Ffe Abasiraamu twagala mukama waffe Nnabbi n’okusinga bwe twagala obulamu bwaffe. Basswahaba ab’ebitiibwa bwe baayogeranga ne Nnabbi baamugambanga nti: “Maama wange ne taata wange bafuuka saddaaka ku lulwo (ekununula)!”[1] Baabanga beetegefu okuwaayo obulamu bwabwe bwe baatyanga nti n’eriggwa obuggwa lyali ligenda kumufumita.
Bamusinzabibumbe bwe baali babonyaabonya Zayidi bin Dathina ne Hubaybu (bombi Allah abasiime) nga bamaze okubakwata, buli omu baamubuuza nti: “Oyagala Nnabbi wo tumuteeke mu kifo kyo ggwe tukute owonye obulamu bwo?” Naye bombi baddamu nga tebakirumyemu nti:
“Ssi kuba bubeezi nga sandiyagadde nze n’abaana bange n’ab’omu maka gange babeere bulungi tuweeyo Nnabbi abeere mu kifo kyange wano; naye omutima gwange teguyinza kuwummula singa eriggwa obugggwa liba limufumise eyo gy’ali.” Abu Sufyaane mu kuwuniikirira n’okwewuunya okungi olw’okwagala okutenkanika abantu bano kwe baalina, yagamba nti:
“Sirabanga mu nsi eno bantu abaagala mukwano gwabwe engeri banne ba Muhammadi (Basswahaba be) gye bamwagalamu.”[2]
Okwagala kuno n’omukwano omungi Basswahaba bye baalina eri Nnabbi tuyinza n’era okubirabira mu ngeri gye baalagangamu ekitiibwa n’okussaayo ebirowoozo buli lwe baayogeranga hadiisi (ebigambo bya Nnabbi). Basswahaba ab’ebitiibwa bwe baayogeranga hadiisi okuva ew’ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) mu kutya ennyo okwogera ekikyamu nga tebagenderedde, amaviivi gaabwe gaakankananga ne bapeeruuka mu maaso. Amuri bin Maymuun yanyumya bw’atyi:
“Saayitibwangako kwogera kwa Ibn Masuudi okwabangawo buli lwakuna ekiro. Mu kwogera kwe kuno nnali ssiwulirangako ng’agamba nti: ‘Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba.’ Wabula lumu yatandika nti, ‘Mukama waffe Omubaka wa Allah yagamba,’ olwo ne yeeweta n’akoteka omutwe. Bwe waayitawo akaseera nnamutunuulira. Yali asumuludde amapeesa g’essaati ye, ng’akaaba ng’amatama gazimbye. Oluvannyuma yajjuuliriza ebigambo bye bw’atyi: ‘Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yayogera ekigambo bwe kityo oba ekyagala okukyefaanaanyirizaako.’”[3]
[1]. Bigambo bya muvvuunuzi: Bigambo bya Luwalabu ebitegeeza okwagala omuntu.
[2]. Vâkidî (Waaqidi), I, 360 – 362; Ibn Sa’adi, II, 56.
[3]. Ibn-I Majah, Muqaddimah (Ebisooka), 3. Eby’okulabirako eby’amaanyi ku mukwano ogutalinaako nsalo laba Osman Nuri Topbas, Faziletler Medeniyet (Civilization of Virtues – Obugunjufu Obw’obulungi), 1, 223 – 265; http://www.islamiyayinlar.net/content/view/148/8/