Okubonyaabonya n’okukijjanya Abasiraamu okuva mu Bamusinzabibumbe bwe byatuuka wekiseera bitakyagumiikirizika, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yalagira Basswahaba be okusenguka mu kyama. Bamusinzabibumbe, abaakimanyaako, baatandika okukola olukwe olw’okutemula mukama waffe Nnabbi eyali asigadde yekka (mu Makka ng’Abasiraamu abalala basenguse). Baalonda omuvubuka omu okuva mu buli kika era nga bano baali baakulumba omulundi gumu bonna bamuttire wamu mu kiseera kye kimu. Olwo nno, abooluganda lwa Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) bwe bandiyagadde okuwolera eggwanga obwanga bandibadde baakubwolekeza bika byonna. Mu kiseera ekyo Allah Owoobuyinza yalagira mukama waffe Nnabbi okusenguka. Omubaka wa Allah yayita ow’ekitiibwa Ali (Allah amusiime) n’amuleka amukiikire addize abantu abaali bamuteresezza ebintu ebiterese byabwe. Nga bwe twakyogeddeko buli muntu eyalina ekintu eky’omuwendo yakikwasanga Nnabbi akimuterekere engeri gye baali bamanyi okutuukiriza kwe n’obwesigwa bwe yalina.[1]
Ekiro ekyo Bamusinzabibumbe abaali ab’okutemula beetooloola ennyumba naye otulo ne tubakwata. Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’abamansira ettaka era n’abayitako mpolampola nga bw’asoma aya ezisooka eza ssuula ya Yaasiin okuva mu Kulaane. Tewali n’omu ku bo eyasobola okumulaba.
Bw’atyo Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) bwe yasenguka okugenda e Madiina oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’esatu (13) ng’ali mu kulafuubana okulunngamya abantu eri ekkubo eggolokofu. Abasiraamu b’e Madiina, Ba-ansaari, yabafuula ba luganda n’abasenguka okuva e Makka, Bamuhaajiruuna. Ba-ansaari baggulawo enzigi zaabwe eri baganda baabwe Bamuhaajiruuna, nga bwe bagamba nti: “Bino bye bintu byange bye nnina, ekitundu ku byo kikyo!” Mu kwanukula, Bamuhaajiruuna emitima gyabwe egyali gimaze okukyuka ne gifuna amawanika ag’okumatira baalaga okukula ne bagamba nti: “Katonda asse emikisa mu bintu byo. Muganda wange! Kimmala singa ondaze ekkubo erituuka mu katale.”[2]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yateekateeka amateeka amakulu (ssemateeka) agaalambika obuvunaanyizibwa n’eddembe lya buli omu mu ggwanga ly’Obusiraamu eppya agaali gakwata ku Bamuhaajiruuna, Ba-ansaari, n’Abayawudi abaali basula mu Madiina mu biseera ebyo. Ono ye yali ssemateeka eyasooka okuwandiikibwa mu byafaayo by’ensi eno.[3]
Entalo ezaalwanibwa mu biseera ebyasooka mu byafaayo by’Obusiraamu zaava ku bulabe Bamusinzabibumbe abamu bwe baalaga Abasiraamu, era n’okumenya olutatadde endagaano ze baali bakola ne mukama waffe Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye). Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye), eyatumwa ng’eky’okusaasira eri ensi zonna, yagoberera enkola eyo mu ntabaalo ze zonna ng’era, wadde gye byaggweera ng’anunudde ekizinga kya Buwalabu kyonna, naye teyakkiriza musaayi kumala gayiika kyeyagalire okuva mu bantu ab’ebiwayi eby’enjawulo. Yasinganga kwagala ebintu okusooka okubiyisanga mu kuteesa n’okukola endagaano.
Mukama waffe Nnabbi ye kennyini yeetaba mu ntabaalo amakumi abiri mu mwenda (29). Mu ntabaalo kkumi na mukaaga mwali temuli kulwanagana era ng’ebintu biggweera mu ndagaano ze yakolanga n’ab’oludda olulala. Mu ntabaalo ekkumi n’essatu (13) endala, yali alina kwetaba mu kulwana. Abasiraamu abawerera ddala kikumi mu ana (140) be baafuuka abajulizi (abattibwa) ate abantu abaawera ebikumi bisatu mu asatu mu bataano (335) be battibwa okuva ku njuyi ndala.[4]
Ekigendererwa ekikulu eky’entalo z’Obusiraamu ssi kutta bantu, kunyaga bya bugagga bya lutalo (minyago), kwonoona nsi, kuganyulwa ng’abantu, kufuna migaso egy’obuntu oba kuwooleraggwanga. Ekigendererwa kwe kuggyawo effugabbi n’okunyigiriza, okuteekawo eddembe ly’okusinza, okukulembera abantu okubazza ku kkubo eggolokofu (ettuufu) n’okuggyawo obulyazaamaanyi obw’engeri yonna.
[1]. Ibn-i Hishâm (Ibn Hishaamu), II, 95, 98.
[2]. Bukhari, Büyû(Okugulaanya), 1.
[3]. M. Hamîdullah, The First Written Constitution in the World (Ssemateeka eyasooka okuwandiikibwa mu nsi), Lahore.
[4]. Laba Pulofeesa Dr. M. Hamidullah, Hz. Peygamber’in Savaşlari (The Battles of HE Prophet – Entalo z’Ow’ekitiibwa Nnabbi), Istanbul 1991; Dr. Elşad Muhamudov, Sebep ve Sonuçlari Itibâriyle Hazret-I Peygamber’in Savaşlari (The Battles of HE Prophet in terms of their Reasons and Results (Entalo Ow’ekitiibwa Nnabbi ze yalwana okututunuulira ensonga eyazireeta ne ngeri gye zaggwangamu), 2005, M.U.S.B.E. Basilmamis Doktora Tezi (Marmara University, Unpublished Doctoral Dissertation).