Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yawa ensi eno omukisa mu Makka ey’ekitiibwa mu mwaka gwa 571 emyaka egya bulijjo, ku nkya y’olunaku olw’ekkumi n’ebbiri (12) mu mwezi gw’ekisiraamu (ogugoberera kalenda ey’omwezi) ogwa Rabbil Awwalu (Rabbilawwal), ku lunaku olw’okusooka olukwatagana n’olwa April nga abiri (20). Ava mu kika kya Kulayishi ku njuyi zombi olwa taata n’olwa maama.
Obuto n’obuvubuka bwa Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) byayitawo mu butukuvu n’empisa ezeegombesa bino byalaga nga bwe yali agwanira ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Yalundako okumala akaseera. Bwe yamala ne yeetabako mu busuubuzi.[1] Yayatiikirira nnyo olw’obwesimbu n’amazima bye yayolesa mu kusuubula, era n’afuuka assibwamu ekitiibwa era agulumizibwa.
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ye yali asinga mu bantu be okubeera n’empisa, nga y’asinga okuweebwa ekitiibwa olw’olulyo lwe, era nga y’asinga okubeera n’empisa ennungi. Ye yali asinga okussa ekitiibwa mu ddembe lya baliraanwa, eyali asinga okubeera omukkakkamu era atuukiriza, nga y’akulembera mu bwesigwa n’okukuuma ekigambo kye wamu n’ekigambo kye okutwalibwa abalala, era nga yeesamba ebikolwa ebibi wamu n’okulumya abantu abalala. Teyalabwako ng’agugumbula omuntu yenna oba ng’ayomba n’omuntu. Olw’okuba nga Allah yamuwa buli mpisa ennungi era n’amussaamu embeera n’ebitendo ebisuffu, abantu b’ekika kye baamuyitanga erinnya “Muhammadi Al Amiinu” ekitegeeza Muhammadi Omwesigwa. Obwesigwa bwafuuka ekitundu ku linnya lye, okuva ng’awezezza emyaka abiri mw’etaano e Makka, baamuyitanga “al-Amiinu” (Omwesigwa).[2] N’oluvannyuma, Bamusinzabibumbe baamwesiganga ne bamuteresa ebintu byabwe okusinga okubiteresa bannaabwe bwe baagattanga endowooza.
Bwe baali balongoosa Ka’aba abantu baalemwa okukkiriziganya ku ani eyali agenda okufuna ekitiibwa eky’okuzza al-Hajarul As’wadu (Ejjinja Eriddugavu) erya Ka’aba mu kifo we lyali nga tabannaba kulongoosa. Ensonga baazizza ewa Mukama waffe Nnabbi abasalirewo, era nga yaziyiza olutalo ddekabusa okubalukawo olw’okusalawo kwe yakola okwali okw’amagezi ennyo bwe yafuna omuntu omu omu okukiikirira ekika kye n’abalagira okukwata buli omu ensonda y’essuuka okwali kuteereddwa Ejjinja Eriddugavu mu makkati n’okusitulira wamu essuuka, era bwe baalituusa waggulu ye kwe kulikwata n’omukono gwe ogw’ekitiibwa n’aliteeka we lyali liteekeddwa okudda.[3]
Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) bwe yaweza emyaka amakumi abiri mu etaano (25), omukyala ow’ekitiibwa mu Makka yamatira obwesigwa bwe. Ow’ekitiibwa Khadiija, yaleeta ekirowoozo bafumbiriganwe. Yali asingako mukama waffe emyaka kkumi n’etaano era nga yali nnamwandu nga yalina n’abaana. Ow’ekitiibwa Nnabbi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yakkiriza ekirowoozo era ne bakola amaka amatuukirivu agajjudde essanyu n’okutebenkera, era agaali eky’okulabirako eri abantu. Emyaka abiri mw’ena egyasooka mu bufumbo bwabwe egyali mu kiseera eky’obuvubuka bwa Nnabbi era we yabeerera ow’amaanyi, Nnabbi yagimala ne Khadiija (Allah amusiime) yekka nga mukyala we. Mu ngeri y’emu, emyaka gye etaano egyaddako yagimala ne maama w’abakkiriza Sawuda yekka ng’ono naye yali nnamwandu. Obufumbo bwa Nnabbi obwaddako bwonna bwabeeranga buva ku nsonga ezeekuusa ku buntubulamu oba ebigendererwa eby’obufuzi. Singa kyali kituufu, ng’abamu bwe babityebeka, nti ensonga eyawasisa Nnabbi kwali kwagala bakyala, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) teyandisazeewo ebiseera bye eby’obuvuka era we yasinga okubeerera n’amaanyi okubimala ne nnamwandu eyalina abaana ng’ate yali amusinza emyaka kkumi n’etaano miramba.[4]
[1]. Bukhari, Icâre, 2; Abu Dawuda, Edeb (Adab – Empisa), 17, 82; Haakim, III, 200.
[2]. Ibn-i Hişâm (Ibn Hishaam), I, 191; Ibn-I Sa’d, I, 121, 156.
[3]. Ibn-i Hişâm (Ibn Hishaam), I, 209 – 214; Abdürrezzâk (Abdu Razaaq), V, 319.
[4]. Ebisingako awo ebikwata ku nsonga eziri emabega wa mukama waffe Nnabbi okuwasa abakazi bisange mu kitabo kya Osman Nûr TOBAŞ Hazret-i Muhammed Mustafâ (Ow’ekitiibwa Muhammad Omulondemu), Istanbul 2008, I, 130 – 140.