3. Okwenda

Okwenda, okw’omuntu omufumbo n’okwoyo atali mufumbo, bulijjo kuzze kulabibwa ng’empisa enkyamu era ezitatuukana na mbeera za bantu, n’endowooza z’abantu, empisa zaabwe, mu mateeka, ne mu ddiini zonna ezaava eri Katonda. Okwenda kuleetera omusaayi okwetabika n’amaka okusasika, kuvaako okuggwaawo kw’enkolagana mu be nnganda, baliraanwa, n’ab’emikwano era ne kutaataaganya emirandira gy’ebintu eby’omwoyo n’empisa abantu bye bassaamu ennyo ekitiibwa era nga babitwala nga bikulu. Enneeyisa ey’ekika ekyo, efuula abantu abaddu b’ebyo emibiri gyabwe bye gyegomba, ne bakkakkanya ekitiibwa kyabwe.

Okwenda era kulina ebintu bingi ebibi bye kutuusa ku bikwata ku bulamu. Abantu abeetaba mu bwenzi be basinga okukwatibwa endwadde ezisiigibwa nga ziva mu kwegatta kw’omwami n’omukyala (STDs), okugeza nga kabotongo n’obulwadde bw’abazira (enziku). Obulwadde bwa siliimu (AIDS) obw’omutawaana, obukyalemeddwa okuvumulwa eddagala eririwo, ebiseera ebisinga busaasaana na kwegatta okutagoberera mateeka.

Allah Owoobuyinza, Oyo ayagala ennyo abaddu be, tayagala bagwe mu katyabaga akenkanidde awo. Olw’ensonga eyo, ky’ava yatugaana n’okusemberera obusemberezi obwenzi, ng’ovudde ku kwenyigira mu kikolwa kyennyini. Yagamba nti:

“… temusembereranga bikolwa bya mbyone, kye kimu bya mu lwatu oba bya mu nkukutu; temuttanga, ekintu Allah kye yafuula ekitukuvu okuggyako mu kkubo lyobwenkanya namateeka: bwatyo (Allah) bwalagira, mulyoke muyige ensonga. (An’aamu [Ebisolo Ebirundwa], 6 : 151)

Temusembereranga obwenzi kubanga kikolwa kya kivve era kkubo bbi nnyo (eriggulawo ebibi ebirala). (Israa [Olugendo lw’ekiro], 17 : 32)

Kino kitegeeza nti omuntu ateekeddwa okwewala ekkubo lyonna eriyinza okumuviirako okwenda. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ayogera ku bizibu ebiyinza okutuuka ku mutima nga biva mu kumala geekaliriza (abakazi):

Okwekaliriza ekintu kye baakuziyiza kimu ku busaale obwobutwa Sitaane bwekozesa. Oyo yenna akuvaako olwokutya Allah (nokumussaamu ekitiibwa), Allah amuwa obukkiriza obuwoomu bwaba ajja okuwulira mu mutima gwe. (Haakim, IV, 349 / 7875; Haythami, VIII, 63).

Olw’ensonga eyo, Obusiraamu butwala amakubo ag’okutangira ekikolwa ekyo obutagwawo okugeza abasajja n’abakazi okwambala mu ngeri eddiini gy’eragira, okulagira okwekuumira ewala n’enneeyisa eziyinza okuviirako omuntu okussa omwoyo ku munne okutalina mugaso, okuziyiza abasajja n’abakazi okweyawula bokka ne babeera mu kifo abalala we batabalabira kasita baba nga mu mateeka bantu ba bbali (tebaziranngana), n’okuziyiza okwegadanga mu ngeri emenya amateeka. Eno ye nsonga lwaki ebigambo, okutunula oba enkolagana ey’omu nda ebiyinza okuwugula ebirowoozo by’abantu kubiraza mu makubo agatali malungi byavumirirwa ng’ebikolwa ebitema ekkubo ery’obwenzi. Obusiraamu tebukoma ku bino byokka naye buwa obuvunaanyizibwa amaka ng’amaka n’abantu b’ekitundu okutwalira awamu, okugunjula abaana, obutawanvuya myaka gya kufumbirirwako okuggyako nga tekyebeereka, okuwewula okufumbiriganwa, n’okukuuma eddiini n’empisa nga bitwalibwa ng’ekikulu era eky’omuwendo mu bantu b’ekitundu.

Nga bwe kiyinza okutegeerekeka mu biragiro ebyo, ekigendererwa ky’Obusiraamu ssi kubonereza asingiddwa omusango wabula okubeera n’abantu nga bawangaalira mu mirembe n’obutebenkevu nga buyita mu kuziyiza embeera esikiriza obumenyi bw’amateeka okwegiriisiza mu bitundu by’abantu. Mu butuufu, ekibonerezo ky’obwezi emirundu mitono nnyo gye kyalabibwako mu byafaayo by’Obusiraamu.

Okwongereza ku mazambi ge tumenye waggulu, Obusiraamu bugaanira ddala amazambi gano amanene: Okutta, okukola eddogo, okunyigiriza, okutuntuza abazadde, okulimba, okulya mu nsi olukwe, okugeya (okwogera ku muntu nga taliiwo ekintu mu ngeri omuntu oyo gy’atandiyagadde oba etandimusanyusizza singa abadde w’ali), okukozesa obubi ebintu bya mulekwa oba eby’obugagga bye, okukonjera, okubba, n’okuzannya zzaala.[1]



[1].     Bukhari, Shahaadah (Okwatula Okukkiriza Allah ne Omubaka we), 10; Waswayaa (Ebiraamo), 23; Muslim, Birr (Okuyisa obulungi), 55, 56; Abu Dawuda, Adab (Empisa), 35 / 4875; Ahmada, III, 154, 135. Ebisingako awo bisange mu kitabo kya Murat Kaya, Efendimiz’den Hayat Ölçüleri (Criteria for Life from oue master the Prophet – Ebipima obulamu okuva ku mukama waffe Nnabbi), Istanbul 2007, olup. 308 – 458.