Katonda Owoobuyinza yawa ababaka be ebitabo ebirimu amateeka ku kukkiriza, okusinza, empisa, n’okuwangaala mu nsi muno. “Empapula ez’omu biseera eby’edda (al-Suhuf al-Uula)”, ezassibwa ku beebitiibwa Bulayimu (Abraham) ne Musa (Moses), ne Tawraati (Torah), Zabbuli (Psalms), Bayibuli, ne Kulaane ebyo byonna bitabo bitukuvu ebyassibwa okuva mu ggulu.[1]
[1]. Al Baqarah (The Cow – Ente), 2 : 85; Aali Imraane (The Family of Imraan – Ab’enju ya Mulaane), 3 : 3 – 4; An Nisaa (Women – Abakazi) 4 : 163; Twa-Haa, 20 : 133; An Najm (The Star – Emmunyeenye), 53 : 36 – 37; Al Hadiid (Iron – Ekyuma), 57 : 26 – 27; Al A’aala (The Most High – Owaawaggulu), 87 : 18 – 19.