4. Hijja N’ebigendererwa Byayo

Hijja ngeri ya kusinza Abasiraamu abalina obugagga obwetaagisa wamu n’obulamu mu mubiri gye bakola nga balambula Ka’aba e Makka ku nnaku ezimanyiddwa, omulundi gumu mu bulamu bwabwe, nga bakola emikolo egimanyiddwa. Abantu basinza nnyo Allah, basaba nnyo edduwa, era ne batendereza nnyo Allah nga bali mu hijja. Bajjukira Allah mu buli kintu kye bakola era ne bateeka okwagala Allah mu mitima gyabwe. Balina n’ebitendo ebirala ebirungi bye bafuna okugeza obukkakkamu, obugumiikiriza, okwewaayo eri Allah, okuwulira nga beetaaga obuyambi okuva eri Allah, okukyawa ensi, obwesimbu, okukuuma ebiseera n’okutuukiriza ebikolwa, okwetegekera okufa n’Olunaku lw’okulamula, obutalumya kimera oba ekiramu ekirala, n’obutaba na ndowooza mbi ku muntu yenna. Kino kiri kityo kubanga Hijja, wadde nga ku ngulu erina ebintu kwe yeetooloolera (obubonero), naye erimu emikolo egy’enjawulo egikolebwa mu bifo eby’enjawulo ebikunngaanya ebintu ebingi eby’omwoyo. Buli omu aganyulwa mu buli kintu ekiri mu Hijja.

Hijja eddamu n’erunngamya buto omuntu eri obulamu obw’omwoyo. Kino kiri kityo kubanga engeri y’okusinza eno, omuli okwegendereza okungi, erabikiramu okulumirwa, obusaasizi, n’okwagala, okugeza eziyiza okuyigga, wadde okutta ensowera, okukoonola wadde akakoola, n’okulumya ebitonde bya Allah.

Abasiraamu abagenda mu Hijja bayimirira mu bumu bw’emyoyo nga bakunngaanye wamu mu kiseera kye kimu n’ekifo kye kimu. Okulowooleza mu mawanga n’ensi, omuntu gy’ava, ensibuko, langi, ebyambalo, kwonna kuggwaawo olwo oluganda lw’Obusiraamu ne lukuddira mu bigere. Akulira kampuni n’omukozi, omugagga n’omwavu, amanyi n’atamanyi, omufuzi n’omuntu wa bulijjo, bonna babeera wamu, bonna nga bambadde ebyambalo bye bimu, mu kibangirizi kye kimu, era nga bali ku lunyiriri lwe lumu. Abasiraamu buli omu awuliriza ebizibu bya munne nga bali eyo era ne baweereza obubaka eri baganda baabwe abali ewala.[1]

Bwe tutunuulira engeri z’okusinza ezo ze tukoonyeeko mu bufunze, tukisanga nti Obusiraamu mbeera ya bulamu. Obusiraamu ssi kintu ekikolebwa mu ddiini eky’olunaku olumu mu ssande ennamba, wabula bubuna obulamu bw’omuntu bwonna okuva mu kuzaalibwa okutuusa okufa, n’okusukkawo. Pulofeesa Timothy Gianotti, ow’omu ttendekero ekkulu York e Toronto, ng’ono yasiramuka yagamba nti: “Bwe nnalondawo Obusiraamu, nnamanya nti eddiini eno egenderera okufuula ensi yonna ekifo eky’okusinza. Amakulu nti ng’ossizza ku bbali ebintu eby’ensi ebikolebwa buli lunaku, teweetaaga kubeera mu kigo. Okugeza, esswala y’esinga obwangu era ekkubo erisinga okukoleka okusobola okujjukira Allah buli kiseera.” (Ahmet Böken – Ayhan Eryiğit, Yen Haytlar (New Lives), I, 15 – 16)



[1].     Ku by’okusinza mu bujjuvu laba http://www.islamicpublishings.net/images/book/inglizce/islamimanibadet_ing.pdf.