b. Kulaane Ewa Ekitangaala ku Kuvumbula Okwa Saayansi

Mu Kulane ey’ekitiibwa mulimu aya nnyingi ezoogera ku bituukiddwaako mu saayansi n’okuvumbula. Aya zino era zisobola okutwalibwa ng’eziwa amawulire ku bintu ebijja mu maaso. Ekigendererwa ky’Obusiraamu ekikulu kwe kuyingiza mu mitima gy’abantu okukkiriza obw’omu bwa Allah (tawuhiidi) era n’ebeera eky’okulunngamya gye bali eri ekkubo ettuufu. Mu mazima, Kulaane buli kintu ky’ekoonako kiba kigguka ku kigendererwa ekyo ekikulu. Wabula, Kulaane buli ky’eyogera ku ludda lwa saayansi kikola ng’essomo eri obuntu era kiba kikwatagana mu bujjuvu n’ebintu ebituufu ebimanyiddwa ng’ekifaananyi kino wammanga bwe kiraga:

Kulaane ey’ekitiibwa etuwa ebitundutundu eby’ebintu ebikwata ku kuzaala n’okwetondeka kw’ekinyamanyama ekivaamu omwana, ekintu Saayansi owa leero kye yaakasobola okuvumbula.[1] Mu kitabo kye ku bikwata ku Saayansi w’ebinyamanyama (okwetondeka kw’omuntu), oluvannyuma lw’okunnyonnyola emitendera gy’okukula kw’omuntu mu lubuto, Pulofeesa Dr. Keith L. Moore ageraageranya okutonda kw’omuntu mu kitabo kye ne aya za Kulaane ey’ekitiibwa. Amaliriza agamba nti Saayansi akkiriziganya ne Kulaane ey’ekitiibwa, n’okusinga kw’ekyo nti, Kulaane eri mu maaso wa Saayansi w’obusawo mu kunnyonnyola n’ebifaananyi by’ewa. Oluvannyuma lw’okunoonyereza kwe, Moore yawulira okwegomba okungi eri Kulaane n’ow’ekitiibwa Nnabbi (okussasira n’emirembe bibeere ku ye) era n’amatira ekyamagero kya Kulaane ekyava mu myaka lukumu mu bina (1,400) egiyiseewo n’okukkiriza kw’amaanyi. Bye bye yayiga mu Kulaane yabigatta mu kitabo kye ng’akifilumya omulundi ogw’okubiri kye yatuuma “Before We are Born” (Nga tetunnaba kuzaalibwa). Bwe baamubuuza nti:

“Butya bw’oyinza okunnyonnyola okubeera kw’ebintu bino mu Kulaane?” yagamba nti:

“Kulaane eyo teri kirala wabula bubaka obwava eri Allah.”[2]

Mu myaka ssi gya wala, kyavumbulwa nti ensi yali egaziwa ne zi ssengendo buli emu ng’egenda yeesamba ginne waayo ku misinde egya yiriyiri. Okusinziira ku tteeka lino, eriraga nti ensi erina amaanyi agataliiko kkomo, ssengendo zino ennene zeesambagana ku misinde egituukagana n’ebbanga erizaawula. Okugeza, ssengendo eri mu bbanga ery’emyaka gy’ekitangaala obukadde kkumi (10 million) okuva ku nsi, ebeera etambulira ku supiidi ya kilomita ebikumu bibiri mu ataano (250) buli katikitiki, sso ng’ate ssengendo eri mu bbanga er’obuwumbi kkumi (10 billion) obw’emyaka gy’ekitangaala okuva ku nsi ebeera etambula okwawukana n’ensi ne supiidi eyenkanankana kilomita emitwalo amakumi abiri mu etaano (250,000) buli katikitiki.[3] Embeera eno eyogerwako mu Kulaane bw’etyi:

“N’eggulu twalizimba n’amaanyi gaffe. Era mazima ddala Ffe twongera okugaziya ebbanga.” (Dhariyaati [Empewo Ezikunngunta], 51 : 47)

Omutonzi Ow’amaanyi akuuma ensi okuva mu bibajjo by’enjazi ez’emmunyeenye (meteors) eziba zimazeeko obuwangaazi bwazo ne zaabika. Jupita (Jupiter) ne Satane (Saturn), n’okusika kwayo okw’amaanyi ziri mu kifo ng’eky’omukuumi wa geeti ezitakkiriza bipapajjo eby’omu bwengula ebingi ebiyinza okutuusa obulabe ku nsi singa biba bigituuseeko. Naye abakuumi bano tebabikkiriza kuyitawo. Ebiseera ebimu wayinza okubeerawo ebipapajjo ebiyita ku ssengendo zino nga byolekedde ensi. Naye bino era bisanga omukuumi omulala ng’abirindiridde, nga nagwo gwe mwezi. Okuva omwezi lwe gutalina bbanga (mpewo mu bbanga), ebipapajjo by’enjazi ebigwa ku mwezi bibaako ne kye bigukolako – ku ngulu kwagwo. Tusobola okulaba agawonko agaasimibwa ebipapajjo bino ku mwezi ne bwe tukozesa ebyuma ebitangaaza ebitali bya maanyi nnyo. Ebipapajjo ebiyita ku mwezi bitandika okwaka bwe biyingira ebbanga, okuggyako nga bibadde binene nnyo. Ekiva mu mbeera eno, kye tuyita “kibunoomu”, ebipapajjo bikutukakutuka ne bifuuka obuweke obutono obw’enfuufu mu bbanga ne butuuka ku kikuta ekirala (Mesosphere layer) nga tebunnatuuka ku nsi. Oluvannyuma, buli kamu ku buweke bw’enfuufu bufuuka ensigo eyenkana ettondo ly’enkuba mu kigero.[4] Ebbanga era likuuma ensi okuva mu kwokya kw’amagulu g’enjuba agava mu bwengula. Ebintu bino bikoonebwako mu Kulaane nti:

“Eggulu ne tulifuula akasolya akakuumibwa. Naye (awamu n’ekyo) ne bakuba omugongo obubonero bwaffe.” (An’biyaa [Bannabbi], 21 : 32)

Bw’etyo Kulaane ey’ekitiibwa, ku ludda olumu, eyogera ku bintu ebiteekateeka ebikolwa n’enneeyisa y’abantu, ate nga ku ludda olulala, ekoona ku byama by’ensi era n’esaba nti ensi esomebwe ng’ekitabo ebyama mwe biyinza okunoonyerezebwako ne biteekebwa mu musana.

Ebyasa kkumi na bina ebiyise, Kulaane yagamba nti:

“Ne tutuma empewo, nga ziwakisa ne tussa amazzi okuva mu ggulu ne tugabawa ng’eky’okunywa ate nga ssi mmwe mugatereka.” (Hijri, 15 : 22)

Oluvannyuma lw’ebyasa ebingi nga aya eno emaze okukka kyazuulibwa nti empewo eyamba ku kuwakisa ebimera n’ebire.

Mu aya ey’ekkumi n’omwenda (19) n’ey’amakumi abiri (20) mu ssuula Ar-Rahmaani (Omusaasizi Ennyo), waliwo ewagamba nti:

“Yaleka amazzi g’ennyanja ebbiri ne gatambula ne gasisinkana. Wakati waago nga waliwo omuzinzi nga tegasobola kwetabula.” (Rahmaan [Omusaasizi Ennyo], 55 : 19 – 20)

Ebigambo bye bimu bisangibwa mu aya ey’amakumi ataano mw’essatu (53) mu ssuula Furqaan (25).

Mu kuvumbula okukyasembyeyo mu kagga k’e Gibraltar ennyanja ya Mediterranean (Mediterranean Sea) n’eriyanja lya Atlas we zisisinkanira, kyazuulibwa nga waliwo omuzinzi ogutamanyiddwa, n’olutimbe ebigaana amazzi okwetabula. Bwe gatyo amazzi ag’emirundi ebiri agava mu nnyanja ebbiri tegeetabula era buli mazzi gasigaza embeera yaago. Captain Jacques Coustean oluvannyuma yavumbula nti olutimbe olw’amazzi lusangibwa wonna ennyanja zonna we zisisinkanira n’ebintu ebirala.[5]

Kulaane ey’ekitiibwa kyamagero ekisingako n’obunene mu kuba nga by’eyogerako bimatiza obwetaavu bw’emirembe gyonna. Tewali bukendeevu oba butaba na mugaso mu Kulaane ebiyinza okukubwamu ekituli omuntu yenna alina amagezi. Buli kaseera ebeera ewa eby’okukola ku bintu ebiremerera enkola endala ey’amateeka. Okusalawo ku nsonga zonna Kulaane kw’ekola kulimu ensonga nnyingi emabega waakwo, era kwateekawo obutebenkevu mu bantu ne mu by’obufuzi ebyatuuka ku ntikko yaabyo mu kaseera mpaawo kaaga, obutafaanana na bugunjufu bulala bwonna oba nteekateeka ndala zonna. Mu ggwanga omutaali Saayansi oba obugunjufu, nga liyita mu Nnabbi eyali tamanyi kusoma wadde okuwandiika era ataagendako mu ssomero, waabalukawo obutebenkevu obutuukiridde ate mu kaseera akatono ennyo ak’emyaka amakumi abiri mw’esatu (23) obwakyusa empisa n’endowooza mu Kizinga kya Buwalabu kyonna.



[1].     Al-Hajj (The Pilgrimage – Okulamaga olw’e Makka oba Hijja), 22 : 5; Al Mu’minun (The Believers – Abakkiriza), 23 : 11 -13.

 

[2].     Gary Miller, The Amazing Qur’an (Kulaane Eyeekyewuunyo), olup. 34 – 39.

 

[3].     Pulofeesa Dr. Osman Cukmak, Bir Çekirdekti Kâinat (The Universe was a Seed – Ensi yali Mpeke), olup. 28.

 

[4].     Pulofeesa Dr. Osman Cukmak, Bir Cekirdekti Kainat (The Universe was a Seed – Ensi yali Mpeke), olup. 94, 127.

 

[5].     Ebisingako awo ku bikwata ku Kulaane ne Saayansi soma ekitabo kya Dr. Murice Bucaille, La Bible le Coran et la science: les ecritures saintes examinees a la lumiere des connaissances modernes, Paris: Seghers, 1980 (The Bible, the Qur’an and science, trc. Alastair D. Pannell, Karaci, t.y. – Bayibulu, Kulaane ne saayansi); Afzalurrahman, Quranic Sciences (Saayansi we Kulaane), London 1981; http://www.islamiyayinlar.net/content/view/106/8/