4. Okukkiriza Bannabbi ne Ababaka ba Ka-tonda

Ow’ekitiibwa Adamu ye yali Nnabbi eyasooka ate Ow’ekitiibwa Muhammadi (okusaasira kwa Allah n’emirembe bibeere ku ye) n’abeera Nnabbi eyasembayo. Naye wakati w’abo ababiri waaliwo bannabbi bangi Katonda be yatuma, ng’abamu ku bo baatubuulirwa ate abalala ne batatubuulirwa. Mu nzikiriza yaffe n’okukkiriza, bannabbi bonna tubatwalira wamu nga tetulina njawulo wakati waabwe. Bannabbi bonna baali bawulize, nga beesigwa, nga bagezi nnyo, era abaatuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okusaasaanya eddiini era nga baali baakuumibwa obutakola mazambi. Tebalina bitendo bya Bwakatonda naye nga baaweebwa ebyamagero.