseera eby’omu maaso. Buli kintu kikolebwa ng’ekiseera kyakyo kituuse, nga Allah bwe yakimanya olubereberye nga tekinnagwawo. Okwawukana ku bantu abamu kye balowooza, wano tewali kukaka mbeera. Kino kiri kityo kubanga, nga Obwakatonda bwe bwe buli, Allah Owoobuyinza amanya, abaddu be kye bagenda okukola mu biseera eby’omu maaso na kyonna ekigenda okuzuuka mu Bwakabaka bwe. Ekitali ekyo, wandibaddewo ekimubulako.

Engeri abantu gye balina eddembe ly’okusalawo, abantu baba n’eddembe era tebakakibwa. Nga Allah bw’amanyi ebyayita n’ebinajja oluvannyuma okusinziira ku kumanya kwe okutaliiko kkomo, yawandiika ebyo ebigenda okubaawo. Naye okumanya ssi kukola. Essaawa n’eddakiika enjuba lw’egenda okusiikirizibwa bisobola okubalibwa nga tebinnabaawo, nga tewali agambye nti bannasaayansi be bakoze eky’enjuba okusiikirizibwa olw’okuba nga baategeera bukyali eky’okusiikirizibwa kwayo. Okusiikirizibwa kw’enjuba kulina okubeerawo, wabula bannassaayansi kino bakimanyaako nga basinziira mu bukugu bwe balina mu kunoonyereza n’okubala bye bakola. Okumanya nti ekintu kijja kugwawo n’okukiwandiika n’okukitonda ekiseera kyakyo bwe kiba kituuse ebyo bintu byawukana n’okusalawo okukola ekintu ekyo n’okukissa mu nkola (okusinziira ku kusalawo kuno). Omuntu ayagala okukola ekintu ng’ayita mu ddembe lye ery’okusalawo; era olw’okuba ng’ebikolwa bye byonna kuba  kugezesebwa, Allah amulekera eddembe eryo. Ye atonda butonzi kikolwa omuntu oyo ky’ayagala okukola. Wabula Allah asiima ebikolwa ebirungi era ebituufu, tasiima bikolwa bibi era ebikyamu.[1]



[1].     Okulaba ebisingawo ku nsonga z’obukkiriza laba: http://www.islamicpublishing.net/images/book/ingilzce/islamimanibadet_ing.pdf