Katonda Owoobuyinza agamba nti yateeka mu butonde buli kintu abantu basobole okuganyulwa mu bintu ebyo. Okubeera abeebaza obulungi ekyengera kino Allah kye yatukolera, tuteekeddwa okukwata obutonde bwaffe ng’ekyatika nga tutegeera obwesige bwe tulina okubulabirira obulungi. Obutawa butonde kitiibwa oba okubwonoona oba okubugayaalirira, kiraga engeri gye tuli abateebaza era okwonoona okugenda okututuusaako obulumi mu biseera eby’omu maaso. Allah Owoobuyinza agamba nti:
“Obwonoonefu buzuuse ku lukalu ne mu nnyanja olw’ebyo emikono gy’abantu bye gyapakasa Allah abawe okuloza ku bintu bye baakola, balyoke bave mu bukyamu.” (Ruum [Abalooma], 30 : 41)
Mu butuufu Katonda Owoobuyinza mu kusooka yalagira nti: “Ne ggulu yaliwanika, n’ateekawo ne mizaane (ey’obwenkanya), muleme kubuuka nsalo ku mizaane.”[1] Wabula obuntu tebwagondera kiragiro era kati basasula ebbeeyi (y’okugyema). Ng’alaga ekifaananyi ky’eddembe n’obulungi mu mutima gwe, Omusiraamu ayisa bulungi abantu banne, ebisolo, ebimera n’ebintu ebitalina bulamu. Abeera mwegendereza obutalumya kintu kyonna. Olunaku lumu abaziisi baali bayisaawo omulambo Mukama waffe Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’agamba nti:
“Oba awummudde oba abalala bamuwummudde.” Basswahaba kwe kubuuza nti:
“Omubaka wa Allah, kiki ky’obadde otegeeza bw’ogambye nti: ‘oba afunye okuwummula oba abalala bamuwummudde?’ Omubaka wa Allah (SAAW) yabaddamu nti:
“Omukkiriza bw’afa, aba awonye okukoowa n’okweraliikirira eby’omu nsi era aba afunye okusaasira kwa Allah. Omwonoonyi, oba omuntu omukyamu bw’afa, abantu, ettaka, emiti, n’ensolo biba bimuwonye era ne bifuna ku buweerero.” (Bukhari, Riqaaq, 42; Nisaa-i, Janaaiz, 48; Ahmad, V, 296, 302, 304).
Abantu balina okwewala ebintu ebiyinza okutawaanya abalala buli wantu na mu buli mbeera. Okwonoona obutonde bw’ettaka, amazzi, ebbanga, n’eddembe mu kibuga, obubuga obutono, n’ebyalo mwe tuwangaalira kikolwa ekitatuukana na kitiibwa kya muntu. Ekikolwa eky’ekika kino kitegeeza butabalirira bantu balala na buteebalirira.
Abasiraamu balina okuyigirizibwa nti abantu abalala bayinza okuyisibwa obubi era nti n’obulungi bw’obutonde buba bujja kwonoonebwa, nga kino kiva ku bintu bye bagenda basuulasuula. Bakitwala ng’ekyetaagisa olw’okubeera omukkiriza owannamaddala okwewala okusuula ebikuta bye nsigo n’ebinyeebwa oluvannyuma lw’okubiryamu, amacupa, emikebe, ebisabika, n’ebintu ebirala ebitawaanya abantu n’ebisolo, (okubisuula) mu nguudo, amakubo, ne mu bifo abantu we bakolera obubaga n’emikolo. Mukama waffe Nnabbi yatwalanga okuggya ebintu ebiyinza okulumya abantu okugeza ettabi ly’omuti oba eriggwa eriyinza okufumita abayitawo, ng’ekimu ku ku bitundu ebikola obukkiriza,[2] era n’atubuulira nti Allah tayagala bantu abo bataataaganya balala. Mawaazi bin Anasi (Allah amusiime) anyumya nti:
“Nnali ne Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) mu ggye eryali ligenda okutabaala, abalwanyi ne bafunza ekitundu mwe baateeka weema ne batuuka n’okuziba ekkubo. Ku kino Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) kwe kutuma omulangirizi eyagamba abalwanyi ebigambo bino wammanga nti:
“Omuntu afundiriza omulala oba n’aziba ekkubo (oba n’atawaanya omukkiriza), omuntu oyo aba tajja kufuna mpeera n’emu mu jihaadi (okulwana kw’aba akola mu kkubo lya Allah).” (Abu Dawuda, Jihaadi [Okulwana mu kkubo lya Allah], 88 / 2629; Ahmada, III, 441)
Wano, Mukama waffe Ow’ekitiibwa Nnabbi yalangirira nti kikyamu nnyo okuziba ekkubo erituuka mu bifo oba enguudo awatali nsonga ya maanyi oba omuntu kino okukikola olw’okutawaanya abaddu ba Allah olw’ensonga yonna, era nti abo abakola bwe batyo empeera zaabwe Katonda ze yandibawadde bazifiirwa.
Olw’ensonga eno, omuntu ateekeddwa okwewala okukola ekintu kyonna ekitawaanya abantu okugeza ng’okumala gasuula bintu buli w’asanze, okuwandula (okufujja) mu bifo ebya lukale, okussa motoka buli w’asanze, oba okuteeka ebintu mu kkubo ekirifuula ezzibu okuyitamu. Abasiraamu tebakoma ku kya kussa mwoyo ku ky’obutatawaanya bintu biramu byokka, wabula n’ebintu ebirala nabyo baabiyisa ng’ebitonde bya Allah. Omuwandiisi omututumufu Omufalansa Montaigne yakyasanguza nti “Abasiraamu Abatuluuki batuuka n’okuzimba ebibiina by’obwannakyewa n’amalwaliro eby’ebisolo.” Guer, looya Omufalansa eyalambula Obwakabaka bwa Ba-Ottoman mu kyasa eky’ekkumi n’omusanvu (17), ayogera ku malwaliro ge yalaba mu Damascus agaali ag’okujjambiramu kkapa endwadde n’embwa. Ku ky’ebibiina eby’obwannakyewa eby’engeri eno, Pulofeesa Dokita Sibaa-i atubuulira bw’atyi:
“Mu nkola eyaliwo ey’ebibiina eby’obwannakyewa, waaliyo ebifo nga byo byali bitegekeddwa kujjanjaba na kuliisa bisolo ebirwadde. Ennimiro Eyaakiragala (olwaleero gye bayita ennimoro y’ekibuga mu Damascus) yali nnimiro ya kiragala eyaweebwayo okuliisa ebisolo ebyeyambisibwanga mu kukola emirimo bannyinibyo bye baabanga basudde bwe byabanga tebikyalina maanyi gakola oba geetikka. Ebisolo bye taayaayizanga mu nnimiro eno ne byenoonyeza eky’okulya okutuusa lwe byafanga. Mu Bibiina eby’e Damascus waabeerangayo ebifo kkapa mwe zaaliranga, ne ziwummula, era mwe zeetayaayizanga. Ebifo bino byakunngaanyanga kkapa nnyingi ddala nga ekifo ekimu kyasobolanga okuweza kkapa ezisukka mu bikumi n’ebikumu buli lunaku ezitaafunanga mutawaana kufuna kya kulya ekya buli lunaku.”
Eddiini y’Obusiraamu essa bw’etyi essira ku biramu, kiba kya mu butonde nti emiti n’ebifo ebya kiragala ebirabirira bulungi n’okufaayo kwonna. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagamba bw’atyi:
“Olunaku lw’okuzikirira ne bwe luliba lutuuse naye ng’omu mummwe alina ensigo mu mukono gwe, bw’aba asobodde agisige ng’enkomerero y’ensi tennaba kutuuka!” (Ahmada, III, 191, 183)
Abu Dardaa (Allah amusiime) eyali omu ku Basswahaba ba Nnabbi ab’ebitiibwa yali asimba omuti ne wabaawo omuntu eyamutuukirira n’amugamba mu kwewuunya nti:
“Sswahaba wa Nnabbi omulamba osobola okumala ebiseera byo ng’oli mu kusimba omuti?” Abu Dardaa kwe kumuddamu nti:
“Kakkana, nga tonnaba kunnamula amangu ago! Nnawulira Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ng’agamba nti:
“Omuntu bw’asimba omuti ekitonde kyonna ne kimala kilya ku bibala by’omuti ogwo, eno eba nga saddaaka ye gy’akoze.” (Ahmada, VI, 444. Laba ne Muslim, Musaaqaat [Okufukirira Amazzi], 7).
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’era yagamba nti:
“Omuntu oyo yenna atema omuti gwa sidre (ogulina ekisiikirize) (nga talina nsonga etegeerekeka), Allah ajja kusika omutwe gwe omutwale mu Muliro.” (Abu Dawuda, Adab [Empisa], 158 – 159 / 5239)
Mukama waffe Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yagaana abalwanyi okutema emiti, okwonoona ebirime, n’okuyigga bwe yalangirira Madiina ne Twaifa, okwo nga kw’ogasse Makka okubeera ebibuga eby’emizizo (haram).[3] Era ku bikwata ku nnimiro y’ebirime ey’abantu ab’ekika kya Banu Haaritha, yagamba bw’atyi: “Oyo yenna atema omuti okuva mu nnimiro eyo ateekeddwa okuzzaawo omuti omulala (mu kifo ky’ogwo gw’aba atemye!)”[4]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) bw’atyo bwe yayola ekibiina ky’abantu ab’ekisa era abassa ekitiibwa mu bitonde byonna ng’ayita mu kubawa amagezi entakera okukuuma n’okutereeza obutonde bwaffe. Kaliifa eyasooka ow’ekitiibwa Abu Bakari (Allah amusiime), mu kwogera kwe ng’abuulirira eggye eryali ligenda okutabaala naye kino yakiraga bwe yagamba nti:
“Temulya mu ddiini yammwe lukwe, temunyaga eminyago gy’olutalo, temuyisa bantu bubi, temubonyaabonya nga muyita mu kukeculako ebitundu by’abantu ebimu okugeza amatu oba ennyindo; temutta baana bato, abakadde, oba abakazi! Temutema miti gya ntende era temugyokya. Temutema miti egituusizza okussaako ebibala; temusala ndiga, embuzi, ente, ne nngamiya okuggyako ebyo bye mugenda okulya! Mujja kusanga abantu abeggalidde mu bigo byabwe nga beemalidde ku mulimu gwa kusinza abo temubatawaanya mubaleke bagende mu maaso n’okusinza kwabwe…”[5]
Comte de Bonneval yalaba obwegendereza Abasiraamu bwe baalina kwe kugamba mu kwewuunya nti, “Osobola n’okulaba Abatuluuki mu Bwakabaka bwa Ba-Ottoman ekintu kino abaakitwala ewala nga bagaana emiti egitabalako bibala okusaanawo olw’ekyeya nga bayita mu kuwaayo ssente n’okukozesa abantu bagifukirire buli lunaku.”
[1]. Ar Rahmaan (Omusaasizi ow’okusaasira okubuna), 55 : 7 – 8
[2]. Muslim, Imaan (Obukkiriza), 58.
[3]. Abu Dawuda, Manaasiku (Emikolo), 96; M. Hamidullah, Islam Peygamberi (Prophet of Islam – Nnabbi w’Obusiraamu), Istanbul 2003, I, 500; a.mif., el-Vesâik (al-Wathaiq – Ebiwandiiko), Beirut 1969, olp. 236 – 238, 240; Ali Riza Temel, “Islam’a Göre Insan Çevre Ilişkisi” (The Relationship between Man and Environment according to Islam – Enkolagana wakati w’Obusiraamu n’embeera y’obutonde okusinziira ku Busiraamu), Insan ve Cevre (Man and Environment – Omuntu n’obutonde) olup. 77
[4]. Belâzurî, Fütûhu’l büldân (Futuuhul buldaan – Okununula Ebibuga), Beirut 1987, olup. 17; Ibrahiim Canan, Islam ve Çevre Sağliği (Islam and Environmental Health – Obusiraamu n’obulamu bw’obutonde) Istanbul 1987, olup. 59 – 60.
[5]. Beyhakî (Bayhaqi), es-Sünenü’l-kübra (al Sunanu’l Kubraa), IX, 85; Ali el-Müttakî (al Muttaqii), Kenzu, namba 30268; Ibnü’l-Esîr (Ibn al Athiiri), al Kaamilu, Beirut 1987, II, 200.