Wadde ng’amagoba agasabibwa mu kuwola, agazimbiddwa ku musingi gw’okufuna ebintu awatali kusasula muwendo, ku ngulu nga galabika ng’okuyamba era nga kkubo eddungi eri abantu, mu butuufu tegalina kigendererwa kye gatuukiriza okuggyako okunyuunyuuta abantu abatalina buyambi abali mu bizibu. Olw’ensonga eno, kuno kuba kutyoboola ddembe lya baddu ba Allah. Amagoba gano kansa omubi ennyo ayonoona ebyenfuna okuva munda ate ne kusannyalaza eddiini n’empisa omuntu bye yandiwulidde munda. Gasobozesa omugagga okweyongera amaanyi ate omwavu ne gamwongera okunyuunyuutibwa. Mu ngeri eno, amagoba gano gongera okussaawo oluwonko wakati w’amadaala g’abantu ag’enjawulo, so ng’ate, nga munnabyanfuna omwatiikirivu yakissaawo, ebibiina by’abantu ebisinga okubeera ebirungi mu madaala g’ebyenfuna by’ebyo ebisobola okuteeka okweyongera kw’ebbeyi y’ebintu ku zeero (0) n’amagoba agaggyibwa ku beewozi nago ku zzero (0).
Okwo kw’ogatta nti amagoba ago galina ebintu bingi ebibi okugeza okuleetawo okweyongera kw’emiwendo gy’ebintu okutali kutuufu, okuziyiza empisa ennungi omuntu ze yandiwulidde okugeza ng’okulumirwa abalala, okukolera awamu, okuyambagana, okwagalana, okusaasiragana, n’ekisa; ne gakuma omuliro mu bantu okweyagaliza bokka n’okwerowoozaako, n’okuwaga omutima gw’okugujubana okufuna ssente n’obuyinza mu ngeri yonna esoboka.
Amagoba galemesa abantu okukola n’okufuna era n’okwenyigira mu kukola emirimu. Abo abamanyiira okufuna amagoba mu kuwola bava ku ngeri ez’okufunamu ensimbi ezitandikirwako okugeza okulima, okusuubula, wamu n’okwenyigira mu by’obusuubuzi. Ekisigalawo kwe kufuna ssente ng’okozesa ssente, ate ng’eyo mbeera ya bulabe ekonzibya okukola emirimu.
Okufuna ssente mu ssente ng’oyita mu magoba ku kuwola kya bulabe eri abantu sekinnoomu n’eri abantu bonna okutwalira awamu wadde ng’abantu abamu kino bayinza okukyagala. N’ekirala nti, gye biggweera olw’okuba ng’amagoba gakyusa enkolagana eri wakati w’omukozi ne ssente ezikola, ekomekkereza nga yeefuukidde abantu abo abawangaalira ku magoba agava mu kuwola.
Mu Kulaane ey’ekitiibwa, kyalangirirwa nti Allah ne Omubaka we baalangirira olutalo kw’abo abalya amagoba.[1] Mu aya endala, kyogerwa nti:
“Abo abalya riba (amagoba agava mu kuwola) tebajja kuyimirira okuggyako nga bw’ayimirira oyo Sitaane g’wekubye n’emufuula omulalu…” (Baqara [Ente], 2 : 275)
N’olw’ekyo, mu maaso ga Nnabbi waffe, okufuna okusinga obubi kwe kwo okuggyiddwa mu kuwola.[2] Okukuuma abantu b’ekibiina okuva mu kyonoono kino ekinene, Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) yakolimira abo bonna abatwala amagoba ku ssente ze bawola oba abawaliriza abantu okutwala amagoba ago, abakungu abakola ku bintu ebirimu magoba ago, n’abajulira endagaano ezikolebwa. Yagamba nti bonna bavunaanyizibwa kyenkanyi.[3]
Mukama waffe Nnabbi okukolimira abo bonna abayamba mu kufuna amagoba ku kuwola yali agenderera kulaga mu ngeri ennambulukufu obulungi nti mu kibiina ky’Abasiraamu teri kifo kya magoba (agafunibwa ku ssente eziwolebwa) ne bwe gabeera gatya era nti teri muntu akkirizibwa kusembera kumpi na magoba ago, bw’atyo n’aggalawo amakubo gonna agatuusa omuntu eri ekikolwa eky’ekivve ekyo.
Amagoba agava mu kuwola kyonoono era nga gaagaanibwa mu ddiini zonna. Kino kiri bwe kityo kubanga obulabe ekikolwa kino bwe kituusa ku bantu kirabikirawo. Mu aya ey’ekitiibwa kigambibwa nti okulya amagoba ago (riba) kwagaanibwa n’Abayawudi.[4]
Kiba kikyamu okulowooza nti eby’enfuna omutali magoba ku kuwola tebisoboka olwaleero. Embeera y’ebyenfuna etazimbiddwa ku musingi gw’okuwola okw’okuzza amagoba esobokera ddala. Waliwo n’ebibiina by’abantu abasobodde kino okukituukiriza. Obusiraamu bwagaanira ddala amagoba ku kuwola naye ne bukkiriza okukolera awamu n’okwongera ensimbi ezikola nga bannyinizo bayita mu kuzikozesa. Kino kiri kityo kubanga enkola eno ya mugaso eri buli muntu. Kuno oyongerezaako nti Obusiraamu bwawagira okuwola, ensawo bw’eba ng’ekkiriza, ng’awola akikola ku lwa Allah (Qard Hasan), era ne butwala ebbanja eriwoleddwa oyo ali mu buzibu okubeera eddungi okusinga saddaaka (eya ssunna). Ku ludda olulala, nga buyita mu kulagira zaka n’okusaddaaka, Obusiraamu buleetawo obutebenkevu obujjuvu mu by’enfuna awamu n’embeera ennungi mu kibiina mu bantu.
[1]. Al Baqara (The Cow – Ente), 2 : 278 – 279. Omubaka wa Allah (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) ayogera ekintu ekirala kimu Allah ky’alangirirako olutalo, nakyo kwe kulaga obulabe oba okukola obulabe ku mikwano gya Allah. (Bukhari, Riqaaq, 38). Ebitali bino teri mugyemu oba mwonoonyi eyafuna okulabulwa okw’ekika kino.
[2]. Ibn-i Abî Sheybe (Ibn Abii Shaybah), Musannef (Muswannafu), VII, 106 / 34552; Vâkidî (Waaqidii), III, 1016; Ibn Kathiir, Bidâye (Bidaaya – Enyandikwa), V, 13 14.
[3]. Muslim, Musâkât (Musaaqaat – Okunywesa), 105 – 106. N’era laba Bukhari, Büyû (Buyuu – Okugulaanya), 24, 25, 113; Abu Dawuda, Buyu (Okugulaanya) 4 / 3333; Tirmidhi, Büyû (Buyuu – Okugulaanya), 2 / 1206; Ibn-i Mâce, (Ibn Maajah), Tijârât, (Tijaaraat – Eby’okusuubula), 58.
[4]. An Nisaa (Women – Abakazi), 4 : 160 – 161.