Obusiraamu, mu bitonde byonna, buwa abantu ekifo eky’enjawulo n’ekitiibwa. Mu Kulaane ey’ekitiibwa mulimu aya nnyingi ezoogera ku kino:
“Twatonda omuntu mu kifaananyi ekisinga obulungi.” (Tiini [Omuti Ogwa Tiini], 95 : 4)
“Twaweesa batabani ba Adamu ekitiibwa, ne tubatambuliza ku lukalu ne mu mazzi; ne tubawa ebintu ebirungi era ebitukuvu kwe bawangaalira; ne tubawa ebyengera ebyawufu, waggulu w’ebitonde byonna.” (Israa [Olugendo lw’ekiro], 17 : 70)
Olunaku lumu, abaziisi baayita ku Mubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) nga bali n’omulambo. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kuyimirira. Oluvannyuma waliwo abaamutegeeza nti: “Mubaka wa Allah! Ogwo gwabadde mulambo gwa Muyawudi!” Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kubabuuza nti: “Omuyawudi ye ssi muntu?” (Bukhari, Janaaiz, 50; Muslim, Janaaiz, 81)
Nga bwe kirabika, Mukama waffe Nnabbi yayimirira olw’okuwa omuntu, Allah Owoobuyinza gwe yatonda n’obwegendereza obungi, ekitiibwa. Bw’atyo n’alaga nti abantu bonna, ssi balamu bokka naye n’abafu, balina okussibwamu ekitiibwa. Ya’ala bin Murra (Allah amusiime) yagamba bw’atyi:
“Nnawerekeranga Mukama waffe Omubaka wa Allah mu ntalo nnyingi. Naye Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) wonna we yasanganga omulambo gw’omuntu ng’alagira okuguziikirawo, nga tamala kubuuza oba gwali gwa Musiraamu oba nedda.” (Haakim, I, 526 / 1374)
Oyinza okulaba obukulu bw’obulamu n’omwoyo gw’omuntu oyo omulambo gwe oguweebwa ekitiibwa. Mu Kulaane ey’ekitiibwa mulimu ekiragiro nti:
“… singa omuntu atta munne – okuggyako nga naye yasse oba nga yasaasaanyizza obwonoonefu mu nsi – kibeera ng’asse abantu bonna; ate singa awonya (ataasa) obulamu (bw’omuntu) aba nga awonyezza abantu bonna…” (Maa-ida [Emmeeza], 5 : 32)
Olw’ensonga eyo, okwetta oba okutta omuntu omulala kyagaanibwa ddala era abo abakikola ebibonerezo eby’amaanyi bibalindiridde.[1]
Ow’ekitiibwa Mawulaana Jalaalu Ddiini Ruumi agamba nti:
“Singa nnali wa kulangirira omuwendo gw’omuntu ogwannamaddala, ensi nange twandibengeyezza ne tuggwaawo! Eby’embi, abantu tebaategeera kitiibwa kyabwe olwo ne beetunda layisi. Omuntu we yabeerera olugoye olw’omuwendo, yeefuula ekiraka ekiddaabiriza essweta.” (Mathnawi, ekitabo III, Ennyiriri: 1000 – 1001)
Obusiraamu bulaba obuntu nga obulina eddembe erigya mu kitiibwa kyabwo eky’obwebange.[2] Okusinziira ku Busiraamu, okubeerawo obubeezi okw’omuntu mbeera emala okufuna eddembe ly’obuntu ery’obwebange. Bakakensa b’amateeka g’Obusiraamu batwala obuntu – ekitendo ky’okubeera omuntu – nga gwe mulamwa ogw’eddembe ly’obuntu. Ekyava mw’ekyo kwe kutwala enkola ebuna ne baba nga tebasosola mu bantu nga basinziira ku ddiini gye basoma, enfaanana yaabwe (okusinziira ku gye bava), n’amawanga gaabwe gye basibuka.[3]
[1]. Bukhari, Diyaat (Enfubanja), 21; Twibb (Medicine – Obusawo), 56; Muslim, Iman (Obukkiriza), 175.
[2]. Okulaba ebisingawo ku nsonga eno soma ku Kadir Misiroğlu, Islâm Dünya Görüsü (Islamic World View – Obusiraamu Engeri Gye Bulabamu Ensi), Istanbul 2008, olup. 200 201; Pulofeesa Dr. Recep Şentürk, Insan Haklar ve Islâm (Human Rights and Islam – Obusiraamu n’eddembe ly’obuntu), Istanbul 2007.
[3]. Pulofeesa Dr. Recep Şentürk, Insan Haklar ve Islâm (Human Rights and Islam – Obusiraamu n’eddembe ly’obuntu), Istanbul 2007, olup. 13, 21.