5. Okukkiriza Olunaku lw’Enkomerero

Olunaku Olukomererayo (Qiyaama, Olunaku lw’okulamula oba Olunaku lw’okuzuukira) lujja kujja, era bwe lulituuka obulamu obw’ekiseera mu nsi bujja kukoma olwo enkomerero etandike. Abantu bajja kuzuukira oluvannyuma lw’okufa era bajja kubalibwa kw’ebyo bye baliba baakola mu nsi eno. Abakkiriza bajja kugenda mu Jjana ate abatakkiriza bo bayingire Omuliro. Abo abalibeera nga bakkiriza Allah kyokka nga baayonoona nakyayinza okuyingira Ejjana oluvannyuma lw’okubonerezebwa olw’ebyonoono oba bwe baliba bafunye okusaasira kwa Allah bajja kugenda butereevu mu Jjana.