C. OBUSIRAAMU BYE BUGAANA N’OBULABE OBUBIRIMU

Allah Owoobuyinza mu Kulaane ey’ekitiibwa yatukkiriza okufuna emigaso mu bintu ebirungi era ebiyonjo, era n’anenya abo abaagezaako okugaana ebintu bye yakkiriza. Oluvannyuma ng’amaze okwogera nti tagaana bintu birina mugaso eri obuntu wabula ebyo byokka eby’obulabe, yagamba nti:

Gamba nti: Ebintu Katonda wange bye yaziyiza mwe muli: ebikolwa ebyambyone, kye kimu bikoleddwa mu lwatu oba mu kyama; namazambi, okunyigiriza…” (A’araaf [Ebikomera], 7 : 33)

Amazambi n’okubuuka ensalo bifaanana obutwa obuwalula omuntu okumutwala eri okwonooneka okw’omwoyo n’okw’omubiri. Wabula, Sitaane n’obwagazi bw’omwoyo bibyambaza ne bibirongoosa ne birabika ng’ebirungi era ebisikiriza eri abantu. Abantu abatwalirizibwa n’ebintu ebyo, gye biggweera nga boonoonye obulamu bwabwe obw’omwoyo.

Ng’oggyeeko ebyo, omusingi guli nti ebintu ebisinga obungi bikkirizibwa. Ebintu ebigaanibwa bye bitono ennyo. Wabula, omwanaadaamu yettanira ebyo ebitono ennyo ebyagaanibwa n’azza ku bbali ebyo ebyamukkirizibwa enkuyanja (olw’ensonga ze tutamanyi).