6. Obusiraamu Butwala Obwenkanya ng’Ekintu Ekisinga Okubeera Ekirungi

Katonda y’alina obwenkanya obujjuvu era talina ky’akola mu kwekubiira. Erimu ku mannya ge amalungi lye al-Adl, ekitegeeza nti alina obwenkanya obujjuvu.[1] Olw’ensonga eyo, naffe, abaddu be, atusuubira okulaga obwenkanya obujjuvu wamu n’okukola obulungi. Allah agamba mu Kulaane ey’ekitiibwa nti:

Abange mmwe abakkiriza! Muyimirire butengerera ku lwobwenkanya, nga muli abajulizi eri Allah, ne bwe kiba nga kikutte ku mmwe mwennyini oba ku bakadde bammwe oba ku boluganda lwammwe…” (An-Nisaa [abakyala], 4 : 135)

Obusiraamu bulagira okubeera abenkanya ne bwe kiba kiri ku balabe:

Abange mmwe abakkiriza! Munywerere ku lwa Allah ngabajulizi mu kukola obwenkanya era temukkiriza okukyawa abalala kwe babalinako okubawugula ne mukola obukyamu era ne muva ku bwenkanya. Mubeere benkanya: ekyo kye kiri okumpi nokukola obulungi (okutya Allah)…” (Maa-idah [Emmeeza], 5 : 8)

Mukama waffe Omubaka wa Allah yawa (Abasiraamu) amagezi okubeera abenkanya kye kimu omuntu ali mu busungu oba ali mu mirembe, era n’alagaanyisa empeera ennyingi eri abo abafuna ekitendo ekyo.[2]

Obutakkiriziganya obukulu mu Busiraamu buli wakati w’abo abatulugunya oba abayamba mu kutulugunya n’abo abenkanya era abawagira obwenkanya.

Kulaane entukuvu egamba nti, Tewabeera bulabe okuggyako kwabo abalyazaamaanyi.[3] Kisoboka eri Abasiraamu okuwangaalira mu bantu nga mulimu oyo awa ekitiibwa eddembe ly’obuntu kye kimu ng’omuntu oyo Musiraamu oba nedda. Wabula, singa Omusiraamu anyigiriza era n’atawa kitiibwa ddembe lya buntu, kiba kikakata ku Basiraamu okumulwanyisa. Olw’ensonga eyo, ku ludda lw’empangaala y’abantu okutwalira awamu, ekisalawo wakati wa “ffe” na “bo” kwe kunyigiriza oba obwenkanya.[4]

Olw’ensonga eno, amawanga g’Abasiraamu gassa ebirowoozo ku bwenkanya. Ekifaananyi kye tuyinza okuleeta kye kino. Abasiraamu batwala ekibuga ky’e Hims mu Syria. Okuva lwe baalina omulimo gw’okukuuma abantu baamu baabajjangako omusolo omutonotono. Mu kiseera ekyo, Heraclius Kabaka wa Byzantium yakulembera eggye eddene okulumba Abasiraamu mu Yarmuuk. Abasiraamu bwe baamanya nti eggye eribalumbye ddene nnyo kyabatiisaamu nga balaba bayinza obutasobola kwennganga mulabe. Baasalawo okuzzaayo omusolo gwe baali bajje ku bantu b’e Hims nga bwe bagamba nti: “Okuva lwe tuli mu bulumbaganyi tetulina bikola bimala okubalwanirira n’okubakuuma. Kati muli baddembe okweyisa nga bwe mwagala n’okukola nga bwe muba musazeewo.” Wabula abantu b’e Hims baabaddamu bwe batyi:

“Tulayira mu Katonda nti obufuzi bwammwe n’obwenkanya busingira wala nnyo embeera ey’obuyinike, okuyigganyizibwa n’okutulugunyizibwa gye twalimu. Tujja kulwanyisa Heraclius tulwanirire ekibuga nga tuli wansi w’obufuzi bwammwe.” Abayawudi nabo baagamba bwe batyi: “Tulayira nga tukozesa Tawuraati (Torah) nti gavana wa Heraclius tasobola kuyingira kibuga kino eky’e Hims okuggyako ng’amaze kutuwangula na kwonoona bintu byaffe.” Nga bayita mu kuggalawo emiryango gy’ekibuga balwanyisa omulabe ne bamuwangula. Abagoberezi ba Kristo oba Abayawudi ab’ebibuga ebirala nabo baakola ekintu kye kimu nga bwe bagamba nti: “Abalooma n’abo ababagoberera bwe bawangula Abasiraamu, tujja kuddayo mu mirembe gye twavaamu egy’okunyigirizibwa n’okutulugunyizibwa era tujja kufuna obuzibu bwa maanyi nnyo. Abasiraamu tubaagaliza buwanguzi mu lutalo luno era tujja kuyambagana nabo okusinziira ku ndagaano ze twakola nabo.”

Allah bwe yasalawo Abalooma ne bawangulwa, Abasiraamu ne bawangula, abantu baggulirawo Abasiraamu emiryango gy’ebibuga byabwe ne basaala okulaga essanyu lye baali bafunye, era ne basasula n’emisolo gyabwe.[5]



[1].     Tirmidhi, Deavât (Daawaat – Ebisabibwa), 82 / 3507.

 

[2].     Heysemî (Haythami), I, 90; Nuaym, Hilye (Hilya), II, 343; VI, 268 -9.

 

[3].     Al Baqara (The Cow – Ente), 2 : 192.

 

[4].     Pulofeesa Dr. Recep Şentürk, Insan Haklari ve Islâm (Human Rights and Islam – Obusiraamu n’eddembe ly’obuntu), olup. 22.

 

[5].     Belâzurî, Fütûhu’l büldân (Futuuhul buldaan – Okununula Ebibuga), Beirut 1987, olup. 187.