1. Esswala n’Ensonga Eziri Emabega Waayo

Esswala ngeri emu ey’okusinza etandika ne takbeer (okugamba nti ‘Allaahu akbaru’ amakulu nti Allah Munene) n’emaliriza ne Salaamu oba okulamusa. Erina ebigambo eby’enjawulo n’ebikolwa.[1] Katonda Owoobuyinza yalagira abantu okufuna wuzu (okutawaaza), okukuuma emibiri gyabwe, engoye, wamu n’ebifo ebyetoolodde we bagenda okusinziza nga biyonjo, nga tannaba kulagira ebikolwa by’okusinza omuli okusaala, okwetooloola Ka’aba, n’okusoma Kulaane. Bwe twetegereza eky’okufuna wuzu n’okunaaba okw’emikolo tulaba engeri Obusiraamu gye bwateeka essira ku buyonjo okwo nga kw’ogatta obutukuvu bw’omwoyo. Olw’ensonga eno, ebitabo bya fiqhi (ebirambulula amateeka g’Obusiraamu) ebisookerwako n’ebya waggulu byonna bitandika n’ekitundu ekikwata ku buyonjo. N’olw’ekyo, ogumu ku migaso gy’esswala kwe kuba ng’esobozesa abantu okuwangaalira mu bulamu obuyonjo ennyo. Obukulu bw’obuyonjo mu bulamu bw’omuntu tebwetaaga na kwogerera.

N’ekirala, esswala eziyiza omuntu okukola ebibi byonna. Era etangira omuntu okugoberera eby’okwegomba engoberera ey’ekizibu ky’amaaso n’okusikirizibwa ebintu mu ngeri eterinaako kigendererwa.[2] Esswala lye ddagala erisinga okuvumula eby’okwegomba okw’obwagazi ebiziyiza omuntu okujjukira Katonda we, okuva lw’eri ng’eddibwamu emirundi etaano buli lunaku. Esalako okwagala era n’erunngamya omuntu eri okukola obulungi n’eri ekkubo eggolokofu mu buli nsonga. N’olw’ekyo, wadde ng’omukkiriza asaala ku lwa Allah, naye mu kiseera kye kimu akomekkereza alongoosezza obulamu bwe obw’oku nsi n’obw’enkomerero, ng’ayita mu kukuumibwa obutakola byonoono n’okumutangira okugoberera okwegomba kw’omwoyo.

Okusaala kuteeka mu bwongo endowooza entuufu nti Allah y’alina obuyinza obw’enjawulo obufuga ensi era kukakasa nti omuntu bw’atyo bw’alina okuwulira bulijjo.

Okusaala emirundi etaano olunaku kukuuma abantu okuva mu bintu bye bimu bye baddinngana okukola buli lunaku, ne kubasobozesa okukyusaako era n’ekubawaamu obuweerero n’okuwummulamu. Esswala, ng’eyita mu kujja abantu akaseera akatono mu kuwankawanka okw’ensi, ebayamba okulaga okwewaayo kwabwe n’okwebaza Katonda waabwe. Mu kiseera kye kimu, omuntu, mu kiseera ky’okuvunnama, yeekebera n’afuna akakisa okufa ku nsi ye ey’omunda. Omumerika Eyasiramuka ng’ayitibwa Matt Salesman, ono nga yali mu minsane, yagamba bw’atyi: “Mu kusaala nfuna eddembe n’obuteefu – naddala mu sswala ez’okulwokutaano (Jjuma)! Ebiseera bye mbeerera mu muzikiti biseera bya njawulo gye ndi ebimpa eddembe mu mwoyo gwange.”[3]

Pulofeesa Timothy Gianotti omusomesa mu Yunivasite y’e York mu Toronto, nga naye yasiramuka, yagamba bw’atyi: “Bwe nvunnama mba ng’akutte emirembe. Mba ng’awulira nti ndi watuufu. Mba ng’ali mu nsi ey’emirembe. Era bwe nvunnama mpulira ng’akomyewo eka okuva ewala ennyo. Oboolyawo nga nninga atuuse eri Allah. Kino kye kyokka kye nsobola okunnyonnyola. Esswala kuwulira mirembe na butebenkevu.”[4]

Esswala nga bw’eri eky’okulabirira eky’omwoyo eri omwoyo, mu  ngeri y’emu kya kuvumula eri omubiri. Kimanyiddwa bulungi nti esswala, ng’eyita mu kuwa omubiri akakisa ak’ebiyungo byonna okutambula, ennyingo okweweta, n’ebinywa okwemiima n’okweta, ewa omubiri eky’okukola. Esswala era kintu ekiwa ebipimo ebirungi eri obulamu bw’Omusiraamu. Okusinza kuno, okukolebwa mu biseera eby’enjawulo era mu mateeka ag’enjawulo, emanyiiza omuntu obulamu obugoberera enteekateeka ennungi era obutambulira ku mateeka g’empisa.

Abasiraamu bayinza okusaala esswala zaabwe buli omu yekka awo wonna we baba baagadde, naye era Obusiraamu bubakuutira okusaala bonna nga bakola jjama (okusaalira mu bibinja). Kino kiri kityo kubanga esswala ezisaalibwa mu jjama zituyigiriza okubeera obumu mu kubeera abaddu ba Allah awatali kusosola okwesigamiziddwa ku nsibuko ya muntu, langi ye, olulimi lw’ayogera, ekifo ky’alimu oba eddaala lye. Twegatta buli omu n’ayamba munne mu mbeera enkolagana mw’eyambira okunyweza okuwulira kwaffe nti tuli ggwanga limu (ummah). Mu mbeera ey’okubeera awamu abantu mwe bafaanaganya ebirowoozo n’ebigendererwa, enjawukana wakati w’abantu ezisinga ziyinza okwerabirwa, era okuwulira omwenkanonkano n’obwasseruganda ne bisimba amakanda mu mutima gy’abantu, era n’omwoyo gwe ddiini ne gubuna buli wantu.

Mu mazima, okusaala emirundi etaano olunaku kintu kitono nnyo eri abantu era obuvunaanyizibwa obwangu okutuukiriza. Mu ssaawa amakumi abiri mu ennya (24), ekiseera omuntu ky’aba ajja okulekamu ebintu bye eby’ensi abeere mu maaso ga Allah, kyonna oyinza okukigattamu nga kiweza eddakiika amakumi abiri mu nnya (24) zokka. Naye nga mu ddakiika zino zokka omuntu afuna emigaso mingi mu by’omwoyo n’ebintu ebirala.



[1].     Abatu abamu balowooza nti Abasiraamu bwe baba basaala basinza Ka’aba. Endowooza bw’etyi nkyamu nnyo. Abasiraamu tebasinza Ka’aba wadde Ejjinja Eriddugavu (Al Hajar Al As’wadu), oba okubivunnamira wadde okubyolekera bwe baba basaala. Obwolekero Abasiraamu bwe boolekera ssi gwe muzimbo gwa Ka’aba gwennyini wabula ekifo Ka’aba mw’eri. Singa Ka’aba yali ya kuvaawo era obwolekero bw’Aabasiraamu tebwandikyuse kudda gye baba bagizzizza, ne bwe bandigikomezzaawo era bwandisigadde bwe bumu tebwandikyuse: abantu bwe baba basaala bandiyolekedde obwolekero bwe bumu kye kimu waliwo omuzimbo oba nedda. (Pulofeesa Dr. M. Hamidullah, Islâm’a Giriş (Introduction to Islam – Obusiraamu mu bufunze), olup. 108.

N’okusaasaana kw’amasanamu mu Makka, wadde ng’amasanamu mangi ge baasimba mu Ka’aba munda ne ge baateeka wabweru, Ka’aba yennyini tebaagiwa ssanamu na limu, wabula bulijjo baagiyitanga “Baytullah: Ennyumba ya Allah.” Abantu nga balemedde ku bintu by’okulowooleza n’okukkiriza mu bakatonda abangi, mu byafaayo, abantu baasinza amayinja mangi, emiti, n’ebintu ebirala, naye wadde nga baali bawa nnyo ekitiibwa Ka’aba, Ejjinja Eriddugavu (al Hajaru al As’wadu), n’eddala Bulayimu lye yalimu, naye tewali na na kimu ku bino kye baasinza. Kino kyava ku kukuuma okw’enjawulo Allah Oweekitiibwa kwe yakuumamu ebintu bino.

[2].     Al Ankabuut (The Spider – Nabbubi), 29 : 45.

 

[3].     Ahmet Böken – Ayhan Eryiğit, Yen Hayatlar (New Lives – Obulamu Obuggya), I, 49.

 

[4].     Ahmet Böken – Ayhan Eryiğit, Yen Hayatlar (New Lives – Obulamu Obuggya), I, 19. Okulaba emboozi ezikwata ku bantu abayingira Obusiraamu oluvannyuma laba ebitabo bino: Pulofeesa Dr. Ali Kose, Conversion to Islam : A Study of Native British Converts, London : Keagan Paul International, 1996; A. Ari – Y, Karabulut, Neden Muslüman Oldum (Whya I became a Muslim – Lwaki nnafuuka Omusiraamu), Ankara : Diyanet Işleri Başkanliği (Republic of Turkey, Presidency of Religious Affairs), kyafulumizibwa mu 2007; Defne Bayrak, Neden Muslüman Oldular? (Why did they become Muslims? Lwaki baafuuka Abasiraamu?), Istanbul : Insan yayinlari, 2008.