Saddaaka ey’obuwaze mu Busiraamu (zaka) eweebwa omuntu omuugagga oyo alina eby’obugagga ebiyisa mu kigero ekimanyiddwa. Omutemwa oguweebwayo gubeera ebitundu bibiri n’ekitundu ku buli kikumi (2.5%) okuva mu by’obugagga era ng’eyinza okuweebwa abaavu, abanaku, abakungu abagikunngaanya (abagikolako); abo emitima gyabwe egyakamanyizibwa Amazima (amakulu abantu abaakayingira Obusiraamu); abo abali mu buddu nga bagezaako okwenunula okuva mu buddu; abo abali mu mabanja; abo abalwana mu kkubo lya Allah; n’abatambuze. (Tawuba [Okwenenya], 9 : 60)
Zaka ekuuma obulamu bw’embeera z’abantu era n’eyunga abantu ku bannaabwe mu mu mukwano n’obwasseruganda ng’eyita mu kuziyiza abagagga okwesigula eby’obugagga byabwe n’okukola ebikyamu, ate n’okuggya mu baavu emize emibi gye batera okubeera nagyo okugeza ensalwa n’obuggya. Ekendeeza olukonko oluli wakati w’abaavu n’abagagga. Ng’eyise mu kumalawo obwavu, zaka eziyiza ebintu bingi ebitasanyusa ebiyinza okuzuuka w’eteri.
Kaliifa Umaru bin Abdul Aziiz lumu yatuma omukungu we owa Zaka okugenda mu nsi za Afirika. Kyokka gwe baatuma yaddayo eka n’ebintu bye yagenda okugaba nga bimulemye okugaba. Ensonga yali nti teyasobola kufuna muntu yali yeetaaga zaka. Ne Kaliifa kye yakola kwali kugula baddu bangi bonna n’abata (ne bafuuka baana ba boobwe).[1]
Zaka lwe lutindo oluyunga abantu abali mu madaala ag’enjawulo era olugatta abantu abo. Olw’ensonga eyo, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba nti: “Zaka lwe lutindo lw’Obusiraamu.”[2] Okusinziira ku mumanyi omulala ayitibwa Qatadaata, enjogera ya hadiisi eno endala egamba nti, “Zaka lwe lutindo wakati w’Ejjana n’Omuliro. Omuntu yenna awaayo Zaka oyo ayita ku lutindo n’ayingira Ejjana.”[3]
Wadde Zaka ng’esanyusa omuntu agifuna olw’omugaso gw’agifunamu, naye ate omugaso gwayo gusinga kubeera munene eri oyo agiwaayo. Zaka ekitegeeza “obuyonjo, okutukula, okweyongera, n’obungi,” eyonja omuntu n’emuggyamu obulwadde bw’omwoyo obumu n’ebibi, era n’ekakasa nti eby’obugagga by’oyo agiwaddeyo bitukudde era birimu emikisa.[4] N’olw’ekyo, okutukuza omutima n’omwoyo, na kuno okulongoosa okwagala kw’omwoyo kimu ku bigendererwa ebiri mu kutumwa kwa bannabbi. Okusinza okw’okuwaayo zaka, era kulongoosa omutima gw’omuntu ne kuguggyamu okugujubanira eby’enfuna, okweyagaliza n’omuntu okwefaako yekka.
Zaka eraga okusiima abagagga kwe balina okukola olw’ebyengera ebyo bye baafuna. Katonda Owoobuyinza agamba nti ebyengera bijja kweyongera singa omuntu yeebaza era mu mbeera y’obuteebaza n’obutasiima ebibonerezo bijja kubeera biyitirivu.[5]
Zaka bw’eteweebwayo emigaso egyo gyonna gikyuka era emitawaana mingi ne gituuka ku bantu b’omu kitundu bonna okutwalira awamu ne sekinnoomu. Mukama waffe Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yatutegeeza nti zaka bw’etandika okufuuka omugugu omunene mu bantu era bw’etandika okulagajjalirwa ddala mu kiseera, obutyabaga obw’engeri ezimu buba butuuse okuzinda ekitundu.[6] Lumu yagamba nti:
“Abantu b’ekitundu abagaana okuwa Zaka baba bajja kuggyibwako enkuba era singa si kuba nga balina ensolo, tebandifunye ttondo lya nkuba.” (Ibn Maaja, Fitanu [Ebikemo], 22; Haakim, IV, 583 / 8623)
[1]. Laba Büti, Fikhu’s-sire (Fiqhu Ssiira), Beirut 1980, olup. 434.
[2]. Beyhakî (Bayhaqi), Şuab (Shuab – Ebiti), III, 20, 195; Haythami, III, 62.
[3]. Abdurrazzâk (Abdurrazaaq), Musannef (Muswannaf), IV, 108.
[4]. At Tawuba (Repentance – Okwenenya) 9 : 103; Saba (Sheba), 34 : 39.
[5]. Ibraahiim (Bulayimu), 14 : 7.
[6]. Tirmidhi, Fitanu (Ebikemo), 38 / 2210, 2211.