2. Okukkiriza Bamalayika

Bamalayika bitonde ebyewuunyisa ennyo Allah bye yatonda mu kitangaala nga tannaba kutonda bantu. Bamalayika ssi basajja era ssi bakazi era tebalekera awo kugondera Allah. Bakolera ku biragiro bya Allah era boogera naye. Tebagyemera Allah era bakola ekyo kyonna ky’aba abalagidde. Tebalina byetaago ng’eby’abantu okugeza okulya, okunywa, okwebaka, okukoowa, oba okwetamwa. Tebalina kwegomba mu by’okwegatta. Tebakola mazambi oba ensobi. Bayinza okuva mu kifo mu ngeri ey’amaanyi era mu bwangu obw’ekitalo. Basobola okukola omulimu gwonna oguba gubaweereddwa ne bwe gubeera munene gutya. Bayinza okukyuka mu kifaananyi ne bafuuka ekirala Allah bw’abeera akkiriza. Tebamanyi byekwese ebyo Allah bye yeesigaliza Yekka. Basobola kumanya ekyo kyokka Allah ky’aba abalagidde.[1]

Amajinni bitonde bye tutayinza kutegeera na biyungo byaffe (tetusobola kubiraba, kubiwulira, oba kumanya nti biri awo). Gategeera era galina okusalawo ng’okw’abantu, era gateekeddwa okugoberera ebiragiro bya Katonda, era nga gagwa mu bityi bibiri, amakkiriza n’agatali makkiriza. Sitaane emu ku majinni.



[1].     Al Baqara (The Cow – Ente), 2 : 30 – 34; Al A’araaf (Ramparts – Ebikomera), 7 : 11, 27; Huud, 11 : 69 – 70; Al Hijr, 15 : 28, 51 – 52; Al Israa (The Night Journey – Olugendo lw’ekiro), 17 : 61, 92; Al Kahfu (The Cave – Empuku), 18 : 50; Twa-Ha, 20 : 116; Swad, 38 : 71, 73; An Najm (The Star – Emmunyeenye), 53 : 5; Al Tahriim (The Prohibition – Okuziyiza), 66 : 6); Al Takwiir (Okuzingibwako), 81 : 20.