4. Obusiraamu Buteekawo Okwenkanyanka-nya Wakati w’Ensi n’Enkomerero, eby’Omubiri n’Eby’omwoyo

Obusiraamu buteeka essira ku kubeera mu makkati n’obutaba na kwekubiira. Bwe bubeera buwa obuzito ku ludda lwe kintu, ate tebusuulirira ddala ludda lulala. Okuva Allah lwe yatonda enjuyi zombi ez’omuntu ate ng’abantu zombi bazeetaaga, tekyandibadde kituufu oludda olumu okulwerabirira ddala. Kibeera kya bwenkanya okufa ku buli ludda nga bwe kyetaagisa. Bwe tutunuulira nga tuva ku ludda luno, ensi eno kirabo kya muwendo nnyo nga mwe muyinza okuyitibwa okusiga okusobola okufuna Enkomerero ennungi. Omuntu ateekeddwa okukozesa ekirabo kino okunoonya okusiima kwa Katonda. Enkomerero kye kigendererwa ekyannamaddala era omuntu kino tateekeddwa kukyerabira.

Ng’enkola ey’eby’ensi (etali ya ddiini) bw’essa essira ku by’ensi byokka, n’enkola y’ekinnaddiini essa essira ku nkomerero yokka nayo tesobola kumatiza muntu. Ekimu tekyandiweereddwaayo nga saddaaka ku lwa kirala, byombi birina okupimibwa obulungi ne mu ngeri entuufu era ne biteekebwateekebwa mu ngeri ennungi ebikwataganya obulungi.

Omwoyo n’omubiri bye bikola enjuyi zombi ez’omuntu. Wadde ng’omwoyo kye kintu ekisinga obukulu, omubiri gwe gukola emirimo. Bwe biba tebiri byombi tewali kisobola kukolebwa. N’olw’ekyo, tekiba kituufu ebirowoozo okubimalira ku mwoyo gwokka omubiri ne gusuulirirwa. Okusinziira ku Nnabbi waffe (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kye yatugamba, ekimu ku bintu abantu bye bajja okusooka okubuuzibwa ku Lunaku lw’enkomerero y’engeri gye baakozesaamu obulamu bwabwe.[1]

Obusiraamu bw’atulagira obutabeera na kwekubiira ne bwe kuba mu kukola ibaada (okusinza) okugeza ng’okusaala, okusiiba, n’okuwaayo omutemwa gw’abaavu (zaka). Tebwawagira kusinza okuyitiridde okutalekaamu muntu kassa.[2]



[1].     Tirmidhi, Qiyaamah (Olunaku lw’okuyimirira mu Bbaliro), 1 / 2417.

 

[2].     Laba Bukhari, Swawm (Okusiiba) 55, 56, 57, Tahajjud (Esswala gye bazuukukira ekiro) 7, Anbiyaa (Bannabbi) 37, Nikaah (Okufumbirwa oba Okuwasa) 1, 89; Muslim, Nikaah, Swiyaam  (Okusiiba), 181 – 193; Abu Dawuda, Swawum (Okusiiba), 55 / 2428.