Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yalina okusaasira okutakoma nga takoma ku kusaasira bantu bokka naye ng’asaasira n’ebisolo n’ebimera. Bamusinzabibumbe bwe baamulyamu olukwe, bwe baamenya endagaano gye baali bakoze ne balondawo olutalo, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yakulembera eggye eddene eryalimu abalwanyi omutwalo mulamba okulumba Makka. Naye bwe baali bagenda nga bava mu kifo ekiyitibwa Arj ng’oyolekedde Talub, Nnabbi yalaba embwa ng’esitamye ku bwana bwayo ng’ebuyonsa. Mangu ago yayita omu ku Basswahaba be eyayitibwanga Juaylu bin Suraaqa n’amulagira okukuuma ensolo ezo. Yamugamba okubeera omwegendereza embwa enkulu, maama w’obubwa, ereme kutaawaanyizibwa ggye ly’Obusiraamu.[1]
Olunaku lumu, Omubaka wa Allah yayimirira ku nnimiro y’omu ku Ba-asaari. Mu nnimiro mwalimu enngamiya eyakaaba n’esinda bwe yalaba mukama waffe Nnabbi. Mukama waffe yagenda enngamiya we yali n’agisiisiriza emabega w’amatu gaayo n’okulumwa n’okulaga ekisa okutuusa enngamiya lwe yakkakkana. Oluvannyuma Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kubuuza nti:
“Ani nnannyini nngamiya eno?” Omuvubuka omu Munnamadiina kwe kusembera n’agamba nti:
“Yange Omubaka wa Allah!”
Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira n’emirembe bibeere ku ey) kwe kugamba nti: “Totya Allah ku bikwata ku kisolo kino kye yakuwa? Kibadde kikuwaabira gyendi nti tewakiwadde mmere ate n’okikooya nnyo.” (Abu Dawuda, Jihad [Okulwana mu kkubo lya Allah], 44 : 2549)
Olunaku olulala, mukama waffe Nnabbi yalaba omusajja eyali asala endiga. Yali agezaako okuwagala ekiso ng’amaze okugalamiza endiga wansi. Olw’omusajja obutabeera na mwoyo gwa kisa n’endowooza enkyamu gye yalina, mukama waffe Ow’ekitiibwa Omubaka yamulabula bw’atyi:
“Oyagala kutta nsolo eno emirundi emingi? Lwaki tewawagadde ekiso kyo nga tonnagigalamiza wansi?” (Haakimu, IV, 257, 260 / 7570).
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) era yasonyiwa abantu abaamukolako ebikolobero, wadde nga yalina obusobozi n’amaanyi okubabonereza. Teyabaatuukiriza olw’ebikolobero bye baakola wadde n’ekigambo ekimu bwe kityi oba okuyisiza mu lugero. Kino Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) teyakikola olw’ensonga nti teyayagala muntu yenna kulumizibwa, ne bwe yabanga mukkiriza oba nga ssi mukkiriza, era abantu abalala yabeeyisizangako mu nneeyisa ennungi n’empisa ez’ettendo. Bwe yanunula Makka nga tayiye musaayi, abantu abaali abalabe be okumala emyaka amakumi abiri mu ogumu (21) beekunngaanya wamu ne balinda ekibonerezo kye yali agenda okubasalira. Naye yabagamba bw’atyi:
“Abange Abakulayishi! Mulowooza kiki kye nngenda okubakola kati?” Baamuddamu nti:
“Olw’okusuubira nti ogenda kukola bulungi era oli mugabi, tugamba nti ‘Ogenda kukola kirungi.’ Oli muganda waffe omugabi, ate oli mutabani wa muganda waffe era omugabi!” Mu kubaddamu, Omubaka (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kubagamba nti:
“Nga Ow’ekitiibwa Yusuf (Yozefu) bwe yagamba baganda be (nange mbagamba) nti ‘Olwaleero temugenda kunenyezebwa. Allah ajja kubasonyiwa, era Ye ye Musaasizi ennyo okusinga abo abalaga okusaasira!’[2] Kati muyinza okugenda muli bate (baddembe).” (Laba Ibn Hisaamu, IV, 32; Waaqidi, II, 835; Ibn Sa’ad, II, 142 – 143)
Olunaku olwo lwe lumu yasonyiwa Hindu, omukyala eyagaaya, mu busungu, ekibumba kya taata wa Nnabbi omuto ow’ekitiibwa Hamuza eyali attiddwa mu lutalo lw’e Uhudi. Olaba ne Habbaar bin As’wad, eyavaako okufa kw’ow’ekitiibwa Zayinabu, muwala wa Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) naye yafuna omugabo gwe mu kisonyiwo kya Nnabbi kye yawa, ng’abalala bangi nabo bwe baasonyiyibwa.[3]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yali muntu mwetowaze ekisusse. Ku lunaku lw’okuwangula Makka yali abalibwa ng’omuntu eyali asinga amaanyi mu maaso g’abantu, naye yalagira bw’atyi omuntu eyajja mu maaso ge ng’akankana bwe yali ng’ayogera naye:
“Kkakkana! Nze siri Kabaka oba Omufuzi. Nze ndi mutabani wa mukazi okuva mu Bakulayishi eyalyanga ennyama ey’omukalo (eyanikiddwa n’ekalira mu musana).” (Ibn Maajah, Atw’imah [Ebiriibwa], 30; Haakim, III, 50 / 4366).
Yalagiranga Basswahaba be nti: “Mbasaba mumpitenga ‘Omuddu era omubaka wa Allah’.”[4]
Mu kwogera okulangirira okukkiriza obwannabbi bwe, yalemeranga ku ky’okugattako ekigambo ‘abduhu’ (ekitegeeza ‘omuddu wa Allah’). Era eno ye ngeri gye yakuumangamu ekibiina kye obutamuyita Katonda oba okuwa omuntu yenna ekitiibwa ky’obwakatonda. Ku nsonga eno yagambanga bw’atyi:
“Temunsukkulumyanga ku ddaala kumpisa we nsaanira kukoma! Nga Allah tannanfuula mubaka we, yasooka kunfuula muddu we.” (Haytham, IX, 21)
Ye Abu Umaama (Allah amusiime) yagamba nti:
“Okwogera kwa Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwonna kwabeeranga kwekuusa ku Kulaane (ng’ayogera ku Kulaane n’aginyonnyola). Yasomanga nnyo amannya ga Allah. Teyeetabanga mu mboozi ezitalina makulu. Okubuulira kwe yakuyimpawayanga ate esswala n’agiwanvuya. Teyasibangamu okutambula ne nnamwandu oba omwavu omunaku asobole okumuyamba mu mirimu gye era teyali mwewulize n’akamu.” (Laba Haythamu, IX, 20; Nisaa-i, Jumuah [Esswala y’okulw’okutaano], 31).
Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yali kyakulabirako mu kubeera ow’ekisa, obukwatampola, ne mu bwetowaze n’okulabika obulungi. Yalagiranga nti ebyambalo bibeere mu mbeera nnungi, era teyagumiikirizanga nziina, n’enviiri oba birevu ebisasamadde. Teyayatulanga bigambo bibi oba bitaliimu kawoowo abantu bye baateranga okukozesa. Yagamba nti:
“Ku Lunaku lw’okulamula, ku mizaane y’omukkiriza tekujja kubeerako kintu kizito kwenkana mpisa nnungi. Allah Owaamaanyi atamwa omuntu atambuza amalala oba ayogera ebigambo ebibi.” (Tirmidhi, Birr [Okuyisa Obulungi], 62 / 2002).
Bwe baamugambayo omuntu eyayogeranga ebigambo ebitakkirizibwa, teyagambanga nti: “Lwaki gundi ayogera bw’atyi ne bw’atyi?” Wabula yakiyitanga wala ng’agamba nti: “Lwaki kiri bwe kityi nti abantu abamu bagamba bwe batyi.”
Amateeka agatumbula ekifo ky’omukyala gaatekebwawo ebiragiro bya Allah ne Omubaka we. Abakazi baafuuka eky’okulabirako mu mpisa, obuteemanya n’obwetoowaze. Ekifo ky’obwamaama kyafuna ekitiibwa. N’ekigambo kya Annabbi kye yagamba nti: ‘Weereza maama wo kubanga Ejjana eri wansi wa bigere bya bamaama,”[5] bamaama baateekebwa ku mwanjo. Nga maama w’abakkiriza Ayisa bw’akyogera, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) teyeetabaako mu bikolwa eby’obukambwe eby’owaka, oba okukuba omuntu n’omukono gwe mu bulamu bwe bwonna.[6] So nga era Allah agamba nti “…muwangaale nabo bulungi …” (Nisaa-i [Abakazi], 4 : 19)
Mukama waffe Nnabbi yali mugabi ekisusse. Omu ku bantu abaatiikirivu mu Bamusinzabibumbe b’e Makka, Swafwaan bin Umayya, yali ne Mukama waffe mu ntabaalo olw’e Hunayn n’olw’e Twaifa wadde nga yali tannasiramuka. Bwe baali bakebera eminyago gy’olutalo mu Ji’ranah, Omubaka wa Allah (okussasira n’emirembe bibeere ku ye) kwe kulaba nga Swafwaan yeekaliriza ensolo nga zimumazeemu. Omubaka kwe kumubuuza nti:
“Ky’olaba okyagala?” Swafwaan bwe yagamba nti yee Nnabi kwe kumugamba nti: “Zitwale, zonna zizo!” Swafwaan yalemererwa okwefuga kwe kugamba nti:
“Tewali mutima okuggyako ogwa Nnabbi oguyinza okubeera omugabi bwe gutyo!” Yalangirira obukkiriza bwe n’afuuka Omusiraamu.[7] Bwe yaddayo ewaabwe mu b’ekika kye yabagamba bw’atyi:
“Ba kika! (Mudduke) musiramuke. Muhammadi ayolesa ekisa ekitabangawo n’okugaba.” (Muslim, Fadhwail [Ebirungi], III, 107 -108).
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yafa nga munaana (8) omwezi ogw’omukaaga (June, omwaka 632 CE, mu mwezi gwa Rabbil Awwal (Rabiiul awwal) ku lw’okusooka.
Emyaka kkumi gyokka ng’amaze okugenda e Madiina ng’omusenze, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yateekawo obufuzi bumu mu Buwalabu yonna okuviira ddala e Oman okutuuka ku Nnyanja Emmyufu (Red Sea) n’okuva mu maserengeta ga Syria okutuuka e Yaman (Yemen). Obumu bwa Buwalabu bw’atekebwawo nga gwe mulundi ogwasookera ddala mu byafaayo. Kakensa Omufalansa atendereza amaanyi g’amagezi Ow’ekitiibwa Nnabbi ge yalina nga kino akyesigamiza ku ddimu lye yali alina okutuukiriza:
“Bwe buba ng’obunene bw’ekigendererwa, obufunda bw’amakubo agaba ag’okuyitibwamu okutuukiriza ekigendererwa ekyo, n’obunene bw’ebibala ebivaamu, nga bye bintu ebisatu okupimirwa amagezi g’omuntu, ani ayinza okwetantala okugerageranya abantu abasingira ddala obunene mu byafaayo eby’omulembe guno ne Muhammadi!”[8]
[1]. Vâkidî (Waaqidi), II, 804.
[2]. Yusuf (Joseph – Yozefu), 12 : 92.
[3]. Muslim, Akdiye (Aqdhwiya – Ebisolo ebisalibwanga saddaaka), 9; Vâkidî (Waaqidi), II, 857.
[4]. Bukhari, Anbiyaa (Bannabbi), 48.
[5]. Nasaa-i, Jihaadi (Okulwana mu kkubo lya Allah), 6; Ahmada bin Hanbal, III, 429.
[6]. Ibn Maajah, Nikaah (Obufumbo oba Okuwoowa), 51.
[7]. Vâkidî (Waaqidi), II, 854 – 855.
[8]. A. de Lamartine, Histoire de la Turquie.