Okusiiba ngeri emu mu kusinza nga kulimu okweziyiza okulya, okunywa, n’okwegatta mu by’obufumbo okuva mmambya lw’esala (lw’evaayo) okutuusa enjuba lw’egwa. Okusinza kuno kukolebwa buli mwaka mu mwezi gwa Lamanzane ennaku amakumi abiri mu mwenda (29) oba amakumi asatu (30).
Nga kuyita mu kututendeka mu bitendo by’obugumiikiriza, okwefuga n’okwewala eby’okwegomba eby’okwegatta – ng’ebitendo ebyo byonna (ebitutendekebwa) biteekeddwa okubeerawo mu kulafuubana mu bulamu – okusiiba kufuula embera zaffe ez’empisa ebituukiridde. Okusiiba ngabo ekuuma ebitiibwa by’abantu okuva mu kwegomba okulya, okunywa, n’okwegatta ebitakoma. Okusiiba era kuyamba abo abasiiba okutuuka ku bulungi bw’empisa okugeza obumalirivu, okufuba, obugumiikiriza, okumalirira n’okugumiikiriza. Okusiiba kutusobozesa okumanya obwetaavu n’enjala, okusiiba kutujjukiza obukulu bw’ebyengera bya Allah gye tuli.
Okusiiba gye kumalira nga kujjuzza emitima gyaffe okutendereza n’okwebaza Allah wamu n’okusaasira n’okuyamba abaddu be. N’olw’ekyo, okusiiba ly’eddagala erisinga okuvumula ebintu ebitatuukana na mbeera za bantu okugeza empiiga, ensaalwa, n’ebbuba.
Tekyewuunyisa okuba ng’okusiiba tekwalaalikibwa ku ffe ffekka naye n’abantu abo abaatusookawo. Allah Ow’ekitiibwa alagira nti:
“Abange mmwe abakkiriza! Okusiiba kubalaalikiddwaako nga bwe kwalaalikibwa kw’abo abaaliwo olubereberye, mulyoke muyige okwefuga. Okusiiba kwa nnaku ezimanyiddwa…” (Baqara [Ente], 2 : 183 – 184)
Okusiiba okusobola okubeera okw’omugaso mu mwoyo, omuntu yeetaaga okwewalira ddala empisa embi ng’okulimba, okuwaayiriza, okugeya, okukola olugambo, okulayira n’okukolima, okulwana, n’ebikolwa byonna ebibi n’amazambi. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yawa amagezi omukkiriza asiiba okulaga obukkakkamu ng’ayolekedde effujjo oba okuyiikirizibwa eby’engeri yonna. Eyo ye ngeri omusiibi gy’ayinza okuva ku kukola empisa embi.
Okusiiba kufuula omuntu omulamu era asobola okukola. Kino tuyinza okukirabira ku miti. Emiti gyebaka mu biseera by’obutiti ne gikunkumula amakoola gonna era ne giziyiza amazzi okutuuka ku mirandira gyagyo okutuusa obutiti lwe buggwayo omuzira ne gumerenguka. Oluvannyuma lw’okusiiba emyezi emitono egyo, ekiseera ekya spring ne kituuka, emiti ne gyeyongera okuvaamu ebibala nga kino kisobola n’okulabikira ku bikoola ebyeyongera n’ebimuli. Eby’obugagga eby’omu ttaka nabyo byetaaga okusiiba. Yingini n’ebyuma nabyo babiyimirizaamu oluvannyuma lw’okukolera akabanga biwummulemu. Okuwummula kuno kubiyamba okwezza obuggya n’okweddiza amaanyi gaabyo ge byabadde birina.
Abantu abali mu busawo batutegeeza nti okusiiba ennaku ezikka wansi w’amakumi asatu kuyinza obutakola nnyo ate okusiiba ennaku ezisukka mu makumi ana kuyinza okufuukira omuntu embeera olwo ne kutaba na mugaso ng’oguyinza okuva mu kuleka okulya n’okunywa mu biseera ebigere. Mu biseera bino, waliwo okuvumula okupya okukolebwa mu nsi za Bulaaya, ng’obulwadde obw’olukonvuba (obutawona) babujjanjaba na kusiiba okumpi oba okuwanvu nga kino kisinziira ku mbeera omulwadde gy’abaamu.[1] Okusiiba era kuyamba embeera y’amagezi n’omwoyo okukola obulungi.
Tulina okujjukira era nti ekigendererwa mu kusiiba ssi kubonyaabonya mubiri n’okuguteeka mu buzibu obutasaanidde. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yawa abantu amagezi okuzuukuka ekiro okulya ddaaku (emmere ey’emikolo eriibwa ng’obudde bukya nga mmambya ebulako katono okusala – sahuur) ng’omuntu agenda kutandika kusiiba, n’okwanguyiriza okusiibulukuka ng’enjuba yaakagwa (iftaar).[2]
N’olw’ekyo, ekigendererwa ekya ddala mu kusiiba kwe kutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’okubeera omuddu wa Allah, okukendeeza n’okufuga okwagala kw’omwoyo n’okutya Allah, n’okussaawo embeera Allah mw’ajja okusiima nga kuyita mu kutumbula omuntu n’abantu b’omu kitundu ekimu.