B. ENSINZA MU BUSIRAAMU N’EMIGASO EGIRI EMABEGA W’ENSINZA EZO

Okutuuka wano tunnyonnyodde mu bufunze okubeerayo kwa Allah, ebitendo bye, butya bwe yatonda omuntu n’obwegendereza era mu ngeri esinga obulungi, okubeera ng’abantu yabawa enkizo mu kutonda kwe, era n’okubeera nga yabawa emikisa n’ebyengera ebisinga obungi. Ng’otegedde ebyo, kisoboka okulowooza nti abantu baatondebwa nga tebalina buvunaanyizibwa bwonna mu nsi y’okubeerawo eno era nti tebavunaanyizibwa ku kintu kyonna? Kiba kituufu okulowooza nti obuvunaanyizibwa bw’abantu abo abaaweebwa amagezi mu by’empisa bwenkanankana n’obwo obw’ensolo n’ebitonde ebirala ebitalina magezi? Butya bwe tuyinza okulowooza nti omuntu eyatondebwa bw’atyo yeetooloolera ku kulya, kunywa, kuwasa, na kuzaala, ate oluvannyuma lw’ekiseera, kwesuula mu butabaawo n’abeera ng’amiribwa okufa? Allah Owoobuyinza agamba mu Kulaane ey’ekitiibwa nti:

Saakola majinni na bantu okuggyako lwa kintu kimu kunsinza (Dhaariyaati [Emmunyeenye ezisaasaana], 51 : 56)

Sinza Katonda wo okutuusa obukakafu (Essaawa yokufa) lwe bunaakuggyira. (Hijri, 15 : 99)

Okusinza kutegeeza kutuukiriza buvunaanyizibwa obw’okubeera omuddu, okugonda n’okwewaayo. Mu makulu amalambulukufu, okusinza bye bikolwa by’omuntu byonna, ebigambo bye, bwe yeeyisa mu biseera by’essanyu n’ennaku, n’ebirowoozo bye ebyo by’akola ng’agezaako okuwangaala nga Katonda we bw’ayagala. Okusinza kulaga kwebaza okuteekwa okukolebwa olw’obuvunaanyizibwa omuntu bw’alina eri Katonda we olw’okumuwa ebyengera byonna bye yamugabira.

Ebikolwa ebiri mu kusinza omuntu by’akola mu butuufu bigasa muntu oyo aba abikoze. Kino kiri kityo kubanga okusinza kukuuma abantu obutabuutikirwa bintu bya nsi ne kusitula okwettanira kwabwe eri ebiruubirirwa ebya waggulu. Okusinza kugaziya endaba y’omuntu.

Okwo kw’ogatta nti okusinza tekugasa ku Lunaku lwa nkomerero lwokka. Okusinza kulina emigaso egy’omubiri egyeyongereza ku migaso gyakwo egy’omwoyo. Kino kiri bwe kityo lwa nsonga nti Obusiraamu nkola etuukiridde etalekaayo kintu kyonna ekikwata ku bulamu bw’omuntu mu buli luuyi. Mu ngeri y’emu, Obusiraamu buteekawo obumu obutuukagana n’ebikolwa by’abantu byonna. Olw’ensonga eno, wadde ng’ebikolwa eby’ensi ebigoberera amateeka n’ebiragiro bya Katonda nga bifuna okusasulwa empeera za Katonda ez’okusinza, naye okwo ogattako okuba ng’okusinza kwennyini kulina emigaso egy’omubiri n’ebintu ebitali bya mwoyo. Wadde ng’ensonga ezimu eziri emabega w’okusinza n’eby’okwegendereza mu kusinza nga biyinza okutegeerekeka ng’omuntu akozesezza amagezi, ebisinga obungi tebiyinza kutegeerekeka na magezi meereere. Mu ngeri yonna, omulamwa oguli mu kusinza kwe kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe ng’abaddu ba Allah, so ssi kugenderera kufuna migaso gya nsi. Wabula, olw’okuzzaamu abantu amaanyi, twagala kwogera ku migaso egy’oku nsi okusinza gye kutuleetera.